< マルコの福音書 15 >

1 夜 明るや直ちに、祭司長・長老・學者ら、即ち全 議會ともに相 議りて、イエスを縛り、曳きゆきてピラトに付す。
Amangwago mu makya olukiiko lwa bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka lwe Lukiiko Olukulu lwonna, ne bakuŋŋaana ne basiba Yesu, ne bamuweereza ewa Piraato.
2 ピラト、イエスに問ひて言ふ『なんぢはユダヤ人の王なるか』答へて言ひ給ふ『なんぢの言ふが如し』
Piraato n’abuuza Yesu nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Oyogedde.”
3 祭司長らさまざまに訴ふれば、
Awo bakabona abakulu ne bamulumiriza ebintu bingi.
4 ピラトまた問ひて言ふ『なにも答へぬか、視よ、如何に多くの事をもて訴ふるか』
Naye Piraato n’addamu n’amubuuza nti, “Lwaki toliiko ky’oddamu? Laba bakulumiriza ebintu bingi.”
5 されどピラトの怪しむばかり、イエス更に何をも答へ給はず。
Naye Yesu n’asirika busirisi, era Piraato n’amwewuunya nnyo.
6 さて祭の時には、ピラト民の願に任せて、囚人ひとりを赦す例なるが、
Ku buli mbaga, Piraato yabateeranga omusibe omu gwe baabanga bamusabye.
7 ここに一揆を起し、人を殺して繋がれをる者の中に、バラバといふ者あり。
Omu ku basibe mu kiseera ekyo yali ayitibwa Balaba, eyali asibiddwa ne bajeemu banne olw’okutta abantu nga bakola obwegugungo.
8 群衆すすみ來りて、例の如くせんことを願ひ出でたれば、
Awo Piraato n’agenda eri ekibiina n’ababuuza nga bwe yateranga okukola.
9 ピラト答へて言ふ『ユダヤ人の王を赦さんことを願ふか』
N’ababuuza nti, “Mwandyagadde mbasumululire kabaka w’Abayudaaya?”
10 これピラト、祭司長らのイエスを付ししは、嫉に因ると知る故なり。
Kubanga yamanya nga bakabona abakulu bamuwaddeyo lwa buggya.
11 されど祭司長ら群衆を唆かし、反つてバラバを赦さんことを願はしむ。
Naye bakabona abakulu ne bafukuutirira ekibiina babateere Balaba sso ssi Yesu.
12 ピラトまた答へて言ふ『さらば汝らがユダヤ人の王と稱ふる者をわれ如何にすべきか』
Naye Piraato n’addamu n’ababuuza nti, “Omuntu ono gwe muyita kabaka w’Abayudaaya mwandyagadde mmukole ntya?”
13 人々また叫びて言ふ『十字架につけよ』
Ne bawowoggana nti, “Mukomerere!”
14 ピラト言ふ『そも彼は何の惡事を爲したるか』かれら烈しく叫びて『十字架につけよ』と言ふ。
Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki? Azziza musango ki?” Naye bo ne beeyongera bweyongezi okuleekaana nti, “Mukomerere.”
15 ピラト群衆の望を滿さんとて、バラバを釋し、イエスを鞭うちたるのち、十字架につくる爲にわたせり。
Awo Piraato okusanyusa ekibiina, n’abasumululira Balaba. N’awaayo Yesu akomererwe ng’amaze okumukuba.
16 兵卒どもイエスを官邸の中庭に連れゆき、全 隊を呼び集めて、
Awo Abaserikale ne batwala Yesu mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo, ne bayita bannaabwe bonna abakuuma olubiri, ne bakuŋŋaana.
17 彼に紫色の衣を著せ、茨の冠冕を編みて冠らせ、
Ne bamwambaza ekyambalo ekya ffulungu, ne bakola engule mu maggwa ne bagissa ku mutwe gwe.
18 『ユダヤ人の王、安かれ』と禮をなし始め、
Ne balyoka bamulamusa nga bwe bagamba nti, “Mirembe! Kabaka w’Abayudaaya!”
