< 歴代誌Ⅰ 6 >

1 レビの子らはゲルション、コハテ、メラリ。
Batabani ba Leevi baali Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
2 コハテの子らはアムラム、イヅハル、ヘブロン、ウジエル。
Batabani ba Kokasi ne baba Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni, ne Wuziyeeri.
3 アムラムの子らはアロン、モーセ、ミリアム。アロンの子らはナダブ、アビウ、エレアザル、イタマル。
Ate abaana ba Amulaamu baali Alooni, ne Musa ne Miryamu. Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali.
4 エレアザルはピネハスを生み、ピネハスはアビシュアを生み、
Eriyazaali n’azaala Finekaasi, ate Finekaasi n’azaala Abisuwa;
5 アビシュアはブッキを生み、ブッキはウジを生み、
Abisuwa n’azaala Bukki, ate Bukki n’azaala Uzzi;
6 ウジはゼラヒヤを生み、ゼラヒヤはメラヨテを生み、
Uzzi n’azaala Zerakiya, ne Zerakiya n’azaala Merayoosi;
7 メラヨテはアマリヤを生み、アマリヤはアヒトブを生み、
Merayoosi n’azaala Amaliya, ne Amaliya n’azaala Akitubu;
8 アヒトブはザドクを生み、ザドクはアヒマアズを生み、
Akitubu n’azaala Zadooki, ate Zadooki n’azaala Akimaazi;
9 アヒマアズはアザリヤを生み、アザリヤはヨナハンを生み、
Akimaazi n’azaala Azaliya, ne Azaliya n’azaala Yokanaani;
10 ヨナハンはアザリヤを生んだ。このアザリヤはソロモンがエルサレムに建てた宮で祭司の務をした者である。
Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);
11 アザリヤはアマリヤを生み、アマリヤはアヒトブを生み、
Azaliya n’azaala Amaliya, ne Amaliya n’azaala Akitubu;
12 アヒトブはザトクを生み、ザトクはシャルムを生み、
Akitubu n’azaala Zadooki, ne Zadooki n’azaala Sallumu;
13 シャルムはヒルキヤを生み、ヒルキヤはアザリヤを生み、
Sallumu n’azaala Kirukiya, ne Kirukiya n’azaala Azaliya;
14 アザリヤはセラヤを生み、セラヤはヨザダクを生んだ。
Azaliya n’azaala Seraya, ne Seraya n’azaala Yekozadaki;
15 ヨザダクは主がネブカデネザルの手によってユダとエルサレムの人を捕え移された時に捕えられて行った。
Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.
16 レビの子らはゲルション、コハテおよびメラリ。
Batabani ba Leevi baali Gerusomu, ne Kokasi ne Merali.
17 ゲルションの子らの名はリブニとシメイ。
Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu, ne Libuni ne Simeeyi.
18 コハテの子らはアムラム、イヅハル、ヘブロン、ウジエルである。
Batabani ba Kokasi baali Amulaamu, ne Izukali, ne Kebbulooni ne Wuziyeeri.
19 メラリの子らはマヘリとムシ。これらはレビびとのその家筋による氏族である。
Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi. Gino gy’emituba egy’Abaleevi okutandika ne bajjajja baabwe:
20 ゲルションの子はリブニ、その子はヤハテ、その子はジンマ、
Abaava mu Gerusomu baali Libuni mutabani we, ne Yakasi, ne Zimura,
21 その子はヨア、その子はイド、その子はゼラ、その子はヤテライ。
ne Yowa, ne Iddo, ne Zeera, ne Yeyaserayi.
22 コハテの子はアミナダブ、その子はコラ、その子はアシル、
Bazzukulu ba Kokasi baali Amminadaabu mutabani we, Koola muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;
23 その子はエルカナ、その子はエビアサフ、その子はアシル、
Erukaana muzzukulu we, Ebiyasaafu muzzukulu we, Assiri muzzukulu we;
24 その子はタハテ、その子はウリエル、その子はウジヤ、その子はシャウル。
Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.
25 エルカナの子らはアマサイとアヒモテ、
Batabani ba Erukaana baali Amasayi ne Akimosi,
26 その子はエルカナ、その子はゾパイ、その子はナハテ、
ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi, ne Nakasi,
27 その子はエリアブ、その子はエロハム、その子はエルカナ。
ne Eriyaabu, ne Yerokamu, ne Erukaana ne Samwiri.
