< 詩篇 13 >

1 ああヱホバよ かくて幾何時をへたまふや 汝とこしへに我をわすれたまふや 聖顔をかくしていくそのときを歴たまふや
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna? Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
2 われ心のうちに終日かなしみをいだき籌畫をたましひに用ひて幾何時をふべきか わが仇はわがうへに崇められて幾何時をふべきか
Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi, n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi? Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?
3 わが神ヱホバよ我をかへりみて答をなしたまへ わが目をあきらかにしたまへ 恐らくはわれ死の睡につかん
Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange; onzizeemu amaanyi nneme okufa.
4 おそらくはわが仇いはん 我かれに勝りと おそらくはわが敵わがうごかさるるによりて喜ばん
Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;” abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.
5 されど我はなんぢの憐憫によりたのみ わが心はなんぢの救によりてよろこばん
Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka; era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
6 ヱホバはゆたかに我をあしらひたまひたれば われヱホバに對ひてうたはん
Nnaayimbiranga Mukama, kubanga ankoledde ebirungi.

< 詩篇 13 >