< レビ記 25 >

1 主はシナイ山で、モーセに言われた、
Mukama Katonda yagamba Musa ku lusozi Sinaayi nti,
2 「イスラエルの人々に言いなさい、『わたしが与える地に、あなたがたがはいったときは、その地にも、主に向かって安息を守らせなければならない。
“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa, ensi yennyini eneekuumiranga Mukama Katonda ssabbiiti.
3 六年の間あなたは畑に種をまき、また六年の間ぶどう畑の枝を刈り込み、その実を集めることができる。
Okumala emyaka mukaaga ennimiro zammwe munaazisigangamu emmere, era mu myaka egyo omukaaga munaasaliranga emizabbibu gyammwe n’ebibala ne mubikungula.
4 しかし、七年目には、地に全き休みの安息を与えなければならない。これは、主に向かって守る安息である。あなたは畑に種をまいてはならない。また、ぶどう畑の枝を刈り込んではならない。
Naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka ly’ensi eyo linaabanga ne ssabbiiti ey’okuwummula eri Mukama Katonda. Temusiganga mmere mu nnimiro zammwe wadde okusalira emizabbibu gyammwe.
5 あなたの穀物の自然に生えたものは刈り取ってはならない。また、あなたのぶどうの枝の手入れをしないで結んだ実は摘んではならない。これは地のために全き休みの年だからである。
Ebimera ebyekuzizza byokka, ebimererezi, temubikungulanga wadde okunoga ebibala ku mizabbibu gyammwe egitaasalirwa. Omwaka ogwo ettaka ly’ensi linaaguwummulanga.
6 安息の年の地の産物は、あなたがたの食物となるであろう。すなわち、あなたと、男女の奴隷と、雇人と、あなたの所に宿っている他国人と、
Ebyo byonna ebyokulya ebinaavanga mu ttaka mu mwaka ogwa ssabbiiti yaalyo binaabanga mmere yammwe, mmwe bennyini, n’eri abaddu bammwe abasajja, n’abakazi, era n’abaweereza bammwe ab’empeera, n’abagenyi abanaabanga basula mu maka gammwe;
7 あなたの家畜と、あなたの国のうちの獣とのために、その産物はみな、食物となるであろう。
era n’ente zammwe n’ensolo ez’omu nsiko ezinaabanga ku ttaka lyammwe. Buli ekyokulya ekinaakuliranga ku ttaka eryo kinaabanga mmere.
8 あなたは安息の年を七たび、すなわち、七年を七回数えなければならない。安息の年七たびの年数は四十九年である。
“Munaabaliriranga essabbiiti musanvu ez’omu myaka, kwe kugamba nti musanvu emirundi emyaka musanvu. Bwe kityo ekiseera kyonna ekya ssabbiiti ezo ne kiba emyaka amakumi ana mu mwenda.
9 七月の十日にあなたはラッパの音を響き渡らせなければならない。すなわち、贖罪の日にあなたがたは全国にラッパを響き渡らせなければならない。
Ekkondeere ery’okujaguza munaalifuuyiranga wonna wonna ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu ku Lunaku olw’Okutangiririrwa, ekkondeere munaalifuuyiranga mu nsi yammwe yonna.
10 その五十年目を聖別して、国中のすべての住民に自由をふれ示さなければならない。この年はあなたがたにはヨベルの年であって、あなたがたは、おのおのその所有の地に帰り、おのおのその家族に帰らなければならない。
Munaatukuzanga omwaka ogw’amakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera eby’eddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye.
11 その五十年目はあなたがたにはヨベルの年である。種をまいてはならない。また自然に生えたものは刈り取ってはならない。手入れをしないで結んだぶどうの実は摘んではならない。
Omwaka ogw’amakumi ataano gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; mu mwaka ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya ebibala eby’oku mizabbibu egitali misalire.
12 この年はヨベルの年であって、あなたがたに聖であるからである。あなたがたは畑に自然にできた物を食べなければならない。
Kubanga ekiseera ekyo kya kujaguza kya Jjubiri era kinaabanga kitukuvu gye muli; mulyenga ebyo byokka bye munaggyanga mu nnimiro.
13 このヨベルの年には、おのおのその所有の地に帰らなければならない。
“Mu mwaka ogwo ogw’okujaguza ogwa Jjubiri buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini.
14 あなたの隣人に物を売り、また隣人から物を買うときは、互に欺いてはならない。
Era bwe munaatunzanga bannammwe ekintu kyonna oba bwe munaagulanga ku bannammwe ekintu kyonna, temuseeragananga.
