< ルカの福音書 14 >

1 イエス安息 日に食事せんとて、或パリサイ人の頭の家に入り給へば、人々これを窺ふ。
Awo olwatuuka ku lunaku lwa Ssabbiiti, Yesu bwe yali ng’agenze okulya mu nnyumba ey’omu ku bakulembeze b’Abafalisaayo, abantu bonna abaaliwo ne bamwekaliriza amaaso.
2 視よ、御前に水腫をわづらふ人ゐたれば、
Waaliwo omusajja omulwadde w’entumbi ng’atudde okwolekera Yesu we yali.
3 イエス答へて教法師とパリサイ人とに言ひたまふ『安息 日に人を醫すことは善しや、否や』
Awo Yesu n’abuuza Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka nti, “Kikkirizibwa okuwonya ku lunaku lwa Ssabbiiti, oba nedda?”
4 かれら默然たり。イエスその人を執り、醫して去らしめ、
Yesu yalaba tebazzeemu, kwe kukwata omusajja omulwadde ku mukono, n’amuwonya, n’amugamba yeetambulire.
5 且かれらに言ひ給ふ『なんぢらの中その子あるひは其の牛、井に陷らんに、安息 日には直ちに之を引揚げぬ者あるか』
N’alyoka abakyukira n’ababuuza nti, “Ani ku mmwe singa omwana we agwa mu kinnya oba ente ye n’egwa mu kinnya ku lunaku lwa Ssabbiiti, atamuggyayo oba atagiggyaayo mangwago?”
6 彼 等これに對して物 言ふこと能はず。
Era ne batamuddamu.
7 イエス招かれたる者の上席をえらぶを見、譬をかたりて言ひ給ふ、
Awo Yesu bwe yalaba abagenyi abaayitibwa n’abagerera olugero ng’agamba nti,
8 『なんぢ婚筵に招かるるとき、上席に著くな。恐らくは汝よりも貴き人の招かれんに、
“Bwe bakuyitanga ku mbaga ey’obugole, teweetuuzanga mu kifo ekisinga okuba eky’ekitiibwa kubanga singa ejjayo omugenyi akusinga ekitiibwa,
9 汝と彼とを招きたる者きたりて「この人に席を讓れ」と言はん。さらば其の時なんぢ恥ぢて末席に往きはじめん。
eyakuyise ku mbaga ajja kumuleeta awo w’otudde akugambe nti, ‘Viira ono atuule awo w’otudde.’ Noolyoka ositukawo ng’oswadde ogende onoonye ekifo ekirala emabega.
10 招かるるとき、寧ろ往きて末席に著け、さらば招きたる者きたりて「友よ、上に進め」と言はん。その時なんぢ同席の者の前に譽あるべし。
Naye bwe bakuyitanga, otuulanga mu kifo eky’emabega, kale nno eyakuyise bw’ajja alyoke akugambe nti, ‘Mukwano gwange, jjangu nkutwale mu kifo eky’omu maaso.’ Noolyoka osituka nga ne bagenyi banno bakuwa ekitiibwa.
11 凡そおのれを高うする者は卑うせられ、己を卑うする者は高うせらるるなり』
Kubanga buli muntu eyeegulumiza alitoowazibwa; n’oyo eyeetoowaza aligulumizibwa.”
12 また己を招きたる者にも言ひ給ふ『なんぢ晝餐または夕餐を設くるとき、朋友・兄弟・親族・富める隣 人などをよぶな。恐らくは彼らも亦なんぢを招きて報をなさん。
Awo Yesu n’akyukira eyamuyita n’amugamba nti, “Bw’otegekanga ekyemisana oba ekyeggulo, toyitanga mikwano gyo, wadde baganda bo, wadde ab’olulyo lwo, wadde baliraanwa bo abagagga; kubanga bw’okola otyo nabo bayinza okukuyita olulala ne baba ng’abakusasula.
13 饗宴を設くる時は、寧ろ貧しき者・不具・跛者・盲人などを招け。
Naye bw’ofumbanga ekijjulo, oyitanga abaavu, n’abagongobavu, n’abalema ne bamuzibe.
14 彼らは報ゆること能はぬ故に、なんぢ幸福なるべし。正しき者の復活の時に報いらるるなり』
Oliweebwa omukisa kubanga bo tebalina kya kukusasula. Olisasulibwa mu kuzuukira kw’Abatuukirivu.”
15 同席の者の一人これらの事を聞きてイエスに言ふ『おほよそ神の國にて食事する者は幸福なり』
Omu ku bagenyi abaali batudde ku mmeeza bwe yawulira ebigambo ebyo n’agamba Yesu nti, “Alina omukisa oyo alirya embaga mu bwakabaka bwa Katonda.”
16 之に言ひたまふ『或 人、盛なる夕餐を設けて、多くの人を招く。
Yesu n’amuddamu nti, “Waaliwo omusajja eyateekateeka okufumba embaga ennene, n’ayita abantu bangi.
17 夕餐の時いたりて、招きおきたる者の許に僕を遣して「來れ、既に備りたり」と言はしめたるに、
Bwe yamala okutegeka, n’atuma omuddu we agende ategeeze abaayitibwa nti, ‘Mujje byonna biwedde okutegeka.’
