< Proverbes 14 >

1 Une femme sage édifie sa maison; l’insensée détruira de ses propres mains celle même qui était construite.
Omukazi ow’amagezi yeezimbira ennyumba ye, naye omusirusiru eyiye agyemenyera n’emikono gye.
2 Celui qui marche par un droit chemin, et qui craint le Seigneur, est méprisé par celui qui marche dans une voie infâme.
Omuntu atambulira mu bugolokofu atya Mukama, naye ow’amakubo amakyamu anyooma Mukama.
3 Dans la bouche d’un insensé est la verge de l’orgueil; mais les lèvres des sages les gardent.
Ebigambo by’omusirusiru bye bimuviirako okukubwa, naye eby’abatuukirivu binaabakuumanga.
4 Où il n’y a point de bœufs, la crèche est vide; mais où abondent les moissons, là est manifeste la force du bœuf.
Awataba nte nnume ezirima ebyagi biba bikalu, naye emmere ennyingi eva mu maanyi gaazo.
5 Un témoin fidèle ne ment pas, mais un témoin trompeur profère le mensonge.
Omujulizi ow’amazima talimba, naye ow’obulimba ayogera bya bulimba.
6 Le railleur cherche la sagesse, et ne la trouve pas: la doctrine des prudents est facile.
Omukudaazi anoonya amagezi n’atagalaba, naye okumanya kwanguyira omuntu ategeera.
7 Va contre l’homme insensé, et qui ne connaît pas les lèvres de la prudence.
Teweeretereza muntu musirusiru, kubanga tewali by’amagezi biva mu kamwa ke.
8 La sagesse d’un homme habile est de comprendre sa voie; et l’imprudence des insensés est errante.
Omutegeevu mugezi kubanga afaayo okutegeera by’akola, naye atalina magezi musirusiru kubanga yeerimba nti amanyi.
9 L’insensé se jouera du péché; et c’est parmi les justes que demeurera la grâce.
Abasirusiru banyooma okugololwa nga bakoze ensobi, naye abalongoofu baagala emirembe.
10 Quant au cœur qui connaît l’amertume de son âme, un étranger ne se mêlera pas dans sa joie.
Buli mutima gumanya okulumwa kwagwo, tewali ayinza kugusanyukirako.
11 La maison des impies sera détruite; mais les tabernacles des justes seront florissants.
Ennyumba y’abakozi b’ebibi erizikirizibwa, naye eweema y’abatuukirivu erikulaakulana.
12 Il est une voie qui paraît droite à l’homme; mais ses issues conduisent à la mort.
Waliwo ekkubo erirabika nga ttuufu eri omuntu, naye ng’enkomerero yaalyo kufa.
13 Le rire de douleur sera mêlé, et le deuil occupe les extrémités de la joie.
Enseko zandibaawo naye ng’omutima gujjudde ennaku, era n’enkomerero y’essanyu eyinza okufuuka obuyinike.
14 L’insensé sera rempli de ses voies; mais au-dessus de lui sera l’homme vertueux.
Omuntu atalina kukkiriza alisasulwa empeera emusaanira olw’ebikolwa bye, n’omuntu omulungi naye alisasulwa eyiye.
15 L’innocent croit à toute parole: l’homme avisé considère ses pas. Pour un fils trompeur il n’y aura rien de bon: mais à un serviteur sage ses actes seront prospères, et sa voie sera dirigée.
Ow’amagezi amatono amala gakkiriza buli kigambo ky’awulira, naye omuntu omutegeevu yeegendereza amakubo ge.
16 Le sage craint et se détourne du mal: l’insensé passe outre et a confiance.
Omuntu ow’amagezi atya Mukama n’aleka okukola ebibi, naye omusirusiru yeepankapanka era teyeegendereza.
17 L’impatient commettra des actions de folie; l’homme artificieux est odieux.
Omuntu asunguwala amangu akola eby’obusirusiru, n’omukalabakalaba akyayibwa.
18 Les tout petits posséderont la folie; et les hommes avisés attendront la science.
Abatalina magezi basikira butaliimu, naye abategeevu batikkirwa engule ey’okumanya.