15 ヨベルの後の年の数にしたがって、あなたは隣人から買い、彼もまた畑の産物の年数にしたがって、あなたに売らなければならない。
Munnansi munno onoomugulangako ng’osinziira ku myaka egyakayitawo okuva ku kujaguza ku Jjubiri. Era naye anaakutunzanga ng’asinziira ku myaka egibulayo okutuuka ku makungula g’ebibala.
16 年の数の多い時は、その値を増し、年の数の少ない時は、値を減らさなければならない。彼があなたに売るのは産物の数だからである。
Emyaka bwe ginaabanga emingi, omuwendo ogulamulwa munaagwongezanga, naye emyaka bwe ginaabanga emitono munaagukendeezanga, kubanga obungi bw’ebikungulwa, bw’ogula ku mutunzi.
17 あなたがたは互に欺いてはならない。あなたの神を恐れなければならない。わたしはあなたがたの神、主である。
Temuseeragananga; mutyanga Katonda wammwe, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.
18 あなたがたはわたしの定めを行い、またわたしのおきてを守って、これを行わなければならない。そうすれば、あなたがたは安らかにその地に住むことができるであろう。
“Mugonderenga ebiragiro byange, era mukwatenga amateeka gange, bwe mutyo munaatuulanga n’emirembe mu nsi yammwe.
19 地はその実を結び、あなたがたは飽きるまでそれを食べ、安らかにそこに住むことができるであろう。
Ensi eneebaleeteranga ebibala byayo, ne mulya ne mukkuta ne mutuulamu n’emirembe.
20 「七年目に種をまくことができず、また産物を集めることができないならば、わたしたちは何を食べようか」とあなたがたは言うのか。
Muyinza okubuuza nti, ‘Bwe tutaasigenga era ne tutakungulanga, kale mu mwaka ogw’omusanvu tunaalyanga ki?’
21 わたしは命じて六年目に、あなたがたに祝福をくだし、三か年分の産物を実らせるであろう。
Mu mwaka ogw’omukaaga ndibayiwako omukisa gwange ogulireetera ensi yammwe ebibala ebirimala emyaka esatu.
22 あなたがたは八年目に種をまく時には、なお古い産物を食べているであろう。九年目にその産物のできるまで、あなたがたは古いものを食べることができるであろう。
Bwe munaabanga musiga mu mwaka ogw’omunaana, munaabanga mulya ku bibala ebikadde bye mwatereka, okutuusa nga mukungudde ebibala eby’omwaka ogw’omwenda.
23 地は永代には売ってはならない。地はわたしのものだからである。あなたがたはわたしと共にいる寄留者、また旅びとである。
Ettaka teriitundibwenga kagenderere, kubanga ensi yange; mwe muli bayise era abasuze obusuze.
24 あなたがたの所有としたどのような土地でも、その土地の買いもどしに応じなければならない。
Buli kitundu kya nsi kye munaalyanga, bwe mutundanga ettaka mwerekerangawo omwagaanya ogw’okulinunulayo gye mulitunze.
25 あなたの兄弟が落ちぶれてその所有の地を売った時は、彼の近親者がきて、兄弟の売ったものを買いもどさなければならない。
“Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga, n’atunda ebimu ku bintu bye, muganda we ow’okumpi mu luganda anajjanga n’anunula ebyo munnansi munne by’atunze.
26 たといその人に、それを買いもどしてくれる人がいなくても、その人が富み、自分でそれを買いもどすことができるようになったならば、
Omuntu bw’anaabanga talina anaabimununulira, naye ye ku bubwe ng’agaggawadde, era ng’afunye obusobozi obw’okubinunula,
27 それを売ってからの年を数えて残りの分を買い手に返さなければならない。そうすればその人はその所有の地に帰ることができる。
anaabaliriranga omuwendo gw’ensimbi oguli mu myaka kasookedde abitunda, n’abala n’omuwendo ogugya mu myaka egisigaddeyo okutuuka ku Jjubiri, n’agusasula omuntu gwe yaguza ebintu ebyo, olwo eyatunda aneddirangayo mu bintu bye.
28 しかし、もしそれを買いもどすことができないならば、その売った物はヨベルの年まで買い主の手にあり、ヨベルにはもどされて、その人はその所有の地に帰ることができるであろう。
Naye singa alemwa okufuna obusobozi okumusasula, kale ebyo bye yatunda binaasigalanga mu mukono gw’eyabigula nga ye nannyini byo okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. Binamuddizibwanga mu Jjubiri, era anaayinzanga okweddirayo mu bintu bye.
