< ルカの福音書 21 >

1 彼は目を上げて,富んだ人たちが宝物庫に彼らの供え物を入れているのを見た。
Awo Yesu bwe yayimusa amaaso n’alaba abantu abagagga nga bateeka ebirabo byabwe mu ggwanika mu Yeekaalu.
2 また,ある貧しいやもめが小さな真ちゅうの硬貨二つを投げ入れているのを見た。
N’alaba nnamwandu omwavu ng’awaayo busente bubiri.
3 彼は言った,「本当にあなた方に言う。この貧しいやもめは,彼ら全部よりも多くを入れた。
N’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti nnamwandu oyo omwavu agabye okusinga bali abagagga bonna.
4 これらの者はみな自分のあり余る中から神への供え物を入れたが,彼女は,その乏しい中から,彼女が生活のために持っていたものすべてを差し出したからだ」 。
Kubanga bagabye kitono nga bakiggya ku bugagga bwe bafisizzaawo, naye nnamwandu mu bwavu bwe awaddeyo kyonna ky’alina.”
5 ある者たちが,神殿について,それが美しい石や供え物で飾り立てられていることを話していると,彼は言った,
Ne wabaawo aboogera ku bulungi bw’amayinja agaweebwayo eri Katonda okuzimba Yeekaalu.
6 「あなた方が見ているこれらのものについて言えば,ここで石が崩されずにほかの石の上に残ることのない日々が来る」 。
Naye Yesu n’agamba nti, “Ekiseera kijja ebirungi bino byonna bye mutunuulira lwe biribetentulwa ne watasigalawo jjinja na limu nga litudde ku linnaalyo, eritalisuulibwa wansi.”
7 彼らは彼に答えた,「先生,それでは,それらのことはいつ起きるのですか。それらのことが起きるときのしるしは何ですか」。
Ne bamubuuza nti, “Omuyigiriza, ebyo biribaawo ddi? Ye walibaawo akabonero akaliraga nti biri kumpi okubaawo?”
8 彼は言った,「あなた方は惑わされないように注意していなさい。多くの者がわたしの名においてやって来て,『わたしはある』,また『その時が近づいた』と言うだろう。だから,彼らに従ってはいけない。
Yesu n’addamu nti, “Mwekuume muleme kulimbibwalimbibwa. Kubanga bangi balikozesa erinnya lyange, nga bagamba nti, ‘Nze nzuuyo.’ Naye temubakkirizanga.
9 戦争や動乱のことを聞く時,おびえてはいけない。これらのことはまず起こらなければならないが,終わりはすぐには来ないからだ」 。
Naye bwe muwuliranga entalo n’obwegugungo, temutyanga. Kubanga entalo ziteekwa okusooka okujja, naye enkomerero terituuka mangwago.”
10 それから,彼は彼らに言った,「民族は民族に,王国は王国に敵対して立ち上がるだろう。
N’ayongera n’abagamba nti, “Amawanga galirwanagana, n’obwakabaka ne bulwanagana ne bunaabwo.
11 あちこちで大きな地震やききんや伝染病がある。さまざまな恐ろしいことや天からの大いなるしるしがある。
Wagenda kubeerawo musisi ow’amaanyi ennyo, n’enjala ennyingi mu bitundu eby’enjawulo, ne kawumpuli. Walibaawo n’ebyentiisa ate n’obubonero okuva mu ggulu.
12 だが,これらのすべてのことの前に,人々はあなた方に手をかけ,迫害し,会堂やろうやに引き渡し,わたしの名のゆえに王たちや総督たちの前に引き出すだろう。
“Naye bino byonna nga tebinnabaawo balibayigganya, balibakwata. Balibawaayo mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso ga bakabaka ne bagavana, ku lw’erinnya lyange, ne musibibwa ne mu makomera.
13 それはあなた方にとって証言の機会となるだろう。
Kiribaviiramu okufuna omukisa okuba abajulirwa bange.
14 だから,どのように答えようかと前もって考えないよう心に決めなさい。
Naye temweraliikiriranga gye muliggya ebigambo eby’okuwoza,
15 わたしがあなた方に,あなた方の反対者たち全員が反論も否定もできないような口と知恵を与えるからだ。
Kubanga ŋŋenda kubawa ebigambo n’amagezi ebiriremesa n’abalabe bammwe okubaako n’eky’okuddamu!
16 あなた方は,両親,兄弟たち,親族たち,友人たちからさえ引き渡されるだろう。彼らは,あなた方のうちのある者たちを死に至らせるだろう。
Muliweebwayo bakadde bammwe, ne baganda bammwe ne mikwano gyammwe, balibawaayo mukwatibwe, era abamu ku mmwe muttibwe.
17 あなた方はわたしの名のゆえにすべての者たちから憎まれるだろう。
Abantu bonna balibakyawa nga babalanga erinnya lyange.
18 しかし,あなた方の髪の毛一本さえ滅びることはない。
Naye n’oluviiri olumu bwe luti olw’oku mitwe gyammwe terulizikirira.
19 「あなた方は自分の忍耐によって自分の命を勝ち取りなさい。
Kubanga bwe muligumiikiriza muliwonya obulamu bwammwe.”
20 「だが,エルサレムが軍隊に包囲されているのを見るなら,その時,その荒廃が近づいたことを知りなさい。
“Bwe mulabanga nga Yerusaalemi kyetooloddwa amaggye, nga mutegeera nga Okuzikirizibwa kw’ekibuga ekyo kutuuse.
