< イザヤ書 57 >

1 正しい者が滅びても、心にとめる人がなく、神を敬う人々が取り去られても、悟る者はない。正しい者は災の前に取り去られて、
Abantu abatuukirivu bazikirira, naye tewali akirowoozako n’akatono. Abantu abeewaddeyo eri Katonda batwalibwa nga tewali n’afuddeyo kukirowoozaako. Kubanga omutuukirivu aggyibwawo olw’akabi akagenda okujja.
2 平安に入るからである。すべて正直に歩む者は、その床に休むことができる。
Ayingira mu mirembe n’afuna okuwummulira mu kufa kwe, ne bawummula ga beebase, abo abatambulira mu bugolokofu.
3 しかし、あなたがた女魔法使の子よ、姦夫と遊女のすえよ、こちらへ近寄れ。
“Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumu ezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.
4 あなたがたは、だれにむかって戯れをなすのか。だれにむかって口を開き、舌を出すのか。あなたがたは背信の子ら、偽りのすえではないか。
Muzannyira ku ani? Ani gwe mukongoola ne mumusoomooza? Temuli baana ba bujeemu, ezzadde eryobulimba?
5 あなたがたは、かしの木の間、すべての青木の下で心をこがし、谷の中、岩のはざまで子どもを殺した。
Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti na buli wansi wa buli muti oguyimiridde; mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu ne wansi w’enjatika z’enjazi.
6 あなたは谷のなめらかな石を自分の嗣業とし、これを自分の分け前とし、これに灌祭をそそぎ、供え物をささげた。わたしはこれらの物によってなだめられようか。
Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu gosinziza mu biwonvu, abo be babo, obusika bwo; abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywa era n’ebiweebwayo eby’empeke. Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?
7 あなたは高くそびえた山の上に自分の床を設け、またそこに登って行って犠牲をささげた。
Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.
8 また戸および柱のうしろに、あなたのしるしを置いた。あなたはわたしを離れて自分の床をあらわし、それにのぼって、その床をひろくした。また彼らと契約をなし、彼らの床を愛し、その裸を見た。
Emabega w’enzigi zammwe we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza. Mwandeka ne mukola eby’obuwemu mu bitanda byammwe ebigazi. Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
9 あなたは、におい油を携えてモレクに行き、多くのかおり物をささげた。またあなたの使者を遠くにつかわし、陰府の深い所にまでつかわした。 (Sheol h7585)
Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo, n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda, kumpi batuuke n’emagombe. (Sheol h7585)
10 あなたは道の長いのに疲れても、なお「望みがない」とは言わなかった。あなたはおのが力の回復を得たので、衰えることがなかった。
Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo naye teweegamba nako nti, ‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’ Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.
11 あなたはだれをおじ恐れて、偽りを言い、わたしを覚えず、また心におかなかったのか。わたしが久しく黙っていたために、あなたはわたしを恐れなかったのではなかったか。
“B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza, n’olyoka olimba, nze n’otonzijukira n’akatono wadde okundowoozaako? Olw’okubanga nsirise n’esikunyega ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.
12 わたしはあなたの義と、あなたのわざを告げ示そう、しかしこれらはあなたを益しない。
Nnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola, naye tebigenda kukugasa.
13 あなたが呼ばわる時、あなたが集めておいた偶像にあなたを救わせよ。風は彼らを運び去り、息は彼らを取り去る。しかしわたしに寄り頼む者は地を継ぎ、わが聖なる山をまもる。
Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi, leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule; naye empewo eribatwala, omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna. Naye oyo anfuula ekiddukiro kye alirya ensi era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”
14 主は言われる、「土を盛り、土を盛って道を備えよ、わが民の道から、つまずく物を取り去れ」と。
Era kiryogerwa nti, “Muzimbe, muzimbe, mulongoose ekkubo! Muggyeewo enkonge zonna mu kkubo ly’abantu bange.”
15 いと高く、いと上なる者、とこしえに住む者、その名を聖ととなえられる者がこう言われる、「わたしは高く、聖なる所に住み、また心砕けて、へりくだる者と共に住み、へりくだる者の霊をいかし、砕ける者の心をいかす。
Kubanga bw’atyo bw’ayogera oyo ali waggulu omugulumivu omulamu emirembe n’emirembe, ow’erinnya ettukuvu nti, “Ntuula mu kifo ekigulumivu ekitukuvu awamu n’oyo alina omwoyo oguboneredde ogwetoowaza, okuzzaamu amaanyi omwoyo gw’abakkakkamu, era n’ogw’abo ababoneredde.
16 わたしはかぎりなく争わない、また絶えず怒らない。霊はわたしから出、いのちの息はわたしがつくったからだ。
Kubanga sirirumiriza bantu bange emirembe n’emirembe era siribasunguwalira bbanga lyonna. Kubanga omutima gw’omuntu gwandigwereddewo mu maaso gange nga ndaba, emmeeme y’omuntu nze gye nakola.
17 彼のむさぼりの罪のゆえに、わたしは怒って彼を打ち、わが顔をかくして怒った。しかし彼はなおそむいて、おのが心の道へ行った。
Olw’okwegomba kwe okw’obutali butuukirivu nnali nzijjudde obusungu. Namubonereza ne nkweka amaaso gange olw’obusungu obungi naye yeeyongera okugenda mu maaso mu makubo amabi.
18 わたしは彼の道を見た。わたしは彼をいやし、また彼を導き、慰めをもって彼に報い、悲しめる者のために、くちびるの実を造ろう。
Nalaba by’akola, naye ndimuwonya. Ndimuluŋŋamya ne muddiza emirembe era ne mbeesabeesa abo abakungubaga.
19 遠い者にも近い者にも平安あれ、平安あれ、わたしは彼をいやそう」と主は言われる。
Mirembe, era mirembe, eri abo abali ewala n’eri abo abali okumpi, era ndibawonya,” bw’ayogera Mukama.
20 しかし悪しき者は波の荒い海のようだ。静まることができないで、その水はついに泥と汚物とを出す。
Naye ababi bali ng’ennyanja esiikuuse, eteyinza kutereera, ey’amayengo agasiikuula ebitosi n’ebitaka.
21 わが神は言われる、「よこしまな者には平安がない」と。
“Tewali mirembe, eri aboonoonyi,” bw’ayogera Katonda wange.

< イザヤ書 57 >