< Matthew 27 >

1 Very early the next morning all the chief priests and Jewish elders decided how [to arrange for the Romans] to execute Jesus.
Awo obudde bwe bwakya, bakabona abakulu bonna n’abakulembeze b’Abayudaaya ne beeyongera okukuŋŋaana ne bateeseza wamu balabe ekkubo lye banaayitamu okutta Yesu.
2 They tied his hands and took him to Pilate, the [Roman] governor.
Ne bamusiba, ne bamuweereza ewa Piraato eyali gavana Omuruumi.
3 When Judas, the one who had (betrayed/enabled Jesus’ enemies to seize) him, realized that they had decided to have Jesus executed, he was very sorry [about what he had done]. He took the 30 coins back to the chief priests and elders.
Awo Yuda, eyali amuliddemu olukwe, bwe yalaba nga Yesu bamusalidde omusango gwa kufa, n’azzaayo ebitundu amakumi asatu ebya ffeeza eri bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya,
4 He said, “I have sinned. I have (betrayed/enabled you to seize) a man who (is innocent/has not done anything wrong).” They replied, “(That means nothing to us!/What does that mean to us?) [RHQ] That is your problem!”
ng’agamba nti, “Nnyonoonye, kubanga ndiddemu olukwe omusaayi ogutalina musango.” Naye ne bamuddamu nti, “kyo kitukwatako kitya? Ezo nsoga zo.”
5 So Judas [took] the money [and] threw it inside the Temple. Then he went away and hanged himself.
Kyeyava addira ensimbi eza ffeeza n’aziyiwa mu Yeekaalu n’afuluma n’agenda yeetuga!
6 [Later] the high priests [found] the coins. They picked them up and said, “This is money that we paid [to have a man killed] [MTY], and our law does not allow [such money] to be put {us to put [such money]} into the [Temple treasury].”
Bakabona abakulu ne balondalondawo ensimbi eza ffeeza, ne bagamba nti, “Kya muzizo okuzissa mu ggwanika lya yeekaalu kubanga muwendo gwa musaayi.”
7 So they decided to use that money to buy the field where clay was dug for making pots {men dug ground for making pots}. [They made that field] a place where they buried strangers [who died in Jerusalem].
Bwe baamala okukikubaganyaako ebirowoozo, ne basalawo okuzigulamu ennimiro ababumbi mwe baggyanga ebbumba. Ne bateesa ennimiro eyo okugifuula ekifo eky’okuziikangamu abagwira.
8 That is why that place is still called {why they still call that place} ‘The field of blood’.
Kyebaava batuuma ennimiro eyo, “Ennimiro y’Omusaayi” n’okutuusa leero.
9 [By buying that field], they fulfilled these words that the prophet Jeremiah wrote [long ago]: They took the 30 silver coins; That was what the leaders of Israel decided [that he was worth];
Kino ne kituukiriza nnabbi Yeremiya bye yayogera nti, “Baddira ebitundu bya ffeeza amakumi asatu, nga gwe muwendo abaana ba Isirayiri gwe baamulamula,
10 and with that money they bought the field where clay was dug for potters. They did that as the Lord had commanded me.
ne bagulamu ennimiro eyali ey’ababumbi, nga Mukama bwe yalagira.”
11 Jesus stood in front of [Pilate], the governor. The governor asked Jesus, “Do you [claim to be] the king of the Jews?” Jesus replied, “[It is] as you have [just] said.”
Awo Yesu bwe yayimirira mu maaso ga gavana, Omuruumi, gavana n’amubuuza nti, “Ggwe Kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Okyogedde.”
12 When he was accused by the chief priests and elders {When the chief priests and elders accused him} about various things, he did not answer.
Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya bwe baaleeta ensonga zaabwe ze baasinziirako okumuwawaabira, Yesu teyabaanukula.
13 So Pilate said to him, “You hear how many things they are saying to accuse you; [are you not going to reply]?”
Piraato kwe ku mubuuza nti, “Ebyo byonna bye bakwogerako tobiwulira?”
