< John 12 >

1 Then, six days before the Passover, Jesus came to Bethany, where Lazarus was, who had been dead, whom he raised from the dead.
Bwe waali wakyabulayo ennaku mukaaga emikolo gy’Embaga ejjuukirirwako Okuyitako gitandike, Yesu n’ajja e Besaniya ewa Laazaalo gwe yazuukiza.
2 So they made him a supper there. Martha served, but Lazarus was one of those who sat at the table with him.
Ne bamufumbira ekyeggulo, Maliza n’aweereza, Laazaalo nga ye omu ku baali batudde ne Yesu okulya.
3 Therefore Mary took a pound of ointment of pure nard, very precious, and anointed Jesus’ feet and wiped his feet with her hair. The house was filled with the fragrance of the ointment.
Awo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.
4 Then Judas Iscariot, Simon’s son, one of his disciples, who would betray him, said,
Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali ow’okumulyamu olukwe, n’agamba nti,
5 “Why wasn’t this ointment sold for three hundred denarii and given to the poor?”
“Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?”
6 Now he said this, not because he cared for the poor, but because he was a thief, and having the money box, used to steal what was put into it.
Yayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.
7 But Jesus said, “Leave her alone. She has kept this for the day of my burial.
Yesu n’alyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange.
8 For you always have the poor with you, but you don’t always have me.”
Abaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”
9 A large crowd therefore of the Jews learned that he was there; and they came, not for Jesus’ sake only, but that they might see Lazarus also, whom he had raised from the dead.
Awo ekibiina kinene eky’Abayudaaya bwe bategeera nti Yesu ali Besaniya, ne bajja, si Lwa Yesu yekka, naye n’okulaba Laazaalo, Yesu gwe yazuukiza.
10 But the chief priests conspired to put Lazarus to death also,
Awo bakabona abakulu ne basala amagezi okutta Laazaalo,
11 because on account of him many of the Jews went away and believed in Jesus.
kubanga yaleetera Abayudaaya bangi okuva ku bakulembeze baabwe ne bakkiriza Yesu.
12 On the next day a great multitude had come to the feast. When they heard that Jesus was coming to Jerusalem,
Ku lunaku olwaddirira, abantu bangi abaali bazze ku mbaga ey’Okuyitako bwe baawulira nti Yesu ajja e Yerusaalemi,
13 they took the branches of the palm trees and went out to meet him, and cried out, “Hosanna! Blessed is he who comes in the name of the Lord, the King of Israel!”
ne bakwata amatabi g’enkindu ne bagenda okumusisinkana nga baleekaana nti, “Ozaana.” “Aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.” “Ye Kabaka wa Isirayiri.”
14 Jesus, having found a young donkey, sat on it. As it is written,
Awo Yesu bwe yalaba endogoyi ento n’agyebagala. Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti,
15 “Don’t be afraid, daughter of Zion. Behold, your King comes, sitting on a donkey’s colt.”
“Ggwe muwala wa Sayuuni totya; laba Kabaka wo ajja, nga yeebagadde omwana gw’endogoyi.”
16 His disciples didn’t understand these things at first, but when Jesus was glorified, then they remembered that these things were written about him, and that they had done these things to him.
Ebyo abayigirizwa tebaabitegeererawo, naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ebintu ebyo ebyali bimuwandiikiddwako, ne bye baamukola.
17 The multitude therefore that was with him when he called Lazarus out of the tomb and raised him from the dead was testifying about it.
Abo abaali mu kibiina, abaalaba Yesu ng’azuukiza Laazaalo ne baategeeza ebyaliwo ne bwe yazuukiza Laazaalo.
18 For this cause also the multitude went and met him, because they heard that he had done this sign.
Abantu abangi bwe batyo kyebaava bagenda okusisinkana Yesu, kubanga baali bawulidde ekyamagero ekyo kye yakola.
19 The Pharisees therefore said among themselves, “See how you accomplish nothing. Behold, the world has gone after him.”