21 その時,ユダヤにいる者たちは山に逃げなさい。都の中にいる者たちは立ち去りなさい。田舎にいる者たちは,都に入ってはいけない。
Abo abalibeera mu Buyudaaya baddukiranga ku nsozi, abaliba mu Yerusaalemi bakivangamu ne badduka, n’abo abalibeera mu nnimiro tebakomangawo mu kibuga.
22 これこそ,書かれているすべてのことが果たされる報復の日々だからだ。
Kubanga ebyo bye biriba ebiseera Katonda mwaliwolera eggwanga, n’ebigambo ebiri mu Byawandiikibwa birituukirizibwa.
23 それらの日,妊娠している者たちと幼子に乳を飲ませている者たちにとっては災いだ! この地には大きな苦しみがあり,この民に対しては憤りがあるからだ。
Nga ziribasanga abakazi abaliba embuto n’abayonsa! Kubanga eggwanga liribonaabona, n’abantu baalyo balisunguwalirwa.
24 彼らは剣の刃に倒れ,とりことしてあらゆる民族のもとへ引いて行かれるだろう。エルサレムは,異邦人たちの時が満たされるまで,異邦人たちによって踏みつけられるだろう。
Abamu balittibwa n’ekitala ky’omulabe, abalala balikwatibwa ne bawaŋŋangusibwa mu mawanga gonna amalala ag’oku nsi. Yerusaalemi kiriwangulwa bannaggwanga ne bakirinnyirira okutuusa ekiseera kyabwe eky’obuwanguzi lwe kirikoma mu kiseera Katonda ky’aliba ateesezza.”
25 太陽と月と星々にしるしがあり,地上では,海と波のとどろきのゆえに当惑する諸国民の不安があり,
“Walibaawo obubonero ku njuba, ne ku mwezi, ne ku mmunyeenye. Wano ku nsi amawanga galibeera mu kunyolwa, olw’ab’amawanga, ng’abantu basamaaliridde olw’ennyanja eziyira n’amayengo ageesiikuula.
26 人々は恐れのゆえ,また世界に臨もうとしている事柄についての予想のゆえに,気を失うだろう。天にあるもろもろの力が揺り動かされるからだ。
Abantu baliggwaamu amaanyi ne bazirika nga batidde nnyo olw’ebirijja ku nsi; kubanga amaanyi g’eggulu galinyeenyezebwa.
27 その時,人々は,人の子が力と大いなる栄光を伴って雲のうちに来るのを見るだろう。
Mu kiseera ekyo muliraba Omwana w’Omuntu ng’ajjira mu kire n’obuyinza n’ekitiibwa kingi.
28 だが,これらのことが起こり始めたなら,身を起こして頭を上げなさい。あなた方の請け戻しが近づいているからだ」 。
Kale ebintu ebyo bwe bitandikanga muyimiriranga butereevu ne muyimusa amaaso gammwe waggulu! Kubanga okulokolebwa kwammwe nga kusembedde.”
29 彼は彼らに一つのたとえを話した。「イチジクの木や,すべての木を見なさい。
Awo Yesu n’abagerera olugero luno nti, “Mutunuulire omuti omutiini n’emiti emirala gyonna.
30 すでに芽を出していると,あなた方はそれを見て,もう夏が近いことを自分で知る。
Bwe mulaba nga gitandise okutojjera, mumanya ng’ebiseera eby’ebbugumu bituuse.
31 このようにあなた方も,これらのことが起こるのを見たなら,神の王国が近いことを知りなさい。
Mu ngeri y’emu bwe muliraba ebintu nga bibaawo, nga mumanya nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi okutuuka.
32 本当にはっきりとあなた方に告げる。これらのすべてのことが実現するまでは,この世代は過ぎ去らない。
“Ddala ddala mbagamba nti omulembe guno teguliggwaawo okutuusa ng’ebintu ebyo byonna bituukiridde.
33 天と地は過ぎ去るだろう。それでも,わたしの言葉は決して過ぎ去ることがないのだ。
Eggulu n’ensi biriggwaawo, naye ebigambo byange tebigenda kuggwaawo.
34 「だから,見張っていなさい。そうでないと,飲み騒ぎや泥酔や生活の思い煩いであなた方の心が鈍くなり,その日が急にあなた方に臨むことになるだろう。
“Mwekuume muleme okwemalira mu binyumu n’okutamiira, n’okweraliikirira eby’obulamu, okujja kwange okw’amangu kuleme kubakwasa nga temugenderedde ng’abagudde mu mutego.
35 それは全地の表に住むすべての者たちに,わなのように臨むからだ。
Kubanga olunaku olwo lulituuka ku buli muntu mu nsi yonna.
36 だから,祈りながらいつも見張っていなさい。あなた方が,起ころうとしているこれらすべてのことを逃れ,人の子の前に立つにふさわしいとみなされるためだ」 。
Mutunule nga musaba Katonda buli kiseera, abawe amaanyi okubasobozesa okuwona ebintu ebyo byonna, Omwana w’Omuntu bw’alijja mulyoke musobole okuyimirira mu maaso ge.”
37 イエスは毎日,昼は神殿で教え,夜は出て行って,オリブトと呼ばれる山で夜を過ごしていた。
Buli lunaku Yesu yayigirizanga mu Yeekaalu, bwe bwawungeeranga n’ava mu kibuga n’asula ku lusozi oluyitibwa olwa Zeyituuni.
38 民はみな,彼の言うことを聞くために,朝早くから,神殿にいる彼のもとにやって来た。
Mu makya abantu bonna ne bajjanga mu Yeekaalu okumuwuliriza.

< ルカの福音書 21 >