< Haggai 2 >

1 Am einundzwanzigsten Tag des siebenten Monats erging das Wort des Herrn durch den Propheten Aggäus, also lautend:
Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu olumu mu mwezi ogw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti,
2 "Zum Sohn Salatiels, Zorobabel, dem Statthalter von Juda, sowie zum Hohenpriester Josue, dem Sohne Josadaks, und zu des Volkes Rest sprich also:
“Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti,
3 'Wer ist von euch noch übrig, der dies Haus geschaut in seiner ersten Herrlichkeit? Wie aber seht ihr's jetzt? Ist's nicht wie nichts in euren Augen?
‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa ky’ennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ng’eteriimu kaabuntu?
4 Und doch, faß Mut, Zorobabel!' Ein Spruch des Herrn. 'Faß Mut, du Josue, Sohn des Josadak und Hoherpriester! Faß Mut, gesamtes Volk des Landes!' Ein Spruch des Herrn. 'Und haltet doch - ich will ja mit euch sein', ein Spruch des Herrn der Heerscharen -
Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bw’ayogera Mukama; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu ab’omu nsi,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
5 'den Bund, den ich bei eurem Auszug aus Ägypten mit euch geschlossen habe! Dann bleibt mein Geist in eurer Mitte, und ihr braucht keine Furcht zu haben!'"
‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ng’Omwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’
6 "Denn also spricht der Herr der Heerscharen: 'Noch einmal eine kleine Weile noch, erschüttre ich den Himmel und die Erde, das Meer sowie das trockene Land.
“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Mu bbanga eritali ly’ewala ndikankanya eggulu n’ensi, n’ennyanja n’olukalu.
7 Und ich erschüttre alle Heidenvölker, und aller Heiden Schätze kommen her, und so erfülle ich dies Haus mit Herrlichkeit.' So spricht der Herr der Heerscharen.
Ndikankanya amawanga gonna, n’amawanga gonna ge njagala galijja, ne nzijuza ennyumba eno ekitiibwa,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
8 'Mein ist das Silber, mein das Gold.' Ein Spruch des Herrn der Heerscharen.
‘Effeeza yange, ne zaabu yange,’ bw’ayogera Mukama ow’eggye.
9 'Und dieses Hauses künftige Pracht wird größer als die des früheren.' So spricht der Herr der Heerscharen. 'An diesem Orte will ich Heil verleihen.' Ein Spruch des Herrn der Heerscharen."
‘Ekitiibwa eky’ennyumba eriwo kaakano, kirisinga ekitiibwa ky’eri eyasooka era mu kifo kino ndizzaawo emirembe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”
10 Am vierundzwanzigsten des neunten Monats, im zweiten Jahre des Darius, erging das Wort des Herrn durch den Propheten Aggäus also:
Awo ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogw’omwenda mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi nti,
11 "So spricht der Herr der Heerscharen: 'Die Priester bitte um Belehrung über dies:
“Bw’atyo bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, ‘Buuza bakabona etteeka kye ligamba.
12 Trägt jemand heilig Fleisch in seines Kleides Bausch, und er berührt mit seinem Bausche Brot, Gekochtes oder Wein und Öl und sonst etwas Genieß bares, wird dies dadurch geweiht?'" Die Priester gaben drauf zur Antwort: "Nein!"
Omuntu bw’asitulira ennyama eyatukuzibwa mu kirenge eky’ekyambalo kye, ekirenge ne kikoma ku mugaati oba ku supu, oba ku wayini, oba ku mafuta oba ku mmere endala yonna, bitukuzibwa?’” Bakabona ne baddamu nti, “Nedda.”
13 Da sprach Aggäus: "Berührte aber jene Dinge jemand, der unrein ist durch eine Leiche, so würden sie wohl unrein werden?" Die Priester gaben drauf zur Antwort: "Ja!"
Awo Kaggayi n’abuuza nti, “Omuntu atali mulongoofu olw’omulambo, bw’akoma ku bintu ebyo, bifuuka ebitali birongoofu?” Bakabona ne baddamu nti, “Bifuuka ebitali birongoofu.”