19 また葦にて其の首をたたき、唾し、跪づきて拜せり。
Ne bamukuba omuggo ku mutwe, ne bamuwandulira amalusu, ne bamufukaamirira nga bwe bamuvuunamira.
20 かく嘲弄してのち、紫色の衣を剥ぎ、故の衣を著せ、十字架につけんとて曳き出せり。
Bwe baamala okumuduulira, ne bamwambulamu ekyambalo ekya ffulungu ne bamwambaza engoye ze, ne bamutwala okumukomerera.
21 時にアレキサンデルとルポスとの父シモンといふクレネ人、田舍より來りて通りかかりしに、強ひてイエスの十字架を負はせ、
Bwe baali bagenda ne basanga omusajja erinnya lye Simooni ow’e Kuleene, kitaawe wa Alegezanda ne Luufo eyali ava mu kyalo, ne bamuwaliriza yeetikke omusaalaba gwa Yesu.
22 イエスをゴルゴダ、釋けば髑髏といふ處に連れ往けり。
Awo ne batwala Yesu ne bamutuusa mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu gaakyo nti Ekifo ky’Ekiwanga.
23 かくて沒藥を混ぜたる葡萄酒を與へたれど、受け給はず。
Ne baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye n’amugaana.
24 彼らイエスを十字架につけ、而して誰が何を取るべきと、鬮を引きて其の衣を分つ、
Awo ne bamukomerera ku musaalaba. Ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
25 イエスを十字架につけしは、朝の九時 頃なりき。
Baamukomerera ku ssaawa ssatu ez’enkya.
26 その罪標には『ユダヤ人の王』と書せり。
Ne batimba ekipande waggulu w’omutwe gwa Yesu, okwawandiikibwa nti, “Kabaka w’Abayudaaya.”
27 イエスと共に、二人の強盜を十字架につけ、一人をその右に、一人をその左に置く。
Waaliwo abanyazi babiri abaakomererwa awamu naye, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo, n’omulala ku kkono.
28 [なし]
Bwe kityo Ekyawandiikibwa ne kituukirira ekigamba nti, “Yabalirwa wamu n’abamenyi b’amateeka.”
29 往來の者どもイエスを譏り、首を振りて言ふ『ああ、宮を毀ちて三日のうちに建つる者よ、
Awo abaali bayitawo, ne bakoteka ku mitwe gyabwe nga bamuduulira, nga bwe bagamba nti, “Mumulaba! Wagamba okumenya Yeekaalu n’okugizimbira ennaku ssatu,
30 十字架より下りて己を救へ』
weerokole, okke wansi okuva ku musaalaba.”
31 祭司長らも亦 同じく、學者らと共に嘲弄して互に言ふ『人を救ひて、己を救ふこと能はず、
Bakabona abakulu n’abawandiisi nabo baali bayimiridde awo nga baduulira Yesu, nga bagamba nti, “Yalokola balala, naye ye tasobola kwerokola!
32 イスラエルの王キリスト、いま十字架より下りよかし、さらば我ら見て信ぜん』共に十字架につけられたる者どもも、イエスを罵りたり。
Ggwe! Kristo, Kabaka wa Isirayiri! Kale kka ove ku musaalaba naffe tunaakukkiriza!” N’abanyazi ababiri abaakomererwa naye, nabo ne bamuvuma.
33 晝の十二 時に、地のうへ徧く暗くなりて、三時に及ぶ。
Okuva ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu okutuukira ddala ku ssaawa mwenda ez’olweggulo, ekizikiza ne kikwata ensi yonna.
34 三時にイエス大聲に『エロイ、エロイ、ラマ、サバクタニ』と呼はり給ふ。之を釋けば、わが神、わが神、なんぞ我を見 棄て給ひし、との意なり。
Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi eddene nti, “Eroi, Eroi, lama, sabakusaani?” Amakulu nti, “Katonda wange, Katonda wange, Lwaki onjabulidde?”
