< Revelation 1 >

1 The Revelation of Jesus Christ, which God gave to him, to show to his servants things which must shortly come to pass; and he sent and signified it by his angel to his servant John:
Okubikkulirwa kwa Yesu Kristo, Katonda kwe yamuwa okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu. Kristo yakimanyisa ng’atuma malayika we eri omuweereza we Yokaana
2 Who bore witness of the word of God, and of the testimony of Jesus Christ, and of all things that he saw.
eyategeeza ekigambo kya Katonda n’obujulirwa bwa Yesu Kristo ku byonna bye yalaba.
3 Blessed is he that readeth, and they that hear the words of this prophecy, and keep those things which are written in it: for the time is at hand.
Alina omukisa oyo asoma n’abo abawulira ebigambo by’obunnabbi buno, ne beekuuma ebiwandiikiddwa, kubanga ekiseera kiri kiweddeyo.
4 John to the seven churches which are in Asia: Grace be to you, and peace, from him who is, and who was, and who is to come; and from the seven Spirits who are before his throne;
Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya. Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,
5 And from Jesus Christ, who is the faithful witness, and the first begotten of the dead, and the prince of the kings of the earth. To him that loved us, and washed us from our sins in his own blood,
era n’okuva eri Yesu Kristo omujulirwa omwesigwa. Oyo ye yasooka okuzuukira mu bafu, era y’afuga bakabaka ab’omu nsi; oyo yatwagala, era ye yatuggya mu bibi byaffe n’omusaayi gwe,
6 And hath made us kings and priests to God and his Father; to him be glory and dominion for ever and ever. Amen. (aiōn g165)
n’atufuula obwakabaka bw’obwakabona bwa Katonda, Kitaawe. Ekitiibwa n’obuyinza bibeerenga eri oyo emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
7 Behold, he cometh with clouds; and every eye shall see him, and they also who pierced him: and all kindreds of the earth shall wail because of him. Even so, Amen.
“Laba, ajja n’ebire, na buli liiso lirimulaba, n’abaamufumita balimulaba, era n’amawanga gonna ku nsi galimukungubagira.”
8 I am Alpha and Omega, the beginning and the ending, saith the Lord, who is, and who was, and who is to come, the Almighty.
“Nze Alufa ne Omega,”bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”
9 I John, who also am your brother, and companion in tribulation, and in the kingdom and patience of Jesus Christ, was in the isle that is called Patmos, for the word of God, and for the testimony of Jesus Christ.
Nze muganda wammwe Yokaana, abonaabonera awamu nammwe mu bwakabaka ne mu kugumiikiriza ebiri mu Yesu, nnali ku kizinga ekiyitibwa Patumo, olw’ekigambo kya Katonda era n’okujulira ebya Yesu.
10 I was in the Spirit on the Lord’s day, and heard behind me a great voice, as of a trumpet,
Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe, ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe,
11 Saying, I am Alpha and Omega, the first and the last: and, What thou seest, write in a book, and send it to the seven churches which are in Asia; to Ephesus, and to Smyrna, and to Pergamos, and to Thyatira, and to Sardis, and to Philadelphia, and to Laodicea.
nga ligamba nti, “By’olaba, biwandiike mu kitabo, okiweereze eri Ekkanisa omusanvu: Ekkanisa ey’omu Efeso, n’ey’omu Sumuna, n’ey’omu Perugamo, n’ey’omu Suwatira, n’ey’omu Saadi, n’ey’omu Firaderufiya n’ey’omu Lawodikiya.”
12 And I turned to see the voice that spoke with me. And having turned, I saw seven golden lampstands;
Ne nkyuka okulaba eyali ayogera nange, ne ndaba ebikondo by’ettaala ebya zaabu musanvu.
13 And in the midst of the seven lampstands one like the Son of man, clothed with a garment down to the foot, and girt about the breasts with a golden band.
Era wakati mu byo ne ndabamu omuntu “eyali ng’Omwana w’Omuntu” eyali ayambadde ekyambalo ekiwanvu ekikoma ku bigere, nga yeesibye mu kifuba olukoba olwa zaabu.
14 His head and his hairs were white like wool, as white as snow; and his eyes were as a flame of fire;
Omutwe gwe n’enviiri ze byali byeru ng’ebyoya by’endiga ebyeru, era nga bifaanana ng’omuzira, n’amaaso ge nga gali ng’ennimi z’omuliro.
15 And his feet like fine brass, as if they burned in a furnace; and his voice as the sound of many waters.
Ebigere bye byali ng’ekikomo ekizigule ekyakaayakana mu muliro n’eddoboozi lye nga liyira ng’amazzi amangi.
16 And he had in his right hand seven stars: and out of his mouth went a sharp twoedged sword: and his countenance was as the sun shineth in his strength.
Yali akutte emmunyeenye musanvu mu mukono gwe ogwa ddyo era ng’alina ekitala ekyogi eky’obwogi obubiri mu kamwa ke; n’ekyenyi kye nga kiri ng’enjuba eyakaayakana mu maanyi gaayo.
17 And when I saw him, I fell at his feet as dead. And he laid his right hand upon me, saying to me, Fear not; I am the first and the last:
Bwe namulaba, ne ngwa wansi ku bigere bye ne mba ng’afudde, kyokka ye n’anteekako omukono gwe ogwa ddyo n’aŋŋamba nti, “Totya. Nze Owoolubereberye era Owenkomerero,
18 I am he that liveth, and was dead; and, behold, I am alive for evermore, Amen; and have the keys of hell and of death. (aiōn g165, Hadēs g86)
era omulamu. Nnali nfudde naye kaakano ndi mulamu emirembe gyonna, era nnina ebisumuluzo eby’okufa n’amagombe. (aiōn g165, Hadēs g86)
19 Write the things which thou hast seen, and the things which are, and the things which shall be after this;
“Kale wandiika ebyo by’olabye ebiriwo n’ebyo ebinaatera okubaawo oluvannyuma lw’ebyo ebiriwo.
20 The mystery of the seven stars which thou sawest in my right hand, and the seven golden lampstands. The seven stars are the angels of the seven churches: and the seven lampstands which thou sawest are the seven churches.
Ka nkubuulire amakulu g’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, era n’ebikondo eby’ettaala ebya zaabu omusanvu. Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b’Ekkanisa omusanvu, ate ebikondo by’ettaala eza zaabu omusanvu ze Kkanisa omusanvu.”

< Revelation 1 >