< 1 Chronicles 10 >

1 Now the Philistines fought against Israel; and the men of Israel fled from before the Philistines, and fell down slain on Mount Gilboa.
Awo Abafirisuuti ne balumba Isirayiri, abasajja Abayisirayiri ne babadduka era bangi ku bo ne battibwa ku Lusozi Girubowa.
2 The Philistines followed hard after Saul and after his sons; and the Philistines killed Jonathan, Abinadab, and Malchishua, the sons of Saul.
Abafirisuuti ne bagobera ddala Sawulo ne batabani be, era batabani be Yonasaani, ne Abinadaabu ne Malukisiwa ne battibwa.
3 The battle went hard against Saul, and the archers overtook him; and he was distressed by reason of the archers.
Olutalo ne lweyongerera ddala ne Sawulo ne yeeraliikirira nnyo, anti n’abalasi nga bamutuseeko era baamulasa n’alumizibwa.
4 Then Saul said to his armor bearer, “Draw your sword, and thrust me through with it, lest these uncircumcised come and abuse me.” But his armor bearer would not, for he was terrified. Therefore Saul took his sword and fell on it.
Awo Sawulo n’agamba eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye nti, “Sowola ekitala kyo, onfumite, ng’abasajja abo abatali bakomole tebannajja ku nswaza.” Naye eyamusituliranga ebyokulwanyisa bye n’atya nnyo, era n’agaana. Sawulo kyeyava asowolayo ekitala kye n’akigwako.
5 When his armor bearer saw that Saul was dead, he likewise fell on his sword and died.
Awo eyamusituliranga ebyokulwanyisa bwe yalaba nga Sawulo afudde, naye n’asowolayo ekikye ne yetta.
6 So Saul died with his three sons; and all his house died together.
Sawulo n’afa bw’atyo ne batabani be bonsatule, era n’abo mu nnyumba ye bonna ne bafa.
7 When all the men of Israel who were in the valley saw that they fled, and that Saul and his sons were dead, they abandoned their cities, and fled; and the Philistines came and lived in them.
Awo Abayisirayiri bonna abaali mu kiwonvu, bwe baalaba ng’eggye lyabwe lidduse, nga ne Sawulo ne batabani be bafudde, ne baleka ebibuga byabwe ne badduka, Abafirisuuti ne bajja ne babibeeramu.
8 On the next day, when the Philistines came to strip the slain, they found Saul and his sons fallen on Mount Gilboa.
Enkeera, Abafirisuuti bwe bajja okwambula abafudde, ne basanga Sawulo ne batabani be nga bafiiridde ku Lusozi Girubowa.
9 They stripped him and took his head and his armor, then sent into the land of the Philistines all around to carry the news to their idols and to the people.
Ne bamwambula, ne bamuggyako ebyokulwanyisa bye, ne bamutemako omutwe, era ne batuma n’ababaka okuddayo mu nsi y’Abafirisuuti okubategeeza amawulire ago.
10 They put his armor in the house of their gods, and fastened his head in the house of Dagon.
Ne bateeka ebyokulwanyisa bya Sawulo mu ssabo lya bakatonda baabwe, ate n’omutwe gwe ne guwanikibwa mu ssabo lya Dagoni.
11 When all Jabesh Gilead heard all that the Philistines had done to Saul,
Awo ab’e Yabesugireyaadi bonna bwe baawulira byonna Abafirisuuti bye baakola Sawulo,
12 all the valiant men arose and took away the body of Saul and the bodies of his sons, and brought them to Jabesh, and buried their bones under the oak in Jabesh, and fasted seven days.
abasajja abazira mu bo ne bagenda ne baggyayo omulambo gwa Sawulo n’eggya batabani be, ne bagireeta e Yabesi. Ne baziika amagumba gaabwe wansi w’omwera e Yabesi, era ne basiibira ennaku musanvu.
13 So Saul died for his trespass which he committed against Yahweh, because of Yahweh’s word, which he didn’t keep, and also because he asked counsel of one who had a familiar spirit, to inquire,
Bw’atyo Sawulo n’afa olw’obutaba mwesigwa eri Mukama, n’obutakwata kigambo kya Mukama, ate n’okulagulwa omusamize n’amwebuuzaako,
14 and didn’t inquire of Yahweh. Therefore he killed him, and turned the kingdom over to David the son of Jesse.
mu kifo ky’okwebuuza ku Mukama. Mukama kyeyava atta Sawulo n’obwakabaka n’abuwa Dawudi mutabani wa Yese.

< 1 Chronicles 10 >