< Hiezechielis Prophetæ 28 >

1 Et factus est sermo Domini ad me, dicens:
Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
2 Fili hominis, dic principi Tyri: Hæc dicit Dominus Deus: Eo quod elevatum est cor tuum, et dixisti: Deus ego sum, et in cathedra Dei sedi in corde maris: cum sis homo, et non Deus, et dedisti cor tuum quasi cor Dei.
“Omwana w’omuntu, gamba omufuzi w’e Ttuulo nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Kubanga olina amalala mu mutima gwo kyova oyogera nti, ‘Ndi katonda, era ntuula ku ntebe ey’obwakabaka eya Katonda wakati mu nnyanja,’ songa oli muntu buntu, so si katonda, newaakubadde ng’olowooza nga oli mugezi nga katonda.
3 Ecce sapientior es tu Daniele: omne secretum non est absconditum a te.
Oli mugezi okusinga Danyeri? Tewali kyama kikukwekeddwa?
4 In sapientia et prudentia tua fecisti tibi fortitudinem: et acquisisti aurum, et argentum in thesauris tuis.
Mu magezi go ne mu kutegeera kwo weefunidde eby’obugagga, n’okuŋŋaanya ezaabu n’effeeza n’obitereka mu mawanika go.
5 In multitudine sapientiæ tuæ, et in negotiatione tua multiplicasti tibi fortitudinem: et elevatum est cor tuum in robore tuo.
Olw’obukujjukujju bwo mu by’obusuubuzi oyongedde okugaggawala, era n’omutima gwo gwenyumiririza mu byobugagga bwo.”
6 Propterea hæc dicit Dominus Deus: Eo quod elevatum est cor tuum quasi cor Dei:
Mukama Katonda kyava ayogera nti, “Kubanga olowooza ng’oli mugezi, ng’oli mugezi nga katonda,
7 idcirco ecce ego adducam super te alienos robustissimos Gentium: et nudabunt gladios suos super pulchritudinem sapientiæ tuæ, et polluent decorem tuum.
kyendiva nkuleetera bannaggwanga ne bakulumba, ab’omu mawanga agasinga obukambwe, ne basowola ebitala byabwe eri obulungi n’amagezi go, ne boonoona okumasamasa kwo.
8 Interficient, et detrahent te: et morieris in interitu occisorum in corde maris.
Balikusuula mu bunnya n’ofiira eyo okufa okubi wakati mu gayanja.
9 Numquid dicens loqueris: Deus ego sum, coram interficientibus te: cum sis homo, et non Deus, in manu occidentium te?
Olyogera nate nti, ‘Ndi katonda,’ mu maaso gaabo abakutta? Oliba muntu buntu so si katonda mu mikono gy’abo abakutta.
10 Morte incircumcisorum morieris in manu alienorum: quia ego locutus sum, ait Dominus Deus.
Olifa okufa okw’abatali bakomole, mu mikono gya bannaggwanga, nze nkyogedde, bw’ayogera Mukama Katonda.”
11 Et factus est sermo Domini ad me, dicens: Fili hominis leva planctum super regem Tyri:
Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
12 et dices ei: Hæc dicit Dominus Deus: Tu signaculum similitudinis, plenus sapientia, et perfectus decore,
“Omwana w’omuntu kungubagira kabaka w’e Ttuulo, omutegeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Ggwe wali ekyokulabirako ekituukiridde ng’ojjudde amagezi era nga watuukirira mu bulungi.
13 in deliciis paradisi Dei fuisti: omnis lapis pretiosus operimentum tuum: sardius, topazius, et iaspis, chrysolithus, et onyx, et beryllus, sapphirus, et carbunculus, et smaragdus: aurum opus decoris tui: et foramina tua in die, qua conditus es, præparata sunt.
Wali mu Adeni, ennimiro ya Katonda; buli jjinja ery’omuwendo nga likubikako, sadio, topazi, alimasi, berulo, onuku, yasipero, safiro, ejjinja erya nnawandagala. Okuteekebwateekebwa kwo n’ebikunyweza byakolebwa mu zaabu. Era ku lunaku lwe watondebwa, byategekebwa.