29 人が城壁のある町の住宅を売った時は、売ってから満一年の間は、それを買いもどすことができる。その間は彼に買いもどすことを許さなければならない。
“Omuntu bw’anaatundanga ennyumba esulwamu eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe, anaayinzanga okuginunula mu mwaka nga tegunaggwaako. Mu bbanga eryo ery’omwaka omulamba mw’anaabeereranga n’obuyinza obw’okuginunula.
30 満一年のうちに、それを買いもどさない時は、城壁のある町の内のその家は永代にそれを買った人のものと定まって、代々の所有となり、ヨベルの年にももどされないであろう。
Ennyumba eyo eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe bw’eteenunulibwenga mu bbanga ery’omwaka ogumu, kale eneebeereranga ddala y’oyo eyagigula n’ezzadde lye. Eyagitunda teemuddizibwenga mu Jjubiri.
31 しかし、周囲に城壁のない村々の家は、その地方の畑に附属するものとみなされ、買いもどすことができ、またヨベルの年には、もどされるであろう。
Naye amayumba ag’omu bubuga obutono obw’omu byalo obuteetooloddwako bisenge, ganaabalirwanga mu ttuluba lye limu n’ery’ennimiro eziri mu byalo. Ganaanunulibwanga era ne gaddira bannyinigo mu Jjubiri.
32 レビびとの町々、すなわち、彼らの所有の町々の家は、レビびとはいつでも買いもどすことができる。
“Bulijjo Abaleevi banaabanga ba ddembe okununula amayumba gaabwe agali mu bibuga byabwe eby’Abaleevi bye balinako obwannannyini.
33 レビびとのひとりが、それを買いもどさない時は、その所有の町にある売った家はヨベルの年にはもどされるであろう。レビびとの町々の家はイスラエルの人々のうちに彼らがもっている所有だからである。
Era Omuleevi bw’anaabanga takozesezza ddembe lye ery’okununula, kale ennyumba eyatundirwa mu kibuga Abaleevi kye balinako obwannannyini, eneemuddiranga mu Jjubiri; kubanga mu bantu ba Isirayiri ennyumba eziri mu bibuga by’Abaleevi za Baleevi.
34 ただし、彼らの町々の周囲の放牧地は売ってはならない。それは彼らの永久の所有だからである。
Naye ennimiro eziri ku ttaka lya wamu ery’ebibuga byabwe teziitundibwenga; kubanga ezo zaabwe za bwannannyini obw’olubeerera.
35 あなたの兄弟が落ちぶれ、暮して行けない時は、彼を助け、寄留者または旅びとのようにして、あなたと共に生きながらえさせなければならない。
“Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe.
36 彼から利子も利息も取ってはならない。あなたの神を恐れ、あなたの兄弟をあなたと共に生きながらえさせなければならない。
Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bw’atyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe.
37 あなたは利子を取って彼に金を貸してはならない。また利益をえるために食物を貸してはならない。
Bw’omuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gw’omuwoze so tasukkirizangamu. Era bw’omuguzanga emmere tossangamu magoba.
38 わたしはあなたがたの神、主であって、カナンの地をあなたがたに与え、かつあなたがたの神となるためにあなたがたをエジプトの国から導き出した者である。
Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey’e Misiri okubawa ensi ya Kanani n’okubeera Katonda wammwe.
39 あなたの兄弟が落ちぶれて、あなたに身を売るときは、奴隷のように働かせてはならない。
“Era munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali nammwe, ne yeetunda gye muli, temumukozesanga nga muddu.
40 彼を雇人のように、また旅びとのようにしてあなたの所におらせ、ヨベルの年まであなたの所で勤めさせなさい。
Munaamukozesanga ng’omupakasi ow’empeera oba ng’omusuze obusuze, ng’ali nammwe. Anaabaweerezanga okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri.
41 その時には、彼は子供たちと共にあなたの所から出て、その一族のもとに帰り、先祖の所有の地にもどるであろう。
Kale nno, olwo anaalekebwanga n’addayo ewaabwe, ye n’abaana be, mu kika kye ku butaka bwa bakadde be.
42 彼らはエジプトの国からわたしが導き出したわたしのしもべであるから、身を売って奴隷となってはならない。
Kubanga baweereza bange be naggya mu nsi y’e Misiri; tebaatundibwenga ng’abaddu.
43 あなたは彼をきびしく使ってはならない。あなたの神を恐れなければならない。
Temubafugisanga bukambwe, naye mutyenga Katonda wammwe.