14 Da fuhr Aggäus fort und sprach: "So ist in meinen Augen dieses Volk, so diese Nation beschaffen", ein Spruch des Herrn, "und so auch alle Arbeit ihrer Hände, wohin sie treten, wird es unrein.
Kaggayi n’addamu nti, “Kale nno bwe batyo bwe bali abantu bano n’eggwanga lino. Buli kye bakola ne buli kye bawaayo ng’ekiweebwayo, si kirongoofu,” bw’ayogera Mukama.
15 Nun denkt vom heutigen Tag in die Vergangenheit zurück, bevor man Stein auf Stein am Heiligtum des Herrn gelegt!
“‘Kale nno, mweddeko okuva ku lunaku lwa leero, mujjukire ebiseera biri bwe byali, nga n’ejjinja erimu terinnateekebwa ku linnaalyo mu yeekaalu ya Mukama.
16 Eh dies geschehen war, wenn einer kam zu einem Haufen Gerste, gut zu zwanzig Maß geschätzt, so waren's nur noch zehn. Wenn einer hin zur Kelter kam, um fünfzig Maß zu schöpfen, so waren's nur noch zwanzig.
Omuntu yenna bwe yatuukanga ku ntuumu eyandibadde ey’ebipimo amakumi abiri, yassangawo ebipimo kkumi. Omuntu yenna bwe yalaganga mu ssogolero okusenamu lita amakumi ataano, yasangangamu amakumi abiri.
17 Mit Kornbrand schlug ich euch und mit Vergilbung, mit Hagel alles, was ihr angebaut. Doch wolltet ihr von mir nichts wissen." Ein Spruch des Herrn.
Nakolimira emirimu gyonna egy’emikono gyammwe n’okugengewala n’obukuku, n’omuzira, naye ne mutakyuka kudda gye ndi,’ bw’ayogera Mukama.
18 "Nun aber richtet euer Augenmerk von diesem Tag an vorwärts hin, vom vierundzwanzigsten des neunten Monats! Vom Tag an, da man an dem Heiligtum des Herrn den Grundstein legte, gebt acht,
Okuva olunaku lwa leero, olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omwenda, mujjukire olunaku lwe baazimba omusingi gwa yeekaalu ya Mukama. Mwebuuze nti,
19 ob noch die Saatfrucht in den Speichern schwindet und ob der Weinstock und der Feigenbaum, Granat- und Ölbaum noch nicht tragen! Von diesem Tag an spendete ich Segen."
Wakyaliwo ensigo eyasigala mu tterekero? Mulabe, emiti gino egimenyeddwa, ogw’omuzabbibu n’ogw’omutiini, n’ogw’omukomamawanga, n’ogw’omuzeeyituuni tegibalangako bibala. “‘Naye okuva ne leero ndibawa omukisa.’”
20 Zum zweitenmal erging das Wort des Herrn am vierundzwanzigsten desselben Monats an Aggäus, also lautend:
Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Kaggayi omulundi ogwokubiri ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya olw’omwezi ogwo nga kigamba nti,
21 "Zum Statthalter von Juda, zu Zorobabel sprich also: Ich werde jetzt den Himmel und die Erde tief erschüttern.
“Tegeeza Zerubbaberi gavana wa Yuda nti ndikankanya eggulu n’ensi.
22 Die Königsthrone stürz ich um. Die Rosse samt den Reitern sinken hin, ein jeder durch des andern Schwert.
Ndisulika entebe ez’obwakabaka ne nzigyawo obuyinza bw’obwakabaka obunnaggwanga. Ndiwamba amagaali n’abavuzi baago, n’embalaasi na buli abazeebagala, balittibwa baganda baabwe.
23 An jenem Tag", ein Spruch des Herrn der Heerscharen, "da nehm ich dich, Zorobabel, Salatiels Sohn, zu meinem Diener", ein Spruch des Herrn, "und hüte dich wie einen Siegelring. Dich habe ich erkoren." Ein Spruch des Herrn der Heerscharen.
“‘Ku lunaku olwo, ggwe omuweereza wange Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ndikufuula ng’akabonero, kubanga nkulonze,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.”

< Haggai 2 >