28 サムエルの子らは、長子はヨエル、次はアビヤ。
Batabani ba Samwiri baali Yoweeri omuggulanda we, n’owokubiri nga ye Abiya.
29 メラリの子はマヘリ、その子はリブニ、その子はシメイ、その子はウザ、
Bazzukulu ba Merali baali Makuli, ne Libuni, ne Simeeyi, ne Uzza,
30 その子はシメア、その子はハギヤ、その子はアサヤである。
ne Simeeyi, ne Kaggiya ne Asaya, ng’omu ye kitaawe w’omulala nga bwe baddiriŋŋana.
31 契約の箱を安置したのち、ダビデが主の宮で歌をうたう事をつかさどらせた人々は次のとおりである。
Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu.
32 彼らは会見の幕屋の前で歌をもって仕えたが、ソロモンがエルサレムに主の宮を建ててからは、一定の秩序に従って務を行った。
Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.
33 その務をしたもの、およびその子らは次のとおりである。コハテびとの子らのうちヘマンは歌をうたう者、ヘマンはヨエルの子、ヨエルはサムエルの子、
Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe: Okuva mu Abakokasi; Kemani, omuyimbi, mutabani wa Yoweeri, muzzukulu wa Samwiri,
34 サムエルはエルカナの子、エルカナはエロハムの子、エロハムはエリエルの子、エリエルはトアの子、
muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu, muzzukulu wa Eryeri, muzzukulu wa Toowa,
35 トアはヅフの子、ヅフはエルカナの子、エルカナはマハテの子、マハテはアマサイの子、
muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Makasi, muzzukulu wa Amasayi;
36 アマサイはエルカナの子、エルカナはヨエルの子、ヨエルはアザリヤの子、アザリヤはゼパニヤの子、
muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri, muzzukulu wa Azaliya, muzzukulu wa Zeffaniya,
37 ゼパニヤはタハテの子、タハテはアシルの子、アシルはエビアサフの子、エビアサフはコラの子、
muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola,
38 コラはイヅハルの子、イヅハルはコハテの子、コハテはレビの子、レビはイスラエルの子である。
muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi, muzzukulu wa Leevi, mutabani wa Isirayiri.
39 ヘマンの兄弟アサフはヘマンの右に立った。アサフはベレキヤの子、ベレキヤはシメアの子、
Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati: Asafu mutabani wa Berekiya, muzzukulu wa Simeeyi,
40 シメアはミカエルの子、ミカエルはバアセヤの子、バアセヤはマルキヤの子、
muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya, muzzukulu wa Malukiya,
41 マルキヤはエテニの子、エテニはゼラの子、ゼラはアダヤの子、
muzzukulu wa Esuni, muzzukulu wa Zeera, muzzukulu wa Adaaya,
42 アダヤはエタンの子、エタンはジンマの子、ジンマはシメイの子、
muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma, muzzukulu wa Simeeyi,
43 シメイはヤハテの子、ヤハテはゲルションの子、ゲルションはレビの子である。
muzzukulu wa Yakasi, muzzukulu wa Gerusoni, mutabani wa Leevi.
44 また彼らの兄弟であるメラリの子らが左に立った。そのうちのエタンはキシの子、キシはアブデの子、アブデはマルクの子、
Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi, Esani mutabani wa Kiisi, muzzukulu wa Abudi, muzzukulu wa Malluki,
45 マルクはハシャビヤの子、ハシャビヤはアマジヤの子、アマジヤはヒルキヤの子、
muzzukulu wa Kasukabiya, muzzukulu wa Amaziya, muzzukulu wa Kirukiya, muzzukulu wa Amaziya,
46 ヒルキヤはアムジの子、アムジはバニの子、バニはセメルの子、
muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Semeri,
47 セメルはマヘリの子、マヘリはムシの子、ムシはメラリの子、メラリはレビの子である。
muzzukulu wa Makuli, muzzukulu wa Musi, muzzukulu wa Merali, mutabani wa Leevi.
48 彼らの兄弟であるレビびとたちは、神の宮の幕屋のもろもろの務に任じられた。
Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.
49 アロンとその子らは燔祭の壇と香の祭壇の上にささげることをなし、また至聖所のすべてのわざをなし、かつイスラエルのためにあがないをなした。すべて神のしもべモーセの命じたとおりである。
Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.
