< 2 Mose 10 >

1 Da sprach der Herr zu Moses: "Geh hinein zu Pharao! Habe ich doch sein und seiner Diener Herz verstockt, daß ich diese Zeichen bei ihm tue,
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Genda eri Falaawo, kubanga nnyongedde okukakanyaza omutima gwe, n’omutima gw’abaweereza be, ndyoke mbalage ebyamagero byange bino:
2 und daß du Kind und Kindeskindern erzählen kannst, wie ich mich an Ägypten ausgewirkt und welche Zeichen ich an ihnen getan habe. So könnt ihr erkennen, daß ich der Herr bin."
era naawe onyumize abaana bo, n’abaana b’abaana bo, ebintu bye nkoledde mu Misiri, n’ebyamagero bye mbalaze; nammwe mulyoke mutegeere nga nze Mukama.”
3 Da kamen Moses und Aaron zu Pharao und sprachen zu ihm: "So spricht der Herr, der Schutzgott der Hebräer: 'Wie lange willst du dich nicht vor mir beugen? Entlasse mein Volk, daß es mir diene!
Awo Musa ne Alooni ne bagenda ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Mukama Katonda wa Abaebbulaniya n’agamba bw’ati nti, ‘Olituusa ddi ng’okyagaanye okwetoowaza mu maaso gange? Leka abantu bange bagende, bansinze.
4 Weigerst du dich aber, mein Volk zu entlassen, dann bringe ich morgen Heuschrecken in dein Gebiet.
Singa ogaana okubakkiriza okugenda, enkya nzija kuleeta enzige mu nsi yo.
5 Dann decken sie des Landes Oberfläche, daß man den Boden nicht mehr sieht. Sie fressen dann den Rest, der vom Hagel übrig ist, und sie fressen alle Bäume ab, die euch im Felde sprießen.
Zijja kubikka ensi yonna, wabulewo n’omuntu w’ayisa eriiso okulaba ettaka. Zijja kulya ebyo omuzira bye gwalekawo, zirye ne buli muti ogukula mu nnimiro.
6 Voll werden davon deine Häuser, all deiner Diener Häuser und die ganz Ägyptens, wie es deine Väter nicht geschaut noch deine Großväter, seit ihrem Erdenwallen bis zu diesem Tag.'" Und er wandte sich und ging weg von Pharao.
Zinajjuza amayumba go, n’amayumba g’abakungu bo bonna, n’amayumba g’Abamisiri bonna; ekyo bakadde bo, ne bakadde ba bakadde bo nga tebakirabangako kasookedde babeera mu nsi eno n’okutuusa leero.’” Musa n’akyuka n’aviira Falaawo.
7 Da sprachen Pharaos Diener zu ihm: "Wie lange soll dieser uns eine Gefahr sein? Entlasse die Männer, daß sie dem Herrn, ihrem Gott, dienen! Siehst du nicht, daß Ägypten verdirbt?"
Abakungu ba Falaawo ne bamugamba nti, “Omusajja ono alituusa ddi ng’atufuukidde omutego? Leka abantu bagende basinze Mukama Katonda waabwe. Ggwe tolaba Misiri nga bw’eweddewo?”
8 Da wurden Moses und Aaron zu Pharao zurückgeholt, und er sprach zu ihnen: "Geht! Dienet dem Herrn, eurem Gott! Doch wer geht mit?"
Musa ne Alooni ne bazzibwa awali Falaawo. N’abagamba nti, “Kale, mugende musinze Mukama Katonda wammwe. Naye abagenda be baani?”
9 Da sprach Moses: "Mit unseren Jünglingen und unseren Greisen wollen wir ziehen, mit unseren Söhnen und Töchtern; mit unseren Schafen und Rindern wollen wir ziehen. Wir haben ja ein Fest des Herrn zu feiern."