Awo Abafalisaayo ne bagambagana nti: “Mulabye bwe tutalina kye tufunyeemu! Laba ensi yonna emugoberedde.”
20 Now there were certain Greeks among those who went up to worship at the feast.
Naye waaliwo Abayonaani abamu abaali bazze okusinza ku mbaga ey’Okuyitako
21 Therefore, these came to Philip, who was from Bethsaida of Galilee, and asked him, saying, “Sir, we want to see Jesus.”
ne bajja eri Firipo eyava e Besusayida eky’omu Ggaliraaya, ne bamugamba nti, “Ssebo, twagala kulaba Yesu.”
22 Philip came and told Andrew, and in turn, Andrew came with Philip, and they told Jesus.
Firipo n’ategeeza Andereya, ne bagenda bombi okutegeeza Yesu.
23 Jesus answered them, “The time has come for the Son of Man to be glorified.
Yesu n’abaddamu nti, “Ekiseera kituuse Omwana w’Omuntu agulumizibwe.
24 Most certainly I tell you, unless a grain of wheat falls into the earth and dies, it remains by itself alone. But if it dies, it bears much fruit.
Ddala ddala mbagamba nti empeke y’eŋŋaano bw’egwa mu ttaka efa, bwe tefa ebeera yokka, naye bw’efa ebala ebibala bingi.
25 He who loves his life will lose it. He who hates his life in this world will keep it to eternal life. (aiōnios g166)
Buli eyeemalira ku bulamu bwe alibufiirwa, naye oyo akyawa obulamu bwe mu nsi eno, alibusigaza mu bulamu obutaggwaawo. (aiōnios g166)
26 If anyone serves me, let him follow me. Where I am, there my servant will also be. If anyone serves me, the Father will honor him.
Oyo ampeereza, angoberere. Nze w’endi n’omuweereza wange w’anaabeeranga era Kitange alimuwa ekitiibwa oyo ampeereza.”
27 “Now my soul is troubled. What shall I say? ‘Father, save me from this time’? But I came to this time for this cause.
“Kaakano omutima gwange gweraliikiridde. Kale ŋŋambe ntya? Nsabe nti Kitange mponya ekiseera kino? Naye ate ekyandeeta kwe kuyita mu kiseera kino.
28 Father, glorify your name!” Then a voice came out of the sky, saying, “I have both glorified it and will glorify it again.”
Kitange gulumiza erinnya lyo.” Awo eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ndigulumizizza era ndyongera okuligulumiza.”
29 Therefore the multitude who stood by and heard it said that it had thundered. Others said, “An angel has spoken to him.”
Ekibiina ky’abantu abaali bayimiridde awo bwe baawulira ne bagamba nti, “Laddu y’ebwatuse!” Abalala ne bagamba nti, “Malayika y’ayogedde naye.”
30 Jesus answered, “This voice hasn’t come for my sake, but for your sakes.
Yesu n’abagamba nti, “Eddoboozi lino lizze ku lwammwe, so si ku lwange.
31 Now is the judgment of this world. Now the prince of this world will be cast out.
Ekiseera ky’ensi okusalirwa omusango kituuse, era omufuzi w’ensi eno anaagoberwa ebweru.
32 And I, if I am lifted up from the earth, will draw all people to myself.”
Bwe ndiwanikibwa okuva mu nsi, ndiwalulira bonna gye ndi.”
33 But he said this, signifying by what kind of death he should die.
Ekyo yakyogera ng’ategeeza enfa gye yali anaatera okufaamu.
34 The multitude answered him, “We have heard out of the law that the Christ remains forever. How do you say, ‘The Son of Man must be lifted up’? Who is this Son of Man?” (aiōn g165)
Awo abantu mu kibiina ekyo ne bamugamba nti, “Ffe tumanyi okuva mu mateeka nti Kristo aba mulamu emirembe gyonna. Naye ggwe lwaki ogamba nti Omwana w’Omuntu kimugwanira okufa? Mwana wa Muntu ki oyo gw’oyogerako?” (aiōn g165)
35 Jesus therefore said to them, “Yet a little while the light is with you. Walk while you have the light, that darkness doesn’t overtake you. He who walks in the darkness doesn’t know where he is going.
