< Acts 22 >

1 “Brothers and fathers, listen to the defense which I now make to you.”
“Abasajja abooluganda, ne bakadde bange, mumpulirize.”
2 When they heard that he spoke to them in the Hebrew language, they were even more quiet. He said,
Bwe baawulira ng’ayogera Lwebbulaniya ne beeyongera okusirikira ddala.
3 “I am indeed a Jew, born in Tarsus of Cilicia, but brought up in this city at the feet of Gamaliel, instructed according to the strict tradition of the law of our fathers, being zealous for God, even as you all are today.
Pawulo n’abagamba nti, “Ndi Muyudaaya, nazaalibwa mu kibuga Taluso eky’omu Kirukiya, naye ne nkulira wano mu Yerusaalemi. Era mu kibuga muno mwe nayigira ne nzijjumbira amateeka gonna aga bajjajjaffe n’obwegendereza, nga njigirizibwa Gamalyeri. Nafubanga nnyo okuweesa Katonda ekitiibwa mu buli kye nakolanga, nga nammwe bwe mukola leero.
4 I persecuted this Way to the death, binding and delivering into prisons both men and women,
Nayigganya abantu b’Ekkubo n’okubatuusa ku kufa, ne nkwata abasajja n’abakazi ne mbasibisa mu kkomera.
5 as also the high priest and all the council of the elders testify, from whom also I received letters to the brothers, and traveled to Damascus to bring them also who were there to Jerusalem in bonds to be punished.
Era Kabona Asinga Obukulu n’ab’Olukiiko Olukulu be bajulirwa bange. Kubanga nabasaba bawandiikire bannaabwe mu Damasiko ebbaluwa okunnyamba nkwate abaali eyo mbaleete wano mu Yerusaalemi nga mbasibye mu njegere mbaweeyo babonerezebwe.
6 “As I made my journey and came close to Damascus, about noon suddenly a great light shone around me from the sky.
“Naye mu ssaawa ez’omu ttuntu bwe nnali nga nsemberera Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ekyava mu ggulu ne kinjakira okunneetooloola.
7 I fell to the ground and heard a voice saying to me, ‘Saul, Saul, why are you persecuting me?’
Ne ngwa wansi ku ttaka, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’
8 I answered, ‘Who are you, Lord?’ He said to me, ‘I am Jesus of Nazareth, whom you persecute.’
“Ne mbuuza nti, ‘Ani, Mukama wange?’ “N’anziramu nti, ‘Nze Yesu Omunnazaaleesi gw’oyigganya.’
9 “Those who were with me indeed saw the light and were afraid, but they didn’t understand the voice of him who spoke to me.
Be nnali nabo baalaba ekitangaala, naye eddoboozi ly’oyo eyayogera nange tebaaliwulira.
10 I said, ‘What shall I do, Lord?’ The Lord said to me, ‘Arise, and go into Damascus. There you will be told about all things which are appointed for you to do.’
“Ne mmubuuza nti, ‘Nkole ki, Mukama wange?’ “Mukama waffe n’anziramu nti, ‘Yimuka ogende mu Damasiko, bw’onootuuka eyo ojja kutegeezebwa byonna bye nkutumye okukola.’
11 When I couldn’t see for the glory of that light, being led by the hand of those who were with me, I came into Damascus.
Bannange ne bankwata ku mukono ne bannyingiza mu Damasiko, kubanga ekitiibwa ky’ekitangaala kiri eky’amaanyi kyali kinzibye amaaso.
12 “One Ananias, a devout man according to the law, well reported of by all the Jews who lived in Damascus,
“Omusajja omu ayitibwa Ananiya, ng’atya Katonda era ng’agondera amateeka gonna ag’Ekiyudaaya, n’Abayudaaya bonna mu Damasiko nga bamussaamu ekitiibwa,
13 came to me, and standing by me said to me, ‘Brother Saul, receive your sight!’ In that very hour I looked up at him.
n’ajja okundaba n’ayimirira we ndi n’aŋŋamba nti, ‘Owooluganda Sawulo, zibuka amaaso!’ Mu ssaawa eyo yennyini ne nsobola okumulaba!
14 He said, ‘The God of our fathers has appointed you to know his will, and to see the Righteous One, and to hear a voice from his mouth.
“Awo n’aŋŋamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere by’ayagala era olabe Omutuukirivu we, era owulire okuyitibwa okuva mu kamwa ke.