14 But [even though he was not guilty], Jesus did not say anything. He did not reply to any of the things about which they were accusing him. As a result, the governor was very surprised.
Naye Yesu n’ataddamu kigambo na kimu, era gavana ne kimwewuunyisa nnyo.
15 It was the governor’s custom [each year] during the [Passover] celebration to release [one person who was in prison]. [He released] whichever prisoner the people wanted.
Gavana yalina empisa ey’okusumulula omusibe omu mu kiseera eky’Embaga y’Okuyitako, ng’omusibe oyo abantu be baamweronderanga.
16 At that time there was [in Jerusalem] a well-known prisoner whose name was Barabbas.
Mu kkomera mwalimu kkondo lukulwe ng’erinnya lye ye Balaba.
17 So when the crowd gathered, Pilate asked them, “Which [prisoner] would you like me to release for you: Barabbas, or Jesus, whom [some of you] claim to be the Messiah?”
Awo Piraato n’abuuza ekibiina ekyali kikuŋŋaanye nti, “Mwagala mbasumululire ani, Balaba oba Yesu, ayitibwa Kristo?”
18 [He asked that question] because he realized that the chief priests [wanted to have Jesus executed]. They had brought Jesus to him [only] because they were jealous of Jesus. [And Pilate thought that the crowd would prefer that he release Jesus].
Kubanga yamanya ng’abakulembeze b’Abayudaaya bamuwaddeyo lwa buggya.
19 While Pilate was sitting on the platform [where he made] judicial [decisions], his wife sent him [this message]: “Early this morning I had a bad dream because of that man. So do not condemn that righteous man!”
Piraato yali akyali wakati mu musango ogwo, mukazi we n’amutumira n’obubaka buno nti, “Toba na nsonga na musajja oyo omutuukirivu kubanga natawaanyizibbwa n’ekirooto eky’omuntu oyo.”
20 But the chief priests and elders persuaded the crowd to ask [Pilate to] release Barabbas, and to [order] that Jesus be executed {that [his soldiers] execute Jesus}.
Naye bakabona abakulu n’abakulembeze b’Abayudaaya ne basendasenda ebibiina basabeyo Balaba y’aba ateebwa, naye Yesu attibwe.
21 So when the governor asked them, “Which of the two men do you want me to release for you?” They replied, “Barabbas!”
Gavana bwe yaddamu okubabuuza nti, “Ku bano bombi mbateereko aluwa?” Ekibiina kyonna ne kiddamu nti, “Balaba!”
22 Pilate, [very astonished], asked, “So what shall I do with Jesus who [some of you] say is the Messiah?” They all answered, “[Command that] he be crucified! {[Command your soldiers] (to crucify him/to nail him to a cross)}!”
Piraato n’ababuuza nti, “Kale Yesu, ayitibwa Kristo, mukole ntya?” buli omu n’addamu nti, “Akomererwe!”
23 Pilate replied, “Why? What crime has he committed?” But they shouted even louder, “[Have] him crucified {[Command that your soldiers] crucify him}!”
Piraato n’ababuuza nti, “Lwaki, kiki ky’asobezza?” Naye bo ne beeyongera kuleekaanira waggulu nti, “Akomererwe!”
24 Pilate realized that he was accomplishing nothing. He saw that instead, the people were starting to riot. So he took [a basin of] water and washed his hands as the crowd was watching. He said, “[By washing my hands I am showing you that] if this man dies [MTY], it is [your] fault, [not mine]!”
Awo Piraato bwe yalaba ng’ensoga talina gy’aziraza, ate ng’ebibiina byagala kusasamala, n’atumya amazzi, n’anaaba engalo ze mu maaso g’ekibiina nga bw’agamba nti, “Nze siriiko musango gwonna olw’omusaayi gw’omuntu ono omulungi. Obuvunaanyizibwa bwonna buli ku mmwe!”
25 And all the people answered, “The guilt for causing him to die [MTY] will be on us, and it will be on our children, too!”
Abantu bonna ne baanukula nti, “Omusaayi gwe gubeere ku ffe ne ku baana baffe!”
