< ヨハネの黙示録 5 >

1 我また御座に坐し給ふ者の右の手に、卷 物のあるを見たり、その裏表に文字あり、七つの印をもて封ぜらる。
Awo ne ndaba omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga guwandiikiddwamu munda ne kungulu era nga guteekeddwako obubonero bw’envumbo musanvu.
2 また大聲に『卷 物を開きてその封印を解くに相應しき者は誰ぞ』と呼はる強き御使を見たり。
Ne ndaba malayika ow’amaanyi ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’abuuza nti, “Ani asaanidde okubembulula obubonero obusibiddwa ku muzingo gw’ekitabo guno alyoke aguzingulule?”
3 然るに天にも地にも、地の下にも、卷 物を開きて之を見 得る者なかりき。
Ne wataba n’omu mu ggulu newaakubadde ku nsi, wadde wansi w’ensi, eyayinza okugwanjuluza wadde okugutunulamu.
4 卷 物を開き、これを見るに相應しき者の見えざりしに因りて、我いたく泣きゐたりしに、
Awo ne nkaaba amaziga mangi, kubanga tewaalabikawo n’omu eyasaanira okwanjuluza omuzingo newaakubadde okugutunulamu.
5 長老の一人われに言ふ『泣くな、視よ、ユダの族の獅子・ダビデの萠蘗、すでに勝を得て卷 物とその七つの封印とを開き得るなり』
Awo omu ku bakadde abiri mu abana n’aŋŋamba nti, “Lekeraawo okukaaba, kubanga, laba, empologoma ey’omu kika kya Yuda, ow’omu lulyo lwa Dawudi, yawangula, era y’ayinza okukutula obubonero omusanvu obw’envumbo n’okuzingulula omuzingo gw’ekitabo.”
6 我また御座および四つの活物と長老たちとの間に、屠られたるが如き羔羊の立てるを見たり、之に七つの角と七つの目とあり、この目は全世界に遣されたる神の七つの靈なり。
Ne ndaba nga ali ng’Omwana gw’Endiga ng’attiddwa ng’ayimiridde wakati w’entebe ey’obwakabaka n’ebiramu ebina, ne wakati w’abakadde, ng’alina amayembe musanvu n’amaaso musanvu, gy’emyoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu buli kitundu eky’ensi.
7 かれ來りて御座に坐したまふ者の右の手より卷 物を受けたり。
N’asembera n’aggya omuzingo gw’ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw’Oyo eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka.
8 卷 物を受けたるとき、四つの活物および二十四人の長老、おのおの立琴と香の滿ちたる金の鉢とをもちて、羔羊の前に平伏せり、此の香は聖徒の祈祷なり。
Bwe yagukwata, ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana, ne bagwa mu maaso g’Omwana gw’Endiga ne bavuunama, buli omu ng’alina ennanga era ng’akutte ekibya ekya zaabu, ekyali kijjudde obubaane obwakaloosa nga butegeeza okusaba kw’abantu abatukuvu.
9 かくて新しき歌を謳ひて言ふ『なんぢは卷 物を受け、その封印を解くに相應しきなり、汝は屠られ、その血をもて諸種の族・國語・民・國の中より人々を神のために買ひ、
Baali bamuyimbira oluyimba oluggya nti, “Ggw’osaanidde okutoola omuzingo gw’ekitabo, n’okusumulula ebigusibye n’okuguzingulula, kubanga wattibwa, omusaayi gwo ne gununula abantu ba Katonda okubaggya mu buli kika, na buli lulimi, na buli ggwanga, na buli nsi.
10 之を我らの神のために國民となし、祭司となし給へばなり。彼らは地の上に王となるべし』
N’obafuula obwakabaka ne bakabona ba Katonda okumuweerezanga, era be balifuga ensi.”
11 我また見しに、御座と活物と長老たちとの周圍にをる多くの御使の聲を聞けり。その數、千々萬々にして、
Awo ne ndaba era ne mpulira eddoboozi lya bamalayika enkumi n’enkumi, n’enkuyanja nga beetoolodde entebe ey’obwakabaka awamu n’ebiramu biri n’abakadde bali.
12 大聲にいふ『屠られ給ひし羔羊こそ、能力と富と知慧と、勢威と尊崇と、榮光と讃美とを受くるに相應しけれ』
Ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Omwana gw’Endiga eyattibwa, asaanidde okuweebwa obuyinza, n’obugagga, n’amagezi n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’ettendo n’okwebazibwa!”
13 我また天に、地に、地の下に、海にある萬の造られたる物、また凡てその中にある物の云へるを聞けり。曰く『願はくは御座に坐し給ふものと羔羊とに、讃美と尊崇と榮光と權力と世々 限りなくあらん事を』 (aiōn g165)
Ne ndyoka mpulira buli kitonde kyonna mu ggulu ne ku nsi ne wansi w’ensi ne mu nnyanja ne byonna ebigirimu nga bitendereza nti, “Okutenderezebwa, n’ettendo, n’ekitiibwa, n’amaanyi by’Oyo atudde ku ntebe y’obwakabaka awamu n’Omwana gw’Endiga, (aiōn g165)
14 四つの活物はアァメンと言ひ、長老たちは平伏して拜せり。
Ebiramu ebina ne biddamu nti, “Amiina.” N’abakadde ne bavuunama ne bamusinza.

< ヨハネの黙示録 5 >