19 Les méchants seront couchés par terre devant les bons; et les impies devant les portes des justes.
Abakozi b’ebibi balivuunamira abatuukirivu, n’aboonoonyi ne bavuunama mu miryango gy’abatuukirivu.
20 Même à son prochain, le pauvre est odieux; mais les amis des riches sont nombreux.
Omwavu alagajjalirwa abantu nga ne muliraanwa we omutwaliddemu, naye abagagga baba n’emikwano mingi.
21 Celui qui méprise son prochain pèche; mais celui qui a pitié du pauvre sera bienheureux. Celui qui croit au Seigneur aime la miséricorde.
Anyooma muliraanwa we akola kibi, naye alina omukisa oyo asaasira abaavu.
22 Ils s’égarent, ceux qui opèrent le mal: la miséricorde et la vérité préparent des biens.
Abateekateeka okukola ebibi, tebawaba? Naye okwagala n’amazima binaabeeranga n’abo abateesa okukola obulungi.
23 Dans tout travail sera l’abondance: mais où il y a beaucoup de paroles, là fréquemment est la détresse.
Buli mulimu ogukolebwa n’amaanyi gubaako amagoba, naye okwogera obwogezi kireeta bwavu bwokka.
24 La couronne des sages, ce sont leurs richesses; la sottise des insensés, l’imprudence.
Abagezi bafuna engule ey’obugagga, naye obusirusiru bw’abatalina magezi buzaala busirusiru.
25 Un témoin fidèle délivre des âmes: et celui qui est double profère des mensonges.
Omujulizi ow’amazima awonya obulamu bw’abantu, naye omujulizi ow’obulimba aba mulimba.
26 Dans la crainte du Seigneur est une confiance ferme; et à ses enfants sera l’espérance.
Atya Mukama alina ekiddukiro eky’amaanyi, era n’abaana be balibeera n’obuddukiro.
27 La crainte du Seigneur est une source de vie, afin qu’on évite la ruine de la mort.
Okutya Mukama ye nsulo y’obulamu, kuleetera omuntu okwewala emitego gy’okufa.
28 Dans la multitude du peuple est la gloire d’un roi; et dans le petit nombre des sujets l’ignominie d’un prince.
Ekitiibwa kya kabaka kiri mu kuba n’abantu bangi, naye omukulembeze ataba n’abantu abeera mu kabi.
29 Celui qui est patient se gouverne avec une grande prudence; mais celui qui est impatient signale sa folie.
Omuntu omugumiikiriza aba n’okutegeera kungi, naye oyo asunguwala amangu ayolesa obusirusiru.
30 La vie des chairs, c’est la santé du cœur: la carie des os, l’envie.
Omutima ogulina emirembe guwangaaza omuntu, naye obuggya buvunza amagumba ge.
31 Celui qui opprime un indigent, outrage le créateur de cet indigent; mais celui-là l’honore, qui a pitié d’un pauvre.
Omuntu atulugunya abaavu anyooma oyo eyabatonda, naye buli abakwatirwa ekisa, agulumiza Katonda.
32 À cause de sa malice, l’impie sera rejeté; mais le juste espère dans sa mort même.
Akacwano bwe kajja, omukozi w’ebibi agwa, naye omutuukirivu ne mu kufa aba n’obuddukiro.
33 Dans le cœur de l’homme prudent repose la sagesse; et elle instruira tous les ignorants.
Amagezi gabeera mu mutima gw’omuntu alina okutegeera, era yeeyoleka ne mu basirusiru.
34 La justice élève une nation; mais le péché fait les peuples malheureux.
Obutuukirivu buzimba eggwanga, naye ekibi kiswaza abantu ab’engeri zonna.
35 Un ministre intelligent est bien accueilli du roi; celui qui est inutile endurera son courroux.
Kabaka asanyukira omuddu akola eby’amagezi, naye obusungu bwa kabaka bunaabuubuukiranga ku oyo akola ebiswaza.

< Proverbes 14 >