50 アロンの子孫は次のとおりである。アロンの子はエレアザル、その子はピネハス、その子はアビシュア、
Bano be baava mu nda ya Alooni: mutabani we Eriyazaali, muzzukulu we Finekaasi, muzzukulu we Abisuwa,
51 その子はブッキ、その子はウジ、その子はゼラヒヤ、
muzzukulu we Bukki, muzzukulu we Uzzi, muzzukulu we Zerakiya,
52 その子はメラヨテ、その子はアマリヤ、その子はアヒトブ、
muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya, muzzukulu we Akitubu,
53 その子はザドク、その子はアヒマアズである。
muzzukulu we Zadooki, ne muzzukulu we Akimaazi.
54 アロンの子孫の住む所はその境のうちにある宿営によっていえば次のとおりである。まずコハテびとの氏族がくじによって得たところ、
Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.
55 すなわち彼らが与えられたところは、ユダの地にあるヘブロンとその周囲の放牧地である。
Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde,
56 ただし、その町の田畑とその村々は、エフンネの子カレブに与えられた。
naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune.
57 そしてアロンの子孫に与えられたものは、のがれの町であるヘブロンおよびリブナとその放牧地、ヤッテルおよびエシテモアとその放牧地、
Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo,
58 ヒレンとその放牧地、デビルとその放牧地、
Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo,
59 アシャンとその放牧地、ベテシメシとその放牧地である。
Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.
60 またベニヤミンの部族のうちからはゲバとその放牧地、アレメテとその放牧地、アナトテとその放牧地を与えられた。彼らの町は、すべてその氏族のうちに十三あった。
Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.
61 またコハテの子孫の残りの者は部族の氏族のうちからと、半部族すなわちマナセの半部族のうちからくじによって十の町を与えられた。
Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.
62 またゲルションの子孫はその氏族によってイッサカルの部族、アセルの部族、ナフタリの部族、およびバシャンのマナセの部族のうちから十三の町が与えられた。
Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.
63 メラリの子孫はその氏族によってルベンの部族、ガドの部族、およびゼブルンの部族のうちからくじによって十二の町が与えられた。
Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.
64 このようにイスラエルの人々はレビびとに町々とその放牧地とを与えた。
Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.
65 すなわちユダの子孫の部族とシメオンの部族の子孫と、ベニヤミンの子孫の部族のうちからここに名をあげたこれらの町をくじによって与えた。
N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.
66 コハテの子孫の氏族はまたエフライムの部族のうちからも町々を獲てその領地とした。
Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.
67 すなわち彼らが与えられた、のがれの町はエフライムの山地にあるシケムとその放牧地、ゲゼルとその放牧地、
Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri,
68 ヨクメアムとその放牧地、ベテホロンとその放牧地、
ne Yokumyamu, ne Besukolooni,
69 アヤロンとその放牧地、ガテリンモンとその放牧地である。
ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.
70 またマナセの半部族のうちからは、アネルとその放牧地およびビレアムとその放牧地を、コハテの子孫の氏族の残りのものに与えた。
N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.
71 ゲルションの子孫に与えられたものはマナセの半部族のうちからはバシャンのゴランとその放牧地、アシタロテとその放牧地。
Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi: okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase baafuna Golani mu Basani ne Asutoleesi, wamu n’amalundiro byako.
72 イッサカルの部族のうちからはケデシとその放牧地、ダベラテとその放牧地、
Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi
73 ラモテとその放牧地、アネムとその放牧地。
Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);
74 アセルの部族のうちからはマシャルとその放牧地、アブドンとその放牧地、
okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni,
75 ホコクとその放牧地、レホブとその放牧地。
Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;
76 ナフタリの部族のうちからはガリラヤのケデシとその放牧地、ハンモンとその放牧地、キリアタイムとその放牧地である。
n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.
77 このほかのもの、すなわちメラリの子孫に与えられたものはゼブルンの部族のうちからリンモンとその放牧地、タボルとその放牧地、
Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi: okuva eri ekika kya Zebbulooni baafuna Limunono ne Taboli wamu n’amalundiro byabyo;
78 エリコに近いヨルダンのかなた、すなわちヨルダンの東ではルベンの部族のうちからは荒野のベゼルとその放牧地、ヤザとその放牧地、
okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza,
79 ケデモテとその放牧地、メパアテとその放牧地。
Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;
80 ガドの部族のうちからはギレアデのラモテとその放牧地、マハナイムとその放牧地、
n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu,
81 ヘシボンとその放牧地、ヤゼルとその放牧地である。
Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.

< 歴代誌Ⅰ 6 >