Yesu n’abaddamu nti, “Omusana gujja kwongera okubaakira okumala akaseera. Kale mugutambuliremu mugende gye mwagala ng’ekizikiza tekinnatuuka. Atambulira mu kizikiza tamanya gy’alaga.
36 While you have the light, believe in the light, that you may become children of light.” Jesus said these things, and he departed and hid himself from them.
Kale Omusana nga bwe gukyayaka mugutambuliremu mulyoke mufuuke abaana b’omusana.” Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’agenda n’abeekweka.
37 But though he had done so many signs before them, yet they didn’t believe in him,
Kyokka newaakubadde Yesu yakola ebyamagero bingi, tebaamukkiriza.
38 that the word of Isaiah the prophet might be fulfilled, which he spoke: “Lord, who has believed our report? To whom has the arm of the Lord been revealed?”
Ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire ekigamba nti, “Mukama ani akkiriza bye tugamba? Ani abikkuliddwa omukono gwa Mukama?”
39 For this cause they couldn’t believe, for Isaiah said again:
Kyebaava batakkiriza kubanga nnabbi Isaaya yayongera n’agamba nti,
40 “He has blinded their eyes and he hardened their heart, lest they should see with their eyes, and perceive with their heart, and would turn, and I would heal them.”
“Katonda yabaziba amaaso, era n’abakakanyaza emitima, amaaso gaabwe galeme okulaba, era n’emitima gyabwe gireme okutegeera, era gireme okukyuka, mbawonye.”
41 Isaiah said these things when he saw his glory, and spoke of him.
Ebyo nnabbi Isaaya yabyogera kubanga yalaba ekitiibwa kye, era n’amwogerako.
42 Nevertheless, even many of the rulers believed in him, but because of the Pharisees they didn’t confess it, so that they wouldn’t be put out of the synagogue,
Era waaliwo bangi ne mu bakulembeze b’Abayudaaya abaamukkiriza. Naye olw’okutya Abafalisaayo, tebaamwatula, baleme kugobebwa mu kkuŋŋaaniro.
43 for they loved men’s praise more than God’s praise.
Kubanga baayagala ekitiibwa ekibaweebwa abantu okusinga ekitiibwa kya Katonda.
44 Jesus cried out and said, “Whoever believes in me, believes not in me, but in him who sent me.
Awo Yesu n’asitula ku ddoboozi n’agamba nti, “Buli anzikiriza aba takkiriza Nze nzekka, wabula aba akkirizza n’oyo eyantuma.
45 He who sees me sees him who sent me.
N’oyo alaba Nze aba alabye oli eyantuma.
46 I have come as a light into the world, that whoever believes in me may not remain in the darkness.
Nze omusana nzize mu nsi buli anzikiriza aleme okusigala mu kizikiza.
47 If anyone listens to my sayings and doesn’t believe, I don’t judge him. For I came not to judge the world, but to save the world.
“Awulira ebigambo byange n’atabifaako, Nze simusalira musango, kubanga Nze najja kulokola nsi so si kugisalira musango.
48 He who rejects me, and doesn’t receive my sayings, has one who judges him. The word that I spoke will judge him in the last day.
Kyokka buli agaana Nze era n’agaana n’ebigambo byange, alina amusalira omusango. Alisalirwa omusango ku lunaku olw’enkomerero okusinziira ku bigambo bye namutegeeza.
49 For I spoke not from myself, but the Father who sent me gave me a commandment, what I should say and what I should speak.
Kubanga Nze bye njogera si byange, ku bwange, naye mbategeezezza ebya Kitange bye yandagira okubategeeza.
50 I know that his commandment is eternal life. The things therefore which I speak, even as the Father has said to me, so I speak.” (aiōnios g166)
Era mmanyi nti by’alagira bwe bulamu obutaggwaawo. Noolwekyo ky’aŋŋamba kye mbategeeza.” (aiōnios g166)

< John 12 >