35 傍らに立つ者のうち或 人々これを聞きて言ふ『視よ、エリヤを呼ぶなり』
Abamu ku bantu abaali bayimiridde awo bwe baamuwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”
36 一人はしり往きて、海綿に酸き葡萄酒を含ませて葦につけ、イエスに飮ましめて言ふ『待て、エリヤ來りて、彼を下すや否や、我ら之を見ん』
Awo ne wabaawo eyadduka n’addira ekyangwe n’akijjuza wayini omukaatuufu, n’akisonseka ku luti, n’akiwanika eri Yesu anyweko, nga bw’agamba nti, “Mumuleke, ka tulabe obanga Eriya anajja n’amuwannulayo!”
37 イエス大聲を出して息 絶え給ふ。
Awo Yesu n’akoowoola n’eddoboozi ddene, n’awaayo obulamu bwe.
38 聖所の幕、上より下まで裂けて二つとなりたり。
Eggigi ery’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri okuviira ddala waggulu okutuuka wansi.
39 イエスに向ひて立てる百卒長、かかる樣にて息 絶え給ひしを見て言ふ『實にこの人は神の子なりき』
Omuserikale Omuruumi eyakuliranga ekibinja ky’abaserikale ekikumi eyali ayimiridde okwolekera omusaalaba gwa Yesu, bwe yalaba enfa gye yafaamu, n’agamba nti, “Ddala ddala, omusajja ono abadde Mwana wa Katonda!”
40 また遙に望み居たる女たちあり、その中にはマグダラのマリヤ、小ヤコブとヨセとの母マリヤ、及びサロメなども居たり。
Waaliwo abakazi abaali bayimiridde awo nga beesuddeko akabanga nga balengera, okwali Maliyamu Magudaleene, ne Saalome ne Maliyamu nnyina Yakobo omuto ne Yose.
41 彼らはイエスのガリラヤに居給ひしとき、從ひ事へし者どもなり。此の他イエスと共にエルサレムに上りし多くの女もありき。
Abo baayitanga naye mu Ggaliraaya era nga bamuweereza, n’abalala bangi abajja naye e Yerusaalemi.
42 日 既に暮れて、準備 日すなはち安息 日の前の日となりたれば、
Awo bwe bwawungeera, kubanga lunaku lwa kuteekateeka, olunaku olukulembera Ssabbiiti,
43 貴き議員にして、神の國を待ち望める、アリマタヤのヨセフ來りて、憚らずピラトの許に往き、イエスの屍體を乞ふ。
Yusufu ow’e Alimasaya, nga mukungu mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, naye eyali alindirira obwakabaka bwa Katonda, n’aba muvumu n’agenda eri Piraato okusabayo omulambo gwa Yesu.
44 ピラト、イエスは早や死にしかと訝り、百卒長を呼びて、その死にしより時 經しや否やを問ひ、
Piraato ne yeewuunya nnyo okuba nti Yesu yafudde dda. N’atumya omuserikale Omuruumi eyali akulembera banne ekikumi, n’amubuuza obanga Yesu yafudde dda.
45 既に死にたる事を百卒長より聞き知りて、屍體をヨセフに與ふ。
Bwe yakikakasa okuva eri omuserikale, Piraato n’awa Yusufu omulambo.
46 ヨセフ亞麻 布を買ひ、イエスを取下して之に包み、岩に鑿りたる墓に納め、墓の入口に石を轉し置く。
Awo Yusufu n’agula olugoye olwa linena, n’amuggya ku musaalaba, n’amuzinga mu lugoye olwa linena, n’amuteeka mu ntaana eyali etemeddwa mu lwazi, n’ayiringisa ejjinja n’aggalawo omulyango gw’entaana.
47 マグダラのマリヤとヨセの母マリヤと、イエスを納めし處を見ゐたり。
Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina Yose baaliwo era baalaba Yesu we yateekebwa.

< マルコの福音書 15 >