< Isaiæ 51 >

1 audite me qui sequimini quod iustum est et quaeritis Dominum adtendite ad petram unde excisi estis et ad cavernam laci de qua praecisi estis
“Mumpulirize, mmwe abanoonya obutuukirivu, mmwe abanoonya Mukama: Mutunuulire olwazi lwe mwatemebwako, n’obunnya bw’ekirombe gye mwasimibwa.
2 adtendite ad Abraham patrem vestrum et ad Sarram quae peperit vos quia unum vocavi eum et benedixi ei et multiplicavi eum
Mulowooze ku Ibulayimu jjajjammwe ne Saala eyabazaala. Kubanga we namuyitira yali bw’omu ne mmuwa omukisa ne mmwaza.
3 consolabitur ergo Dominus et Sion consolabitur omnes ruinas eius et ponet desertum eius quasi delicias et solitudinem eius quasi hortum Domini gaudium et laetitia invenietur in ea gratiarum actio et vox laudis
Kubanga ddala Mukama alikubagiza Sayuuni; akwatirwe ekisa ebifo byakyo byonna ebyazika era afuule olukoola lwe lwonna okuba Adeni, n’eddungu libeere ng’ennimiro ya Mukama; Essanyu n’okujaguza biryoke bibeere omwo, okwebaza n’amaloboozi ag’okuyimba.
4 adtendite ad me populus meus et tribus mea me audite quia lex a me exiet et iudicium meum in lucem populorum requiescet
“Mumpulirize, mmwe abantu bange; era muntegere okutu mmwe ensi yange. Kubanga etteeka lifuluma okuva gye ndi, obwenkanya bwange bubeere omusana eri amawanga.
5 prope est iustus meus egressus est salvator meus et brachia mea populos iudicabunt me insulae expectabunt et brachium meum sustinebunt
Obutuukirivu bwange busembera mangu nnyo, obulokozi bwange buli mu kkubo. Era omukono gwange gujja kuleeta obwenkanya eri amawanga. Ebizinga birinnindirira era birindirire n’essuubi omukono gwange okubirokola.
6 levate in caelum oculos vestros et videte sub terra deorsum quia caeli sicut fumus liquescent et terra sicut vestimentum adteretur et habitatores eius sicut haec interibunt salus autem mea in sempiternum erit et iustitia mea non deficiet
Muyimuse amaaso gammwe eri eggulu, mutunuulire ensi wansi! Kubanga eggulu lirivaawo ng’omukka n’ensi ekaddiwe ng’ekyambalo. Abagituulamu balifa ng’ensowera. Naye obulokozi bwange bunaabeereranga emirembe gyonna, so n’obutuukirivu bwange tebujjulukukenga.
7 audite me qui scitis iustum populus lex mea in corde eorum nolite timere obprobrium hominum et blasphemias eorum ne metuatis
“Mumpulirize, mmwe abamanyi obutuukirivu, eggwanga eririna amateeka gange mu mitima gyammwe. Temutya kuvumibwa bantu wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.
8 sicut enim vestimentum sic comedet eos vermis et sicut lanam sic devorabit eos tinea salus autem mea in sempiternum erit et iustitia mea in generationes generationum
Kubanga ennyenje ziribalya nga bwe zirya ebyambalo. N’obuwuka bubalye ng’obulya ebyoya by’endiga. Naye obutuukirivu bwange bunaabeereranga ennaku zonna. Obulokozi bwange bunywere emirembe gyonna.”
9 consurge consurge induere fortitudinem brachium Domini consurge sicut in diebus antiquis in generationibus saeculorum numquid non tu percussisti superbum vulnerasti draconem
Zuukuka, zuukuka oyimuke otuyambe Ayi Mukama Katonda. Kozesa amaanyi go otuyambe. Gakozese nga edda. Si ggwe wuuyo eyatemaatemamu Lakabu obufiififi? Si ye ggwe eyafumita ogusota?
10 numquid non tu siccasti mare aquam abyssi vehementis qui posuisti profundum maris viam ut transirent liberati
Si ggwe wuuyo eyakaliza ennyanja, amazzi ag’obuziba obuwanvu ennyo ne gafuuka ekkubo abantu be wanunula bayitewo?