26 Then he [ordered the soldiers to] release Barabbas for them. But he [ordered that his soldiers] flog Jesus. And then he turned Jesus over to the soldiers for them (to nail Jesus to a cross/to crucify him).
Awo Piraato n’asumulula Balaba n’abamuwa. Naye bwe yamala okukuba Yesu embooko n’amuwaayo bamukomerere.
27 Then the governor’s soldiers took Jesus into the government headquarters. The whole (cohort/group of soldiers) gathered around him.
Naye abaserikale baasooka kumutwala mu luggya lw’olubiri, oluyitibwa Pulayitoliyo ne bakuŋŋaanira eyo, ne bayita bannaabwe bonna.
28 They pulled off [his clothes], and [pretending he was a king, they] put a purple robe on him.
Awo ne bamwambulamu engoye ze, ne bamwambaza ekyambalo ekimyufu,
29 They [took some branches with] thorns and wove them to make a crown and put it on his head. They put in his right hand a reed [like a staff that a king would hold]. Then they knelt in front of him and made fun of him, saying, “Hooray for the king of the Jews [IRO]!”
ne bakola engule mu maggwa ne bagimutikkira, ne bamukwasa olumuli mu mukono gwe ogwa ddyo. Ne bamufukaamirira nga bamuduulira nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!”
30 They kept spitting on him. They took the staff and kept striking him on the head with it.
Ne bamuwandira amalusu, ne bamusikako olumuli ne balumukubya ku mutwe.
31 When they had finished ridiculing him, they pulled off the robe and put his own clothes on him. Then they led him away to [the place where they] would nail him to a cross.
Eby’okumuduulira bwe byaggwa, ne bamwambulamu ekyambalo ekimyufu, ne bamwambaza ekyambalo kye ekya bulijjo, ne balyoka bamufulumya okumutwala okumukomerera.
32 [After Jesus carried his cross] a short distance, [the soldiers] saw a man named Simon, [who was] from Cyrene [city]. They forced him to carry the cross for Jesus.
Bwe baali nga bagenda gye banaamukomerera, ne basisinkana omusajja omukuleene, erinnya lye nga ye Simooni, ne bamulagira lwa maanyi yeetikke omusaalaba gwa Yesu.
33 They came to a place called Golgotha. That name means ‘the place [like] a skull’.
Bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Gologoosa, amakulu nti, “Akasozi k’Ekiwanga,”
34 When [they got there], they mixed with wine something that tasted very bitter. They gave it to [Jesus] to drink [so that he would not feel so much pain when they nailed him on the cross]. But when he tasted it, he refused to drink it. [Some soldiers took his clothes].
ne bawa Yesu wayini atabuddwamu omususa, naye bwe yakombako n’amugaana.
35 Then they nailed him to the cross. Afterwards, they divided his clothes among themselves by gambling with something like dice [to decide which piece of clothing each one would get].
Bwe baamala okumukomerera, abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
36 Then the soldiers sat down there to guard him, [to prevent anyone from trying to rescue him].
Bwe batyo ne batuula awo nga bamukuuma.
37 They fastened [to the cross] above Jesus’ head a [sign on which had been] {[they had]} written why [they] were nailing him to the cross. [But all] it said was, ‘This is Jesus, the King of the Jews’.
Ne bawanika ekipande waggulu w’omutwe gwe ku musaalaba okuwandiikiddwa nti, “Ono ye Yesu, Kabaka w’Abayudaaya.”
38 Two bandits were also nailed {They also nailed two bandits} on crosses. One was nailed to a cross on the right side [of Jesus] and one to a cross on the left side.
Waaliwo n’abanyazi babiri abaakomererwa naye omu ku ddyo, n’omulala ku kkono.
39 The people who were passing by insulted him by shaking their heads [as if he were an evil man].
Awo abantu abaali bayitawo, ne bamuvuma nga bamunyeenyeza emitwe
40 They said, “You [said you] would destroy the Temple, and then you would build it again within three days! [So if you could do that], you [should be able to] save yourself! If you are the man who is also God (OR, If you are the Son of God), come down from the cross!”
nga bwe bagamba nti, “Wagamba okumenya Yeekaalu, ate ogizimbe mu nnaku ssatu! Weerokole okke wansi okuva ku musaalaba, obanga ggwe Mwana wa Katonda.”
