< Liber Numeri 34 >

1 locutus est Dominus ad Mosen
Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
2 praecipe filiis Israhel et dices ad eos cum ingressi fueritis terram Chanaan et in possessionem vobis sorte ceciderit his finibus terminabitur
“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Bwe muyingiranga mu Kanani, gye mbawa okuba ensi yammwe ey’obutaka bwammwe obw’enkalakkalira, zino ze ziribeera ensalo zaayo:
3 pars meridiana incipiet a solitudine Sin quae est iuxta Edom et habebit terminos contra orientem mare Salsissimum
“‘Ku bukiikaddyo, ensalo yammwe erizingiramu Eddungu lya Zini n’ekibira ku mabbali ga Edomu. Ku luuyi lw’ebuvanjuba, ensalo yammwe ey’oku bukiikaddyo eritandikira ku Nnyanja ey’Omunnyo w’ekoma ku luuyi olw’ebuvanjuba,
4 qui circumibunt australem plagam per ascensum Scorpionis ita ut transeant Senna et perveniant in meridiem usque ad Cadesbarne unde egredientur confinia ad villam nomine Addar et tendent usque Asemona
n’eyambukira ku Kkubo lya Akulabbimu, n’eraga ku Zini n’ekoma ku bukiikaddyo obwa Kadesubanea. Eriraga e Kazala Dali n’etuuka e Yazimoni,
5 ibitque per gyrum terminus ab Asemona usque ad torrentem Aegypti et maris Magni litore finietur
awo w’eriwetera n’egenda ku mugga Wadi ogw’e Misiri n’ekoma ku Nnyanja Ennene.
6 plaga autem occidentalis a mari Magno incipiet et ipso fine cludetur
Ku ludda olw’ebugwanjuba, olubalama lw’Ennyanja Ennene lwe lulibeera ensalo yammwe. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’ebugwanjuba.
7 porro ad septentrionalem plagam a mari Magno termini incipient pervenientes usque ad montem Altissimum
Ku ludda olw’obukiikakkono, ensalo yammwe egenda kuva ku Nnyanja Ennene erage ku Lusozi Koola;
8 a quo venies in Emath usque ad terminos Sedada
eve e Koola erage w’oyingirira Kamasi. Ensalo olwo eriraga e Zedada,
9 ibuntque confinia usque Zephrona et villam Henan hii erunt termini in parte aquilonis
ne yeeyongerayo okutuuka e Zifuloni, n’ekoma mu Kazalenooni. Eyo y’eriba ensalo yammwe ey’oku bukiikakkono.
10 inde metabuntur fines contra orientalem plagam de villa Henan usque Sephama
Ensalo yammwe ey’ebuvanjuba erigoberera olunyiriri oluva e Kazalenooni okutuuka e Sefamu.
11 et de Sephama descendent termini in Rebla contra fontem inde pervenient contra orientem ad mare Chenereth
Ensalo n’eserengeta okuva e Sefamu okutuuka e Libula ku ludda olw’ebuvanjuba bwa Yaini, n’ebalama amabbali g’ensozi ku ludda olw’ebuvanjuba bw’Ennyanja y’e Kinneresi, y’ey’e Ggaliraaya.
12 et tendent usque Iordanem et ad ultimum Salsissimo cludentur mari hanc habebitis terram per fines suos in circuitu
Olwo ensalo n’egendera ku mugga Yoludaani n’ekoma ku Nnyanja ey’Omunnyo. “‘Eyo y’eribeera ensi yammwe, n’ezo nga ze nsalo zaayo ku buli luuyi.’”
13 praecepitque Moses filiis Israhel dicens haec erit terra quam possidebitis sorte et quam iussit dari Dominus novem tribubus et dimidiae tribui
Awo Musa n’alagira abaana ba Isirayiri nti, “Ensi eyo muligibawa okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira nga mukuba akalulu. Mukama alagidde ensi eyo egabanibwe ebika omwenda n’ekitundu,
14 tribus enim filiorum Ruben per familias suas et tribus filiorum Gad iuxta cognationum numerum media quoque tribus Manasse
kubanga ab’empya z’ekika kya Gaadi n’ekya Lewubeeni, n’ab’empya z’ekitundu ky’ekika kya Manase, baamala okugabana obutaka bwabwe.
15 id est duae semis tribus acceperunt partem suam trans Iordanem contra Hiericho ad orientalem plagam
Ebika ebyo ebibiri n’ekitundu byamala okugabana obutaka bwabyo ku ludda olw’ebuvanjuba olw’Omugga Yoludaani ogwa Yeriko okutunuulira enjuba gy’eva.”
16 et ait Dominus ad Mosen
Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
17 haec sunt nomina virorum qui terram vobis divident Eleazar sacerdos et Iosue filius Nun
“Gano ge mannya g’abasajja abalibagabanyizaamu ensi eyo okubeera obutaka bwammwe: Eriyazaali kabona ne Yoswa mutabani wa Nuuni.
18 et singuli principes de tribubus singulis
Era ojja kulonda mu buli kika omukulembeze omu okuyamba mu kugabana ensi.
19 quorum ista sunt vocabula de tribu Iuda Chaleb filius Iepphonne
“Gano ge mannya gaabwe: “Kalebu mutabani wa Yefune ng’ava mu kika kya Yuda.
20 de tribu Symeon Samuhel filius Ammiud
Semweri mutabani wa Ammikudi ng’ava mu kika kya Simyoni.
21 de tribu Beniamin Helidad filius Chaselon
Eridaadi mutabani wa Kisuloni ng’ava mu kika kya Benyamini.
22 de tribu filiorum Dan Bocci filius Iogli
Buki mutabani wa Yoguli ng’ava mu kika kya Ddaani.
23 filiorum Ioseph de tribu Manasse Hannihel filius Ephod
Kanieri mutabani wa Efodi ng’ava mu kika kya Manase mutabani wa Yusufu.
24 de tribu Ephraim Camuhel filius Sephtan
Kemueri mutabani wa Sifutani ng’ava mu kika kya Efulayimu mutabani wa Yusufu.
25 de tribu Zabulon Elisaphan filius Pharnach
Erizafani mutabani wa Palunaki nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Zebbulooni.
26 de tribu Isachar dux Faltihel filius Ozan
Palutiyeri mutabani wa Azani nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Isakaali,
27 de tribu Aser Ahiud filius Salomi
ne Akikuda mutabani wa Seromi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Aseri,
28 de tribu Nepthali Phedahel filius Ameiud
ne Pedakeri mutabani wa Ammikudi nga ye mukulembeze okuva mu kika kya Nafutaali.”
29 hii sunt quibus praecepit Dominus ut dividerent filiis Israhel terram Chanaan
Abo be basajja Mukama be yalagira okugabanyaamu ensi ya Kanani okubeera obutaka bw’abaana ba Isirayiri.

< Liber Numeri 34 >