< サムエル記Ⅰ 7 >

1 キリアテ・ヤリムの人々は、きて、主の箱を携え上り、丘の上のアビナダブの家に持ってきて、その子エレアザルを聖別して、主の箱を守らせた。
Awo abantu b’e Kiriyasuyalimu ne bajja ne baddukira essanduuko ya Mukama, ne bagitwala mu nnyumba ya Abinadaabu ku lusozi. Ne bayawula Eriyazaali mutabani we okuvunaanyizibwa essanduuko ya Mukama.
2 その箱は久しくキリアテ・ヤリムにとどまって、二十年を経た。イスラエルの全家は主を慕って嘆いた。
Essanduuko n’emala mu Kiriyasuyalimu ebbanga ddene, eryawerera ddala emyaka amakumi abiri, era abantu b’ennyumba ya Isirayiri bonna baali banakuwavu era nga banoonya Mukama.
3 その時サムエルはイスラエルの全家に告げていった、「もし、あなたがたが一心に主に立ち返るのであれば、ほかの神々とアシタロテを、あなたがたのうちから捨て去り、心を主に向け、主にのみ仕えなければならない。そうすれば、主はあなたがたをペリシテびとの手から救い出されるであろう」。
Awo Samwiri n’agamba ennyumba ya Isirayiri yonna nti, “Obanga mudda eri Mukama n’omutima gumu, muggyeewo bakatonda abagwira ne Baasutoleesi, mmweweeyo eri Mukama gwe muba muweerezanga yekka, era anaabalokola okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
4 そこでイスラエルの人々はバアルとアシタロテを捨て去り、ただ主にのみ仕えた。
Awo Abayisirayiri ne bava ku Babaali ne Baasutoleesi, ne baweerezanga Mukama yekka.
5 サムエルはまた言った、「イスラエルびとを、ことごとくミヅパに集めなさい。わたしはあなたがたのために主に祈りましょう」。
Samwiri n’ayogera nti, “Mukuŋŋaanye Isirayiri yenna e Mizupa, mbegayiririre eri Mukama.”
6 人々はミヅパに集まり、水をくんでそれを主の前に注ぎ、その日、断食してその所で言った、「われわれは主に対して罪を犯した」。サムエルはミヅパでイスラエルの人々をさばいた。
Bwe baali bakuŋŋaanidde e Mizupa, ne basena amazzi, ne bagayirira mu maaso ga Mukama, ne basiiba era ne baatula ebibi byabwe nga boogera nti, “Twonoonye eri Mukama.” Olwo Samwiri nga ye mukulembeze era omulamuzi wa Isirayiri e Mizupa.
7 イスラエルの人々のミヅパに集まったことがペリシテびとに聞えたので、ペリシテびとの君たちは、イスラエルに攻め上ってきた。イスラエルの人々はそれを聞いて、ペリシテびとを恐れた。
Awo Abafirisuuti bwe baawulira nga Abayisirayiri bakuŋŋaanidde e Mizupa, abafuzi b’Abafirisuuti ne babalumba. Abayisirayiri bwe baakiwulira ne batya Abafirisuuti.
8 そしてイスラエルの人々はサムエルに言った、「われわれのため、われわれの神、主に叫ぶことを、やめないでください。そうすれば主がペリシテびとの手からわれわれを救い出されるでしょう」。
Ne bagamba Samwiri nti, “Tolekeraawo kutukaabiririra eri Mukama Katonda waffe, atulokole okuva mu mukono gw’Abafirisuuti.”
9 そこでサムエルは乳を飲む小羊一頭をとり、これを全き燔祭として主にささげた。そしてサムエルはイスラエルのために主に叫んだので、主はこれに答えられた。
Awo Samwiri n’addira omwana gw’endiga oguyonka n’aguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, n’akaabirira Mukama ku lwa Isirayiri, Mukama n’amuddamu.
10 サムエルが燔祭をささげていた時、ペリシテびとはイスラエルと戦おうとして近づいてきた。しかし主はその日、大いなる雷をペリシテびとの上にとどろかせて、彼らを乱されたので、彼らはイスラエルびとの前に敗れて逃げた。
Ku lunaku olwo Samwiri bwe yali ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, Abafirisuuti ne basembera okulwanyisa Isirayiri, naye Mukama n’abwatuka okubwatuka okw’amaanyi, Abafirisuuti ne batya nnyo, era ne badduka Abayisirayiri.
11 イスラエルの人々はミヅパを出てペリシテびとを追い、これを撃って、ベテカルの下まで行った。
Abasajja Abayisirayiri ne bava e Mizupa ne bagoba Abafirisuuti, ne bagenda nga babatta okutuukira ddala ku Besukali.
12 その時サムエルは一つの石をとってミヅパとエシャナの間にすえ、「主は今に至るまでわれわれを助けられた」と言って、その名をエベネゼルと名づけた。
Awo Samwiri n’addira ejjinja n’aliteeka wakati wa Mizupa ne Seni, ekifo ekyo n’akituuma Ebenezeri, ng’agamba nti, “Mukama atuyambye okutuusa kaakano.”
13 こうしてペリシテびとは征服され、ふたたびイスラエルの領地に、はいらなかった。サムエルの一生の間、主の手が、ペリシテびとを防いだ。
Abafirisuuti ne bawangulwa, ne bataddayo nate kulumba Isirayiri. Era ennaku zonna eza Samwiri, omukono gwa Mukama ne gunyigiriza Abafirisuuti.
14 ペリシテびとがイスラエルから取った町々は、エクロンからガテまで、イスラエルにかえり、イスラエルはその周囲の地をもペリシテびとの手から取りかえした。またイスラエルとアモリびととの間には平和があった。
Abayisirayiri ne beddiza ebibuga byonna Abafirisuuti bye baali babawambyeko okuva mu Ekulooni okutuuka e Gaasi, ate era Isirayiri n’anunula ebitundu ebyali biriraanyeewo okuva mu buyinza bw’Abafirisuuti. Ne waba okutabagana wakati wa Isirayiri n’Abamoli.
15 サムエルは一生の間イスラエルをさばいた。
Samwiri n’alamula era n’afuga Isirayiri ennaku zonna ez’obulamu bwe.
16 年ごとにサムエルはベテルとギルガル、およびミヅパを巡って、その所々でイスラエルをさばき、
Buli mwaka n’agendanga e Beseri, n’e Girugaali n’e Mizupa mu mpalo ng’alamula Isirayiri mu bifo ebyo byonna.
17 ラマに帰った。そこに彼の家があったからである。その所でも彼はイスラエルをさばき、またそこで主に祭壇を築いた。
N’oluvannyuma yakomangawo e Laama, amaka ge gye gaabeeranga, nayo n’alamulirayo Isirayiri. N’azimbirayo Mukama ekyoto.

< サムエル記Ⅰ 7 >