< Habacuc 1 >

1 L’Oracle que le prophète Habacuc perçut dans une vision:
Buno bwe bubaka bwa Mukama, Kaabakuuku nnabbi bwe yafuna.
2 "Jusques à quand, ô Seigneur, t’implorerai-je sans que tu entendes mon appel? Crierai-je vers toi: violence! sans que tu prêtes secours?
Ayi Mukama, ndituusa ddi okukukaabirira naye nga tompuliriza? Lwaki nkukaabirira nti, “Ebikolwa eby’obukambwe bimpitiriddeko,” naye n’otonnyamba?
3 Pourquoi me laisses-tu voir l’iniquité et restes-tu témoin de l’injustice? L’Oppression et la violence triomphent sous mes yeux; partout éclatent des disputes et sévit la discorde!
Lwaki ondaga obutali bwenkanya era lwaki ogumiikiriza obukyamu? Kubanga okuzikiriza n’ebikolwa eby’obukambwe biri mu maaso gange, empaka n’ennyombo byeyongede.
4 Aussi la loi est-elle paralysée et le droit ne se manifeste-t-il plus jamais. Oui, le méchant circonvient le juste, aussi ne rend-on que des sentences perverses.
Amateeka kyegavudde gatagonderwa era n’obwenkanya ne butakolebwa. Ababi be basinga abatuukirivu obungi era babeebunguludde, n’obwenkanya ne bulinnyirirwa.
5 Jetez les yeux sur les peuples, regardez, soyez étonnés, stupéfaits! Car il va, en votre temps, accomplir une œuvre… Vous n’y croiriez pas si on vous la racontait.
“Mutunuulire amawanga, mwetegereze. Mwewuunyize ddala nnyo. Kubanga ŋŋenda kukola omulimu mu nnaku zammwe gwe mutalikkiriza newaakubadde nga mugubuuliddwa.
6 Oui, je vais susciter les Chaldéens, ce peuple féroce et emporté, qui parcourt les vastes espaces de la terre, pour conquérir des demeures qui ne sont pas à lui:
Kubanga laba, nkuyimusiza Abakaludaaya, eggwanga eryo eririna ettima era ekkambwe, ababunye ensi eno n’eri nga bawamba amawanga agatali gaabwe.
7 Peuple terrible et redoutable! De lui seul il tire son droit et son orgueil.
Ba ntiisa, batiibwa, be beetekera amateeka gaabwe era be bagassa mu nkola, nga balwanirira ekitiibwa kyabwe.
8 Ses chevaux sont plus légers que des panthères, plus rapides que les loups du soir, et ses cavaliers se répandent de toutes parts. Ils viennent de loin, ses cavaliers, ils volent comme un aigle qui se hâte de dévorer.
Embalaasi zaabwe zidduka okukira engo, era mu bukambwe zikira emisege egy’ekiro. Abasajja abeebagala embalaasi bava mu nsi ey’ewala era bajja beesaasaanyizza ne banguwa okutuuka ng’ensega bw’erumba ky’eneerya.
9 Tous viennent pour la rapine, leur passion les porte toujours en avant. Ils amassent des captifs comme du sable.
Bajja n’eryanyi bonna, ebibinja byabwe birumba ng’embuyaga ey’omu ddungu; ne balyoka bayoola abawambe abangi ng’omusenyu.
10 Et ce peuple se moque des rois, les princes lui sont un objet de risée; il se joue de toutes les forteresses, amoncelle un peu de terre et les prend d’assaut.
Weewaawo, basekerera bakabaka ne baduulira n’abakungu. Basekerera buli kibuga ekiriko ekigo ne bakituumako ebifunfugu ne balinnyira okwo, ne bakiwamba.
11 Ainsi il passe comme une tempête, et sur son passage il commet des méfaits, lui qui tient sa force pour son dieu!
Awo ne bayita nga bakunta ng’embuyaga; abantu bano omusango be gwasinga, eryanyi lyabwe ye katonda waabwe.”
12 N’Es-tu pas, de toute éternité, ô Seigneur, mon Dieu, mon Saint? Non, nous ne mourrons pas! Eternel, c’est pour faire justice que tu as commis ce peuple! O mon Rocher, c’est pour châtier que tu l’as établi!
Ayi Mukama toli wa mirembe na mirembe, ggwe Mukama Katonda wange, si ggwe Mutukuvu wange? Tetulifa. Ayi Mukama ggwe wabateekawo n’obawa amaanyi batusalire emisango. Era ggwe Olwazi, wabateekawo kubonereza.
13 O toi qui as les yeux trop purs pour voir le mal, et qui ne peux regarder l’iniquité, pourquoi regardes-tu ces perfides, gardes-tu le silence quand le méchant dévore plus juste que lui?
Amaaso go gajjudde obulongoofu tegatunula ku kibi, so toyinza kugumiikiriza bukyamu. Kale lwaki ggwe ogumiikiriza ab’enkwe, n’osirika ng’omubi amalirawo ddala omuntu amusinga obutuukirivu?
14 Pourquoi as-tu rendu les hommes pareils aux poissons de la mer, aux reptiles qui n’ont point de maître?
Kubanga abantu obafudde ng’ebyennyanja eby’omu nnyanja, ng’ebitonde eby’omu nnyanja ebitaliiko abifuga.
15 Il les prend tous avec l’hameçon, il les tire à lui avec son filet et les jette ensemble dans sa nasse; aussi est-il content et joyeux.
Omulabe omubi abakwata bonna ng’eddobo, oluusi n’abawalula mu katimba ke, n’abakuŋŋaanya mu kiragala kye n’alyoka asanyuka n’ajaguza.
16 Aussi offre-t-il des sacrifices à son filet et brûle-t-il de l’encens à sa nasse, car il leur doit une prise abondante et d’exquises victuailles.
Kyava awaayo ssaddaaka eri akatimba ke n’ayotereza n’ekiragala kye obubaane; akatimba ke kamuwa obulamu obw’okwejalabya, n’alya emmere ey’ekigagga.
17 Est-ce une raison pour qu’il vide toujours son filet et recommence sans cesse à égorger des peuples, sans pitié?
Kale, bwe batyo bwe banaalekebwa okutikkula obutimba bwabwe, n’okusaanyaawo amawanga awatali kusaasira?

< Habacuc 1 >