< Job 4 >

1 Then Eliphaz the Temanite answered,
Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti,
2 “If someone ventures to talk with you, will you be grieved? But who can withhold himself from speaking?
“Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga? Naye ani ayinza okusirika obusirisi?
3 Behold, you have instructed many, you have strengthened the weak hands.
Laba, wayigiriza bangi, emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.
4 Your words have supported him who was falling, you have made the feeble knees firm.
Ebigambo byo byanyweza abaali bagwa, era ng’ozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana.
5 But now it has come to you, and you faint. It touches you, and you are troubled.
Naye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi; kikutte ku ggwe n’oggwaawo!
6 Isn’t your piety your confidence? Isn’t the integrity of your ways your hope?
Okutya Katonda wo si bwe bwesige bwo, n’obwesimbu bwo si ly’essuubi lyo?
7 “Remember, now, who ever perished, being innocent? Or where were the upright cut off?
“Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde? Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo?
8 According to what I have seen, those who plow iniquity and sow trouble, reap the same.
Okusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu, bakungula bizibu.
9 By the breath of God they perish. By the blast of his anger are they consumed.
Bazikirizibwa omukka Katonda gw’assa, bamalibwawo obusungu bwe.
10 The roaring of the lion, and the voice of the fierce lion, the teeth of the young lions, are broken.
Okuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe, n’amannyo g’empologoma ento gamenyeka.
11 The old lion perishes for lack of prey. The cubs of the lioness are scattered abroad.
Empologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo, n’obwana bw’empologoma busaasaana.
12 “Now a thing was secretly brought to me. My ear received a whisper of it.
“Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama, ne nkitegera okutu.
13 In thoughts from the visions of the night, when deep sleep falls on men,
Wakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro ng’otulo otungi tukutte omuntu,
14 fear came on me, and trembling, which made all my bones shake.
okutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.
15 Then a spirit passed before my face. The hair of my flesh stood up.
Omwoyo gw’ayita mu maaso gange, obwoya bw’oku mubiri gwange ne buyimirira.
16 It stood still, but I couldn’t discern its appearance. A form was before my eyes. Silence, then I heard a voice, saying,
Ne buyimirira butengerera, naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo, n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro, ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
17 ‘Shall mortal man be more just than God? Shall a man be more pure than his Maker?
‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda? Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?
18 Behold, he puts no trust in his servants. He charges his angels with error.
Obanga abaddu be tabeesiga, nga bamalayika be abalanga ensobi
19 How much more those who dwell in houses of clay, whose foundation is in the dust, who are crushed before the moth!
kale kiriba kitya, abo abasula mu z’ebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu, ababetentebwa n’okusinga ekiwojjolo?
20 Between morning and evening they are destroyed. They perish forever without any regarding it.
Bamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi, bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako.
21 Isn’t their tent cord plucked up within them? They die, and that without wisdom.’
Omuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda, ne bafa ng’abasirusiru.’”

< Job 4 >