14 Tu cherub extentus, et protegens, et posui te in monte sancto Dei, in medio lapidum ignitorum ambulasti.
Wali kerubi omukuumi eyafukibwako amafuta, nakwawula lwa nsonga eyo. Wabeeranga ku lusozi olutukuvu olwa Katonda, n’otambulira wakati mu mayinja ag’omuliro.
15 Perfectus in viis tuis a die conditionis tuæ, donec inventa est iniquitas in te.
Tewaliiko kya kunenyezebwa kyonna okuva ku lunaku lwe watondebwa, okutuusa obutali butuukirivu bwe bwalabika mu ggwe.
16 In multitudine negotiationis tuæ repleta sunt interiora tua iniquitate, et peccasti: et eieci te de monte Dei, et perdidi te, o cherub protegens, de medio lapidum ignitorum.
Mu bikolwa byo ebingi, wajjula empisa embi, era n’okola ebibi. Kyennava nkugoba ku lusozi lwa Katonda, mu buswavu obungi ne nkugoba ggwe kerubi eyakuumanga okuva mu mayinja ag’omuliro.
17 Et elevatum est cor tuum in decore tuo: perdidisti sapientiam tuam in decore tuo, in terram proieci te: ante faciem regum dedi te ut cernerent te.
Omutima gwo gwalina amalala olw’obulungi bwo, ne weelimbalimba olw’ekitiibwa kyo. Kyennava nkukanyuga ku nsi ne nkufuula eky’okusekererwa mu maaso ga bakabaka.
18 In multitudine iniquitatum tuarum, et iniquitate negotiationis tuæ polluisti sanctificationem tuam: producam ergo ignem de medio tui, qui comedat te, et dabo te in cinerem super terram in conspectu omnium videntium te.
Olw’ebibi byo ebingi n’olw’obukumpanya bwo oyonoonye ebifo byo ebitukuvu. Kyenava nziggya omuliro mu ggwe ne gukusaanyaawo, ne nkufuula evvu ku nsi wakati mu abo bonna abaakulabanga.
19 Omnes, qui viderint te in Gentibus, obstupescent super te: nihili factus es, et non eris in perpetuum.
Amawanga gonna agaakumanya gaatya nnyo; otuuse ku nkomerero embi, so tolibeerawo nate ennaku zonna.’”
20 Et factus est sermo Domini ad me, dicens:
Ekigambo kya Mukama ne kinzijira, n’aŋŋamba nti,
21 Fili hominis pone faciem tuam contra Sidonem: et prophetabis de ea,
“Omwana w’omuntu kyuka otunuulire Sidoni, obawe obunnabbi,
22 et dices: Hæc dicit Dominus Deus: Ecce ego ad te Sidon, et glorificabor in medio tui: et scient quia ego Dominus, cum fecero in ea iudicia, et sanctificatus fuero in ea.
oyogere nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “‘Nkulinako ensonga, ggwe Sidoni, era ndyegulumiza mu ggwe. Balimanya nga nze Mukama bwe ndimubonereza, ne neeraga mu ye okuba omutukuvu.
23 Et immittam ei pestilentiam, et sanguinem in plateis eius: et corruent interfecti in medio eius gladio per circuitum: et scient quia ego Dominus.
Ndiweereza kawumpuli ku ye, era ndikulukusa omusaayi mu nguudo ze. Abafu baligwa wakati mu ye, ekitala kimulumbe enjuuyi zonna. Olwo balimanya nga nze Mukama.
24 Et non erit ultra domui Israel offendiculum amaritudinis, et spina dolorem inferens undique per circuitum eorum, qui adversantur eis: et scient quia ego Dominus Deus.
“‘Tewalibaawo nate eri ennyumba ya Isirayiri omweramannyo ogufumita newaakubadde eriggwa eribafumita okuva mu baliraanwa abalina ettima. Era balimanya nga nze Katonda Ayinzabyonna.
25 Hæc dicit Dominus Deus: Quando congregavero domum Israel de populis, in quibus dispersi sunt, sanctificabor in eis coram Gentibus: et habitabunt in terra sua, quam dedi servo meo Iacob.
“‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo.
26 Et habitabunt in ea securi: et ædificabunt domos, et plantabunt vineas, et habitabunt confidenter, cum fecero iudicia in omnibus, qui adversantur eis per circuitum: et scient quia ego Dominus Deus eorum.
Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’”

< Hiezechielis Prophetæ 28 >