< コリント人への手紙第一 1 >

1 神の御意により召されてイエス・キリストの使徒となれるパウロ及び兄弟ソステネ、
Nze Pawulo eyayitibwa okuba omutume wa Yesu Kristo olw’okwagala kwa Katonda, ne Sossene owooluganda,
2 書をコリントに在る神の教會、即ちいづれの處にありても、我らの主、ただに我等のみならず彼らの主なるイエス・キリストの名を呼び求むる者とともに、聖徒となるべき召を蒙り、キリスト・イエスに在りて潔められたる汝らに贈る。
tuwandiikira ekkanisa ya Katonda eri mu Kkolinso n’eri abo abaatukuzibwa mu Kristo Yesu, abayitibwa abatukuvu, n’abo bonna abakoowoola erinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo mu buli kifo, owaabwe era owaffe;
3 願はくは我らの父なる神および主イエス・キリストより賜ふ恩惠と平安と汝らに在らんことを。
ekisa kibe ku mmwe n’emirembe egiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Kristo.
4 われ汝らがキリスト・イエスに在りて神より賜はりし恩惠に就きて、常に神に感謝す。
Nneebaza Katonda wange bulijjo ku lwammwe, olw’ekisa kya Katonda ekyabaweebwa mu Kristo Yesu,
5 汝らはキリストに在りて、諸般のこと即ち凡ての言と凡ての悟とに富みたればなり。
mu ye mwagaggawazibwa mu buli kintu, ne mu kwogera kwonna, era ne mu kutegeera kwonna,
6 これキリストの證なんぢらの中に堅うせられたるに因る。
era ng’obujulirwa bwa Kristo bwe bwakakasibwa mu mmwe,
7 斯く汝らは凡ての賜物に缺くる所なくして、我らの主イエス・キリストの現れ給ふを待てり。
muleme kubaako kye mwetaaga mu kirabo kyonna, nga mulindirira okubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
8 彼は汝らを終まで堅うして、我らの主イエス・キリストの日に責むべき所なからしめ給はん。
Era oyo y’alibanyweza ku nkomerero, nga temuliiko kya kunenyezebwa ku lunaku lwa Mukama waffe Yesu Kristo.
9 汝らを召して其の子われらの主イエス・キリストの交際に入らしめ給ふ神は眞實なる哉。
Katonda mwesigwa, oyo eyabayita mu kussekimu okw’Omwana we Yesu Kristo Mukama waffe.
10 兄弟よ、我らの主イエス・キリストの名に頼りて汝らに勸む、おのおの語るところを同じうし、分爭する事なく、同じ心おなじ念にて全く一つになるべし。
Kaakano mbeegayirira abooluganda, mu Iinnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mukkiriziganyenga mwekka na mwekka muleme okwawukananga. Naye mube n’omutima gumu n’endowooza emu.
11 わが兄弟よ、クロエの家の者、なんぢらの中に紛爭あることを我に知らせたり。
Abooluganda, ab’ewa Kuloowe bannyinnyonnyola nti mu mmwe mulimu ennyombo.
12 即ち汝 等おのおの『我はパウロに屬す』『われはアポロに』『我はケパに』『我はキリストに』と言ふこれなり。
Kye ŋŋamba kye kino nti buli omu ku mmwe agamba nti nze ndi wa Pawulo, nze ndi wa Apolo, nze ndi wa Keefa, nze ndi wa Kristo.
13 キリストは分たるる者ならんや、パウロは汝らの爲に十字架につけられしや、汝らパウロの名に頼りてバプテスマを受けしや。
Kale Kristo ayawuliddwamu? Pawulo yakomererwa ku musaalaba ku lwammwe? Oba mwabatizibwa mu linnya lya Pawulo?
14 我は感謝す、クリスポとガイオとの他には、我なんぢらの中の一人にもバプテスマを施さざりしを。
Neebaza Katonda kubanga nze sibatizanga muntu n’omu ku mmwe okuggyako Kulisupo ne Gaayo.
15 是わが名に頼りて汝らがバプテスマを受けしと人の言ふ事なからん爲なり。
Noolwekyo si kulwa nga wabaawo agamba nti mwabatizibwa mu linnya lyange.
16 またステパノの家族にバプテスマを施しし事あり、此の他には我バプテスマを施しし事ありや知らざるなり。
Naye nzijukira nga nabatiza ab’omu nnyumba ya Suteefana, naye sirowooza nga nabatiza omuntu omulala yenna.