Musa n’addamu nti, “Abakulu n’abato, batabani baffe ne bawala baffe bonna tujja kugenda nabo; era tugenda n’amagana gaffe n’ebisibo byaffe, kubanga waliwo embaga gye tujja okukolera Mukama.”
10 Da sprach er zu ihnen: "Möge der Herr so bei euch sein, wie ich euch mit euren Kindern fortlasse! Seht, daß ihr Böses im Sinne habt!
Falaawo n’abagamba nti, “Mukama abeere nammwe, obanga mulowooza nga nzija kubaleka mugende, mmwe n’abaana bammwe! Nze ndaba nga mulina olukwe lwe muteekateeka.
11 Daraus wird nichts. Ihr Männer geht und verehrt den Herrn! Das war euer Begehr." Und man jagte sie von Pharao fort.
Nedda! Abasajja bokka ka bagende basinzeMukama; kubanga ekyo kye mwagala.” Ne bagobebwa awali Falaawo.
12 Da sprach der Herr zu Moses: "Recke deine Hand über das Ägypterland, der Heuschrecken wegen! Sie sollen über das Land Ägypten kommen und im Lande alles Gewächs abfressen, das der Hagel hat stehen lassen."
Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ku nsi ya Misiri oyite enzige, zijje ku nsi ya Misiri, zirye buli kantu konna akamera mu nnimiro, n’ebyo byonna omuzira bye gwataliza.”
13 Da streckte Moses seinen Stab über das Ägypterland. Und der Herr führte einen Ostwind über das Land jenen ganzen Tag und die ganze Nacht. Morgen ward es; da hatte der Ostwind die Heuschrecken hergetragen.
Musa n’agolola omuggo gwe ku nsi ya Misiri; Mukama Katonda n’aleeta embuyaga ezaava ebuvanjuba, ne zikunta olunaku olwo lwonna n’ekiro kyonna. Obudde bwe bwakya embuyaga ne zireeta enzige.
14 So kamen die Heuschrecken über ganz Ägypterland und fielen im ganzen Bereich Ägyptens übermächtig ein. Nie gab es vorher soviel Heuschrecken, noch wird es später soviel geben.
Enzige nnyingi nnyo ne zigwa ku nsi yonna ey’e Misiri, ne zigisaanikira, okuva ku nsalo yaayo ey’oluuyi olumu okutuuka ku y’oluuyi olulala. Zaali nzige za kabi kanene, nga tewalabikanga ziri ng’ezo, era tezigenda kulabika.
15 Sie deckten des ganzen Landes Oberfläche, daß der Boden nicht mehr zu sehen war. Sie fraßen alles Gewächs im Lande und alle Baumfrüchte, die der Hagel hatte stehen lassen. Nichts Grünes blieb mehr an den Bäumen und Feldgewächsen im Ägypterland.
Zaabuutikira ensi yonna, ne wabaawo ekizikiza ku nsi; ne zirya buli kimera kyonna mu nsi, n’ebibala byonna eby’emiti omuzira bye gwali gutalizza; era tewaasigalawo kintu kyonna kya kiragala ku miti n’ebimera mu nnimiro, mu nsi yonna ey’e Misiri.
16 Eilends ließ Pharao Moses und Aaron rufen und sprach: "Ich bin im Unrecht wider den Herrn, euren Gott, und wider euch.
Awo Falaawo n’atumya Musa ne Alooni bunnambiro, n’abagamba nti, “Nnyonoonye eri Mukama Katonda wammwe ne gye muli.
17 Verzeiht mir doch noch diesmal mein Verschulden und legt bei dem Herrn, eurem Gott, Fürsprache ein, daß er nur diesen Tod von mir wende!"
Mbeegayiridde munsonyiwe olw’okwonoona kwange, omulundi guno gwokka; era musabe Mukama Katonda wammwe anziggyeeko olumbe luno lwokka olututta.”
18 Da ging er von Pharao weg und flehte zum Herrn.
Musa n’ava ewa Falaawo ne yeegayirira Mukama.