18 皆ひとしく辭りはじむ。初の者いふ「われ田地を買へり。往きて見ざるを得ず。請ふ、許されんことを」
“Naye bonna ne batandika okwewolereza; eyasooka n’agamba nti, ‘Nnaakagula ennimiro noolwekyo njagala kugenda kugirambula. Nkusaba onsonyiwe, nneme kujja.’
19 他の者いふ「われ五 耜の牛を買へり、之を驗すために往くなり。請ふ、許されんことを」
“Omulala n’agamba nti, ‘Nnakagula emigogo gy’ente ezirima etaano njagala kuzigezaamu. Nkusaba onsonyiwe nneme kujja.’
20 また他も者いふ「われ妻を娶れり、此の故に往くこと能はず」
“Omulala n’agamba nti, ‘Nnawasizza omukazi noolwekyo sisobola kujja.’
21 僕かへりて此 等の事をその主人に告ぐ、家主いかりて僕に言ふ「とく町の大路と小路とに往きて、貧しき者・不具 者・盲人・跛者などを此處に連れきたれ」
“Omuddu n’akomawo n’ategeeza mukama we ng’abagenyi be yayita bwe bagambye. Mukama we n’anyiiga, n’amulagira agende mangu mu nguudo ez’omu kibuga ne mu bikubo, ayite abaavu n’abagongobavu, n’abalema, ne bamuzibe.
22 僕いふ「主よ、仰のごとく爲したれど、尚ほ餘の席あり」
“Omuddu n’agamba mukama we nti, ‘Bonna mbayise nga bw’ondagidde, naye era mu kisenge ky’embaga mukyalimu ebifo.’
23 主人、僕に言ふ「道や籬の邊にゆき、人々を強ひて連れきたり、我が家に充たしめよ。
“N’agamba omuddu we nti, ‘Genda mu nguudo ez’omu byalo ne mu bukubo obutono okubirize b’onoosangayo bajje, ennyumba yange ejjule.
24 われ汝らに告ぐ、かの招きおきたる者のうち、一人だに我が夕餐を味ひ得る者なし」』
Era mbategeeza nti tewali n’omu ku abo be nayita alirya ku mbaga yange.’”
25 さて大なる群衆イエスに伴ひゆきたれば、顧みて之に言ひたまふ、
Awo ebibiina by’abantu bangi nnyo bwe baali bagoberera Yesu, n’akyuka n’abagamba nti,
26 『人もし我に來りて、その父 母・妻 子・兄弟・姉妹・己が生命までも憎まずば、我が弟子となるを得ず。
“Omuntu bw’anajjanga gye ndi, n’atakyawa kitaawe, oba nnyina, oba mukyala we n’abaana be, oba baganda be oba bannyina, newaakubadde obulamu bwe ye yennyini, tayinzenga kuba muyigirizwa wange.
27 また己が十字架を負ひて我に從ふ者ならでは、我が弟子となるを得ず。
Era oyo ateetikka musaalaba gwe n’angoberera, tayinza kuba muyigirizwa wange.
28 汝らの中たれか櫓を築かんと思はば、先づ坐して其の費をかぞへ、己が所有、竣工までに足るか否かを計らざらんや。
“Singa omu ku mmwe ayagala okuzimba omulungooti, tamala kutuula n’abalirira omuwendo omulimu ogwo gwe gunaatwala, n’alaba obanga ensimbi ezeetaagibwa azirina okugumaliriza?
29 然らずして基を据ゑ、もし成就すること能はずば、見る者みな嘲笑ひて、
Kubanga singa tagumaliriza n’akoma ku musingi gwokka, buli agulaba atandika okumusekerera,
30 「この人は築きかけて成就すること能はざりき」と言はん。
nga bw’agamba nti, ‘Omuntu ono yatandika okuzimba naye n’alemwa okumaliriza!’
31 又いづれの王か出でて他の王と戰爭をせんに、先づ坐して、此の一萬 人をもて、かの二萬 人を率ゐきたる者に對ひ得るか否か籌らざらんや。
“Oba kabaka ki agenda okulwana ne kabaka omulala amulumba, tamala kutuula n’abalirira obanga n’abaserikale omutwalo ogumu b’alina, asobola okulwanyisa kabaka omulala ajja okumulumba n’abaserikale emitwalo ebiri?
32 もし及かずば、敵なほ遠く隔るうちに、使を遣して和睦を請ふべし。
Bw’afumiitiriza n’alaba nga tajja kusobola, atumira kabaka oli omubaka, ng’akyaliko wala, okuteesa emirembe.
33 かくのごとく、汝らの中その一切の所有を退くる者ならでは、我が弟子となるを得ず。
Kale, buli muntu ku mmwe ateefiiriza byonna by’alina, tayinza kuba muyigirizwa wange.
34 鹽は善きものなり、然れど鹽もし效力を失はば、何によりてか味つけられん。
“Omunnyo mulungi, naye singa guggwaamu ensa, guzibwamu gutya obuka bwagwo?
35 土にも肥料にも適せず、外に棄てらるるなり。聽く耳ある者は聽くべし』
Guba tegukyalina mugaso n’akamu mu ttaka wadde ne mu bigimusa, noolwekyo gusuulibwa bweru. Alina amatu agawulira awulire.”

< ルカの福音書 14 >