11 et nunc qui redempti sunt a Domino revertentur et venient in Sion laudantes et laetitia sempiterna super capita eorum gaudium et laetitiam tenebunt fugiet dolor et gemitus
N’abo Mukama be wawonya balikomawo ne bajja mu Sayuuni nga bayimba. Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe. Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.
12 ego ego ipse consolabor vos quis tu ut timeres ab homine mortali et a filio hominis qui quasi faenum ita arescet
“Nze, nze mwene, nze nzuuno abawa amaanyi. Mmwe baani abatya omuntu alifa, n’omwana w’omuntu ali ng’omuddo,
13 et oblitus es Domini factoris tui qui tetendit caelos et fundavit terram et formidasti iugiter tota die a facie furoris eius qui te tribulabat et paraverat ad perdendum ubi nunc est furor tribulantis
ne weerabira Mukama Omutonzi wo eyabamba eggulu, n’ateekawo n’emisingi gy’ensi, ebbanga lyonna ne mubeera mu kutya obusungu bw’abo abakunyigiriza, oyo eyemalidde mu kuzikiriza? Kubanga kale buliruddawa obulabe bw’oyo abanyigiriza?
14 cito veniet gradiens ad aperiendum et non interficiet usque ad internicionem nec deficiet panis eius
Abo be bawamba ne basibibwa banaatera okuteebwa, tebalifiira mu bunnya, era tebalibulwa mmere gye balya.
15 ego autem sum Dominus Deus tuus qui conturbo mare et intumescunt fluctus eius Dominus exercituum nomen meum
Kubanga nze Mukama Katonda wo, asiikuula amayengo g’ennyanja ne gawuluguma: Mukama ow’Eggye lye linnya lye.
16 posui verba mea in ore tuo et in umbra manus meae protexi te ut plantes caelos et fundes terram et dicas ad Sion populus meus es tu
Ntadde ebigambo byange mu kamwa ko, era nkubisse mu kisiikirize ky’omukono gwange. Nze nakola eggulu ne nteekawo emisingi gy’ensi; era nze wuuyo agamba Sayuuni nti, ‘Muli bantu bange!’”
17 elevare elevare consurge Hierusalem quae bibisti de manu Domini calicem irae eius usque ad fundum calicis soporis bibisti et epotasti usque ad feces
Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe, eyanywa n’omaliramu ddala ekibya ekitagaza.
18 non est qui sustentet eam ex omnibus filiis quos genuit et non est qui adprehendat manum eius ex omnibus filiis quos enutrivit
Ku baana aboobulenzi bonna be yazaala tewali n’omu wa kumukulembera. Ku baana bonna aboobulenzi be yakuza tewali n’omu wa kumukwata ku mukono.
19 duo sunt quae occurrerunt tibi quis contristabitur super te vastitas et contritio et fames et gladius quis consolabitur te
Ebintu bino ebibiri bikuguddeko ani anaakunakuwalirako? Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala, ani anaakubeesabeesa?
20 filii tui proiecti sunt dormierunt in capite omnium viarum sicut bestia inlaqueata pleni indignatione Domini increpatione Dei tui
Batabani bo bazirise, bagudde ku buli nsonda y’oluguudo ng’engabi egudde mu kitimba. Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama, n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.
21 idcirco audi hoc paupercula et ebria non a vino
Noolwekyo wulira kino ggwe, atamidde naye si lwa mwenge.
22 haec dicit Dominator tuus Dominus et Deus tuus qui pugnavit pro populo suo ecce tuli de manu tua calicem soporis fundum calicis indignationis meae non adicies ut bibas illud ultra
Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wo alwanirira abantu be. “Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza. Temuliddayo kukinywa nate.
23 et ponam illud in manu eorum qui te humiliaverunt et dixerunt animae tuae incurvare ut transeamus et posuisti ut terram corpus tuum et quasi viam transeuntibus
Ndikiteeka mu mikono gy’abo abaababonyaabonya abaabagamba nti, ‘Mugwe wansi mwegolole tubatambulireko.’ Emigongo gyammwe gibe ng’ettaka, ng’oluguudo olw’okulinnyirira.”

< Isaiæ 51 >