19 Da ließ der Herr einen sehr starken Westwind wehen. Dieser nahm die Heuschrecken und warf sie ins Schilfmeer. Nicht eine Heuschrecke blieb in Ägyptens ganzem Bereiche.
Awo Mukama n’aleeta embuyaga ez’amaanyi ennyo nga ziva ebuvanjuba, ne zisitula enzige ne zizisuula mu Nnyanja Emyufu. Tewaasigala nzige n’emu wonna wonna mu nsi y’e Misiri.
20 Aber der Herr verstockte Pharaos Herz, und so entließ er die Israeliten nicht.
Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, abaana ba Isirayiri n’atabakkiriza kugenda.
21 Und der Herr sprach zu Moses: "Recke deine Hand gen Himmel! Finsternis komme über Ägypterland, und die Finsternis sei stark!"
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo waggulu eri eggulu, wabeewo ekizikiza ku nsi ey’e Misiri; ekizikiza ekiyinza n’okuwulikika.”
22 Da reckte Moses seine Hand gen Himmel, und eine dichte Finsternis ward in ganz Ägypterland, drei Tage lang.
Musa n’agolola omukono gwe eri eggulu; ne wabaawo ekizikiza ekikwafu mu nsi yonna ey’e Misiri okumala ennaku ssatu.
23 Keiner sah den anderen und keiner erhob sich von seinem Platz, drei Tage lang. Die Israeliten alle aber hatten Licht in ihren Siedlungen.
Abantu bonna nga tewali asobola kulaba munne; era tewaali yaseguka kuva mu kifo kye w’abeera okumala ennaku ssatu. Naye bo abaana ba Isirayiri ewaabwe ng’obudde bulaba.
24 Da rief Pharao nach Moses und sprach: "Geht! Verehrt den Herrn! Eure Schafe und Rinder aber bleiben hier. Doch eure Kinder gehen mit euch."
Awo Falaawo n’atumya Musa, n’amugamba nti, “Mugende musinze Mukama. Abaana bammwe nabo mugende nabo, wabula ente zammwe, n’embuzi n’endiga ze ziba zisigala.”
25 Da sprach Moses: "Auch du selbst solltest uns Schlacht- und Brandopfer liefern, daß wir sie für den Herrn, unseren Gott, zurichten.
Naye Musa n’addamu nti, “Osaana otuleke tutwale ebisolo eby’okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda waffe.
26 Aber auch unser Vieh muß mit uns gehen. Nicht eine Klaue bleibe zurück! Davon müssen wir nehmen können, wenn wir dem Herrn, unserem Gott, zu Ehren ein Fest feiern wollen. Wir wissen ja nicht, wie wir den Herrn verehren sollen, bis wir dorthin kommen."
Ente zaffe tusaana okugenda nazo; tewali nsolo n’emu eneesigala. Kubanga kitusaanira okuzitwala nga tugenda okusinza Mukama Katonda waffe; kubanga tujja kumala kutuuka eri, ne tulyoka tumanya kye tunaakozesa mu kusinza Mukama.”
27 Aber der Herr verhärtete Pharaos Herz, und so wollte er sie nicht entlassen.
Naye Mukama n’akakanyaza omutima gwa Falaawo, n’atabaleka kugenda.
28 Und Pharao sprach zu ihm: "Geh weg von mir! Hüte dich, noch einmal mein Antlitz zu schauen! Sobald du mein Antlitz siehst, mußt du sterben."
Falaawo n’agamba Musa nti, “Nva mu maaso! Era weekuume, sikulabanga ng’okomyewo w’endi; bwe ndiddayo okukulaba tolirema kufa.”
29 Moses sprach: "Recht hast du geredet. Ich werde nicht wieder dein Antlitz schauen."
Musa n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, nange siriddayo kukulaba.”

< 2 Mose 10 >