44 あなたがもつ奴隷は男女ともにあなたの周囲の異邦人のうちから買わなければならない。すなわち、彼らのうちから男女の奴隷を買うべきである。
Abaddu bammwe abasajja n’abaddu bammwe abakazi munaabaggyanga mu mawanga agabeetoolodde, mu mawanga ago mwe muneeguliranga abaddu abasajja n’abaddu abakazi.
45 また、あなたがたのうちに宿っている旅びとの子供のうちからも買うことができる。また彼らのうちあなたがたの国で生れて、あなたがたと共におる人々の家族からも買うことができる。そして彼らはあなたがたの所有となるであろう。
Era munaayinzanga okwegulira ku bannamawanga abali nammwe abasuze obusuze, ne ku baana baabwe abanaazaalirwanga mu nsi yammwe; abo banaabanga nvuma zammwe.
46 あなたがたは彼らを獲て、あなたがたの後の子孫に所有として継がせることができる。すなわち、彼らは長くあなたがたの奴隷となるであろう。しかし、あなたがたの兄弟であるイスラエルの人々をあなたがたは互にきびしく使ってはならない。
Munaayinzanga okulaamira batabani bammwe abalibagoberera envuma ezo ng’obusika bwabwe obw’emirembe gyonna. Naye Bayisirayiri bannammwe temubafugisanga bukambwe.
47 あなたと共にいる寄留者または旅びとが富み、そのかたわらにいるあなたの兄弟が落ちぶれて、あなたと共にいるその寄留者、旅びと、または寄留者の一族のひとりに身を売った場合、
“Omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali nammwe bw’anaagaggawalanga, naye munnansi munnammwe bwe babeera n’ayavuwala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba eri omusuze obusuze ali nammwe, oba eri omu ku b’omu luggya lwa munnaggwanga,
48 身を売った後でも彼を買いもどすことができる。その兄弟のひとりが彼を買いもどさなければならない。
anaayinzanga okununulibwa, ng’amaze okwetunda. Omu ku baganda be anayinzanga okumununula:
49 あるいは、おじ、または、おじの子が彼を買いもどさなければならない。あるいは一族の近親の者が、彼を買いもどさなければならない。あるいは自分に富ができたならば、自分で買いもどさなければならない。
Taata we oba mutabani wa taata we, oba owooluganda omulala ow’okumpi mu buzaale ow’omu kika kye anaayinzanga okumununula. Oba ye bw’anaagaggawalanga anaayinzanga okwenunula.
50 その時、彼は自分の身を売った年からヨベルの年までを、その買い主と共に数え、その年数によって、身の代金を決めなければならない。その年数は雇われた年数として数えなければならない。
Ye n’oli eyamugula bajjanga kubalirira ebbanga okuva mu mwaka gwe yeetundiramu okutuuka ku Mwaka gwa Jjubiri. Omuwendo ogw’okununulibwa guneesigamizibwanga ku muwendo gw’emyaka egibaliriddwa; ebbanga lye yamala n’eyamugula linaageraageranyizibwanga n’ebbanga ery’omupakasi asasulwa empeera.
51 なお残りの年が多い時は、その年数にしたがい、買われた金額に照して、あがないの金を払わなければならない。
Mu kubalirira kwabwe bwe kinaazuukanga ng’ekyasigaddeyo emyaka mingi okutuuka ku Jjubiri, ku muwendo gwe yeetunda anaasasulangako omuwendo munene olw’okwenunula.
52 またヨベルの年までに残りの年が少なければ、その人と共に計算し、その年数にしたがって、あがないの金を払わなければならない。
Naye bw’eneebanga esigaddeyo emyaka mitono, egyo gy’anaabalirirangamu ensimbi zaamu n’asasula ezo nga bwe kyetaagisa olw’okwenunula.
53 彼は年々雇われる人のように扱われなければならない。あなたの目の前で彼をきびしく使わせてはならない。
Oyo eyagula munne anaamuyisanga ng’omupakasi amukolera mu kupatana okwa buli mwaka. Temulekanga oyo eyagula munne okumutuntuzanga nga nammwe mulaba.
54 もし彼がこのようにしてあがなわれないならば、ヨベルの年に彼は子供と共に出て行くことができる。
“Bw’anaabanga tanunulibbwa mu zimu ku ngeri ezo, ye n’abaana be banaanunulibwanga mu Mwaka gwa Jjubiri.
55 イスラエルの人々は、わたしのしもべだからである。彼らはわたしがエジプトの国から導き出したわたしのしもべである。わたしはあなたがたの神、主である。
Kubanga abaana ba Isirayiri bantu bange, abaweereza bange be naggya mu nsi ey’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.

< レビ記 25 >