17 そはキリストの我を遣し給へるはバプテスマを施させん爲にあらず、福音を宣傳へしめんとてなり。而して言の智慧をもつてせず、是キリストの十字架の虚しくならざらん爲なり。
Kristo teyantuma kubatiza wabula yantuma kubuulira Njiri. Era sigibuulira mu magezi ga bigambo bugambo, si kulwa ng’omusaalaba gwa Kristo gumalibwamu amaanyi gaagwo.
18 それ十字架の言は亡ぶる者には愚なれど、救はるる我らには神の能力なり。
Ekigambo ky’omusaalaba kya busirusiru eri abo abazikirira naye eri ffe abaalokolebwa ge maanyi ga Katonda.
19 録して、『われ智者の智慧をほろぼし、慧き者のさときを空しうせん』とあればなり。
Kubanga kyawandiikibwa nti, “Ndizikiriza amagezi g’abagezi, ne nzigyawo okumanya kw’abayivu.”
20 智者いづこにか在る、學者いづこにか在る、この世の論者いづこにか在る、神は世の智慧をして愚ならしめ給へるにあらずや。 (aiōn g165)
Kale omugezi aluwa? N’omuwandiisi aluwa? Omuwakanyi w’omulembe guno aluwa? Katonda teyafuula amagezi ag’ensi eno okuba obusirusiru? (aiōn g165)
21 世は己の智慧をもて神を知らず(これ神の智慧に適へるなり)この故に神は宣教の愚をもて、信ずる者を救ふを善しとし給へり。
Kubanga Katonda, mu magezi ge, yalaba ng’ensi teyinza kumumanya ng’eyita mu kutegeera kwayo. Katonda kyeyava asiima okuyita mu busirusiru bw’okubuulira Enjiri okulokola abakkiriza.
22 ユダヤ人は徴を請ひ、ギリシヤ人は智慧を求む。
Kubanga Abayudaaya banoonya bubonero, Abayonaani bo ne banoonya amagezi,
23 されど我らは十字架に釘けられ給ひしキリストを宣傳ふ。これはユダヤ人に躓物となり、異邦人に愚となれど、
naye ffe tubuulira Kristo eyakomererwa. Eri Abayudaaya nkonge, eri Abaamawanga busirusiru,
24 召されたる者にはユダヤ人にもギリシヤ人にも、神の能力また神の智慧たるキリストなり。
naye eri abaayitibwa, Abayudaaya n’Abamawanga, Kristo ge maanyi ga Katonda, era amagezi ga Katonda.
25 神の愚は人よりも智く、神の弱は人よりも強ければなり。
Kubanga obusirusiru bwa Katonda businga amagezi g’abantu, n’obunafu bwa Katonda businga abantu amaanyi.
26 兄弟よ、召を蒙れる汝らを見よ、肉によれる智き者おほからず、能力ある者おほからず、貴きもの多からず。
Kubanga mulabe okuyitibwa kwammwe abooluganda, bangi ku mmwe temwali bagezi mu mubiri, era nga bangi temuli b’amaanyi, era nga bangi temwazaalibwa nga muli ba kitiibwa.
27 されど神は智き者を辱しめんとて世の愚なる者を選び、強き者を辱しめんとて弱き者を選び、
Naye Katonda yalonda ebisirusiru eby’ensi, akwase abagezi ensonyi; era Katonda yalonda ebinafu eby’ensi, akwase ab’amaanyi ensonyi,
28 有る者を亡さんとて世の卑しきもの、輕んぜらるる者、すなわち無きが如き者を選び給へり。
era n’alonda abakopi ab’ensi n’abo abanyoomebwa; era n’ebitaliiwo alyoke aggyewo ebiriwo,
29 これ神の前に人の誇る事なからん爲なり。
waleme kubaawo muntu n’omu eyeenyumiriza mu maaso ga Katonda.
30 汝らは神に頼りてキリスト・イエスに在り、彼は神に立てられて我らの智慧と義と聖と救贖とになり給へり。
Kyokka ku bw’oyo muli mu Kristo Yesu, eyafuuka amagezi gye tuli okuva eri Katonda, bwe butuukirivu, n’okutukuzibwa, n’okununulibwa,
31 これ『誇る者は主に頼りて誇るべし』と録されたる如くならん爲なり。
nga bwe kyawandiikibwa nti eyeenyumiriza yeenyumirizenga mu Mukama waffe.

< コリント人への手紙第一 1 >