< エペソ人への手紙 2 >

1 汝ら前には咎と罪とによりて死にたる者にして、
Edda mwali mufiiridde mu byonoono byammwe ne mu bibi byammwe.
2 この世の習慣に從ひ、空中の權を執る宰、すなはち不 從順の子らの中に今なほ働く靈の宰にしたがひて歩めり。 (aiōn g165)
Ebyo bye mwatambulirangamu ng’emirembe egy’ensi bwe giri, nga mufugibwa omwoyo ogw’omukulu w’obuyinza obw’omu bbanga, omwoyo ogwa Setaani, ogufuga abajeemu bonna. (aiōn g165)
3 我等もみな前には彼らの中にをり、肉の慾に從ひて日をおくり、肉と心との欲する隨をなし、他の者のごとく生れながら怒の子なりき。
Edda naffe twatambuliranga mu kwegomba kw’emibiri gyaffe, nga tukola ebyo ebyegombebwanga omubiri n’ebirowoozo. Era okufaanana ng’abantu abalala bonna, naffe mu buzaaliranwa twali baakubonerezebwa ng’abalala bonna.
4 されど神は憐憫に富み給ふが故に、我らを愛する大なる愛をもて、
Kyokka olw’okwagala kwe okungi, n’ekisa kye ekingi,
5 咎によりて死にたる我等をすら、キリスト・イエスに由りてキリストと共に活し、(汝らの救はれしは恩惠によれり)
ne bwe twali nga tufiiridde mu bibi byaffe, yatufuula abalamu awamu ne Kristo. Mwalokolebwa lwa kisa.
6 共に甦へらせ、共に天の處に坐せしめ給へり。
Katonda yatuzuukiriza wamu ne Kristo okuva mu kufa ne tufuna obulamu, era atutuuzizza mu bifo eby’omu ggulu, okumpi ne Kristo Yesu.
7 これキリスト・イエスに由りて我らに施したまふ仁慈をもて、其の恩惠の極めて大なる富を、來らんとする後の世々に顯さんとてなり。 (aiōn g165)
Ekyo Katonda yakikola alyoke alage, mu mirembe egigenda okujja, ekisa kye ekingi kye yatukwatirwa mu Kristo Yesu. (aiōn g165)
8 汝らは恩惠により、信仰によりて救はれたり、是おのれに由るにあらず、神の賜物なり。
Mwalokolebwa lwa kisa olw’okukkiriza. Tekwava mu mmwe, wabula kirabo kya Katonda.
9 行爲に由るにあらず、これ誇る者のなからん爲なり。
Tekwatuweebwa lwa bikolwa byaffe; noolwekyo omuntu yenna aleme okwenyumirizanga.
10 我らは神に造られたる者にして、神の預じめ備へ給ひし善き業に歩むべく、キリスト・イエスの中に造られたるなり。
Tuli mulimu gwa Katonda, abaatondebwa mu Kristo Yesu, okukolanga ebikolwa ebirungi, nga Katonda bwe yatuteekerateekera.
11 されば記憶せよ、肉によりては異邦人にして、手にて肉に行ひたるかの割禮ありと稱ふる者に無 割禮と稱へらるる汝ら、
Noolwekyo mujjukire, ng’edda mmwe abaali Abaamawanga mu mubiri, abaayitibwanga abatali bakomole abo abeeyita abaakomolebwa, kyokka nga baakomolebwa mu mubiri na ngalo z’abantu,
12 曩にはキリストなく、イスラエルの民 籍に遠く、約束に屬する諸般の契約に與りなく、世に在りて希望なく、神なき者なりき。
nga mu biro biri temwamanya Kristo. Temwabalirwa mu ggwanga lya Isirayiri, era ng’Abaamawanga, temwalina mugabo mu ndagaano ya Katonda ey’ekisuubizo. Mwali wala ne Katonda, nga n’essuubi temulina.
13 されど前に遠かりし汝ら今キリスト・イエスに在りて、キリストの血によりて近づくことを得たり。
Naye kaakano mu Kristo Yesu, mmwe abaali ewala mwasembezebwa olw’omusaayi gwa Kristo.
14 彼は我らの平和にして、己が肉により、樣々の誡命の規より成る律法を廢して、二つのものを一つとなし、怨なる隔の中籬を毀ち給へり。これは二つのものを己に於て一つの新しき人に造りて平和をなし、
Kristo gy’emirembe gyaffe, oyo eyatufuula ffe Abayudaaya nammwe Abaamawanga, okuba omuntu omu, ng’amenyeewo ekisenge ekya wakati eky’obulabe, ekyatwawulanga.
15 彼は我らの平和にして、己が肉により、樣々の誡命の規より成る律法を廢して、二つのものを一つとなし、怨なる隔の中籬を毀ち給へり。これは二つのものを己に於て一つの新しき人に造りて平和をなし、
Yadibya n’etteeka mu mateeka, alyoke yeetondemu omuntu omuggya ava mu babiri, ng’aleeta emirembe,
16 十字架によりて怨を滅し、また之によりて二つのものを一つの體となして神と和がしめん爲なり。
alyoke atabaganye ababiri okufuuka omubiri gumu eri Katonda olw’omusaalaba, bwe yazikiririza obulabe ku gwo.
17 かつ來りて、遠かりし汝 等にも平和を宣べ、近きものにも平和を宣べ給へり。
Yajja okubuulira emirembe abo abaali ewala ne Katonda, n’abo abaali okumpi naye.
18 そはキリストによりて我ら二つのもの一つ御靈にありて父に近づくことを得たればなり。
Ku bw’oyo Kristo ffenna tuyita mu Mwoyo omu okutuuka eri Kitaffe.
19 されば汝 等はもはや旅人また寄寓人にあらず、聖徒と同じ國人また神の家族なり。
Noolwekyo temukyali baamawanga oba abagwira, wabula muli ba kika kimu n’abatukuvu, abantu ba Katonda, era muli ba mu nnyumba ya Katonda.
20 汝らは使徒と預言者との基の上に建てられたる者にして、キリスト・イエス自らその隅の首石たり。
Mwazimbibwa ku musingi ogw’abatume ne bannabbi, nga Kristo Yesu ly’ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
21 おのおのの建造物、かれに在りて建て合せられ、彌増に聖なる宮、主のうちに成るなり。
Mu oyo ffenna tuzimbibwa wamu ne tugattibwa wamu ne tubeera essinzizo ettukuvu mu Mukama waffe.
22 汝 等もキリストに在りて共に建てられ、御靈によりて神の御住となるなり。
Era nammwe mwazimbibwa wamu mu kizimbe ekyo Kristo ky’azimbye okubeeranga ekifo Omwoyo wa Katonda mwabeera.

< エペソ人への手紙 2 >