15 For you will be a witness for him to all men of what you have seen and heard.
Olituusa obubaka bwe mu bantu bonna ng’obategeeza by’olabye era ne by’owulidde.
16 Now why do you wait? Arise, be baptized, and wash away your sins, calling on the name of the Lord.’
Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bw’oyatudde erinnya lye.’
17 “When I had returned to Jerusalem and while I prayed in the temple, I fell into a trance
“Ne nkomawo mu Yerusaalemi. Naye olunaku lumu bwe nnali mu Yeekaalu nga nsaba, ne mbeera ng’eyeebase,
18 and saw him saying to me, ‘Hurry and get out of Jerusalem quickly, because they will not receive testimony concerning me from you.’
ne nfuna okwolesebwa ne ndaba Mukama waffe ng’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, ‘Yanguwa mangu ove mu Yerusaalemi, kubanga abantu ba wano tebajja kukkiriza bubaka bwo bw’onoobategeeza obufa ku nze.’
19 I said, ‘Lord, they themselves know that I imprisoned and beat in every synagogue those who believed in you.
“Ne nziramu nti, ‘Naye Mukama wange, abantu bonna bamanyi nga bwe nagendanga mu buli kkuŋŋaaniro ne nzigyamu abakukkiriza, ne mbatwala ne bakubwa emiggo n’okusibibwa ne basibibwa mu kkomera.
20 When the blood of Stephen, your witness, was shed, I also was standing by, consenting to his death, and guarding the cloaks of those who killed him.’
Era n’omujulirwa wo Suteefano bwe yali attibwa nnali nnyimiridde awo era nga mpagira okuttibwa kwe, era nga ndabirira engoye z’abo abaali bamutta.’
21 “He said to me, ‘Depart, for I will send you out far from here to the Gentiles.’”
“Naye Mukama waffe n’aŋŋamba nti, ‘Vva mu Yerusaalemi, kubanga nzija kukutuma mu bitundu bye wala mu baamawanga!’”
22 They listened to him until he said that; then they lifted up their voice and said, “Rid the earth of this fellow, for he isn’t fit to live!”
Ekibiina ky’abantu ne bawuliriza Pawulo okutuusa lwe yatuuka ku bigambo ebyo, bonna ne balyoka baleekaanira wamu nti, “Mumuggyeewo! Mumutte! Tasaanira kuba mulamu!”
23 As they cried out, threw off their cloaks, and threw dust into the air,
Ne bawowoggana nnyo nga bwe bakasuka n’engoye zaabwe waggulu mu bbanga, ne bayoola enfuufu nga bagiyiwa mu bbanga.
24 the commanding officer commanded him to be brought into the barracks, ordering him to be examined by scourging, that he might know for what crime they shouted against him like that.
Omukulu w’abaserikale n’ayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, n’alagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana.
25 When they had tied him up with thongs, Paul asked the centurion who stood by, “Is it lawful for you to scourge a man who is a Roman, and not found guilty?”
Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo n’abuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?”
26 When the centurion heard it, he went to the commanding officer and told him, “Watch what you are about to do, for this man is a Roman!”
Omuserikale n’agenda eri omuduumizi waabwe n’amutegeeza nti, “Kiki kino ky’ogenda okukola? Omusajja ono Muruumi.”
27 The commanding officer came and asked him, “Tell me, are you a Roman?” He said, “Yes.”
Omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’abuuza Pawulo nti, “Mbulira, oli Muruumi?” Pawulo n’amuddamu nti, “Yee, bwe kiri.”
28 The commanding officer answered, “I bought my citizenship for a great price.” Paul said, “But I was born a Roman.”
Omuduumizi w’abaserikale n’amugamba nti, “Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi.” Pawulo n’amuddamu nti, “Nze mwe nazaalirwa!”
29 Immediately those who were about to examine him departed from him, and the commanding officer also was afraid when he realized that he was a Roman, because he had bound him.
Abaserikale abaali beetegese okumubuuza ne baseebulukuka ne bavaawo bwe baategeera nga Pawulo Muruumi, n’omuduumizi waabwe naye n’atya nnyo kubanga yali alagidde okumusiba n’okumukuba kibooko.
30 But on the next day, desiring to know the truth about why he was accused by the Jews, he freed him from the bonds and commanded the chief priests and all the council to come together, and brought Paul down and set him before them.
Enkeera omuduumizi w’abaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, n’asumulula Pawulo mu njegere, n’alagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu lutuule. N’alagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.

< Acts 22 >