< コリント人への手紙第一 13 >

1 たとひ我もろもろの國人の言および御使の言を語るとも、愛なくば鳴る鐘や響く鐃鈸の如し。
Singa njogera ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala.
2 假令われ預言する能力あり、又すべての奧義と凡ての知識とに達し、また山を移すほどの大なる信仰ありとも、愛なくば數ふるに足らず。
Ne bwe mba n’ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n’okukkiriza okungi ne kunsobozesa n’okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu.
3 たとひ我わが財産をことごとく施し、又わが體を燒かるる爲に付すとも、愛なくば我に益なし。
Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.
4 愛は寛容にして慈悲あり。愛は妬まず、愛は誇らず、驕らず、
Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza.
5 非禮を行はず、己の利を求めず、憤ほらず、人の惡を念はず、
Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo.
6 不義を喜ばずして、眞理の喜ぶところを喜び、
Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima.
7 凡そ事 忍び、おほよそ事 信じ、おほよそ事 望み、おほよそ事 耐ふるなり。
Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.
8 愛は長久までも絶ゆることなし。然れど預言は廢れ、異言は止み、知識もまた廢らん。
Okwagala tekulemererwa; obunnabbi buliggyibwawo, n’ennimi zirikoma, n’eby’amagezi birikoma.
9 それ我らの知るところ全からず、我らの預言も全からず。
Kubanga tumanyiiko kitundu, ne bunnabbi nabwo bwa kitundu.
10 全き者の來らん時は全からぬもの廢らん。
Naye ebituukiridde bwe birijja, olwo eby’ekitundu nga biggwaawo.
11 われ童子の時は語ることも童子のごとく、思ふことも童子の如く、論ずる事も童子の如くなりしが、人と成りては童子のことを棄てたり。
Bwe nnali omuto, nayogeranga ng’omuto, nalowoozanga ng’omuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka eby’ekito.
12 今われらは鏡をもて見るごとく見るところ朧なり。然れど、かの時には顏を對せて相 見ん。今わが知るところ全からず、然れど、かの時には我が知られたる如く全く知るべし。
Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng’abali mu ndabirwamu eteraba bulungi; naye tulirabira ddala bulungi amaaso n’amaaso. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu, naye luli ndimanyira ddala byonna, mu bujjuvu.
13 げに信仰と希望と愛と此の三つの者は限りなく存らん、而して其のうち最も大なるは愛なり。
Kaakano waliwo ebintu bisatu eby’olubeerera: okukkiriza, n’okusuubira, era n’okwagala. Naye ekisingako ku ebyo obukulu kwe kwagala.

< コリント人への手紙第一 13 >