41 Similarly, the chief priests, the men who taught the [Jewish] laws and the elders made fun of him. [Various ones of them] said things like,
Bakabona abakulu n’abawandiisi, n’abakulembeze abalala ne bamuduulira, nga bagamba nti,
42 “He [claims that he] saved others [IRO] [from their sicknesses], but he cannot help himself!” “He [says that he] is [IRO] the King of Israel. So he should come down from the cross. Then we would believe him!”
“Yalokolanga balala, naye ye tasobola kwerokola! Kale nga bw’ali Kabaka wa Isirayiri, ave ku musaalaba akke wansi, naffe tunaamukkiriza!
43 “He [says that he] trusts in God, and that he is the man who is also God. So if God is pleased with him, God should rescue him now!”
Yeesiga Katonda, kale amuggye ku musaalaba obanga Katonda amwagala. Yagamba nti, ‘Ndi Mwana wa Katonda.’”
44 And the [two] bandits who had been crucified with him also insulted him, saying similar things.
N’abanyazi ababiri abaakomererwa awamu naye nabo ne bamuvuma.
45 At noon it became dark over the whole land. [It stayed dark] until three o’clock [in the afternoon].
Okuviira ddala ku ssaawa mukaaga mu ttuntu okutuusiza ddala essaawa mwenda ez’olweggulo ensi yonna yabikkibwa ekizikiza.
46 At about three o’clock Jesus shouted loudly, “Eli, Eli, lama sabachthani?” That means, ‘My God, my God, why have you deserted me?’
Ku ssaawa nga mwenda Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Eri, Eri lama sabakusaani,” ekitegeeza nti, “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?”
47 When some of the people standing there heard [the word ‘Eli’, misunderstanding it], they said, “He is calling for [the prophet] Elijah!”
Naye abamu ku baali bayimiridde awo bwe baakiwulira ne bagamba nti, “Ayita Eriya.”
48 Immediately one of them ran and got a sponge. He filled it with sour wine. Then he put the sponge on [the tip of] a reed and [held it up in order that Jesus] could suck out [the wine that was in it].
Amangwago omu n’adduka n’addira ekyangwe n’akinnyika mu mwenge omukaatuufu n’akiteeka ku muti, n’akimuwa anuuneko.
49 But the other [people there] said, “Wait! Let’s see if Elijah comes to save him!”
Naye abalala ne bagamba nti, “Mumuleke. Ka tulabe obanga Eriya anajja n’amulokola.”
50 Then after Jesus shouted out loudly again, he died, giving his spirit over [to God].
Awo Yesu ne yeeyongera okwogerera waggulu n’eddoboozi eddene, n’awaayo omwoyo gwe.
51 At that moment the [heavy thick] curtain [that closed off the most holy place] in the Temple split into two pieces from top to bottom. [That signified that ordinary people could now go into the presence of God]. The earth shook, and [some large] rocks split open.
Era laba! Eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wakati okuva waggulu okutuuka wansi; ensi n’ekankana, n’enjazi ne zaatika.
52 [Some] tombs opened up, and the bodies of many godly people who had died became alive again.
Entaana ne zibikkuka era abantu ba Katonda bangi abaali bafudde ne bazuukira,
53 They came out of the tombs, and after Jesus became alive again, they went into Jerusalem and appeared to many people [there].
era Yesu bwe yamala okuzuukira ne bava mu ntaana gye baali baziikiddwa ne bayingira mu kibuga ekitukuvu ne balabibwa abantu bangi.
54 The officer who supervised the soldiers [who nailed Jesus to the cross was standing nearby]. His soldiers who had been on guard [so that no one would rescue] Jesus [were also there]. When they [felt] the earthquake and saw all the [other] things that happened, they were terrified. They exclaimed, “Truly he was both man and God! (OR, a Son of God).”
Omuserikale omukulu w’ekibinja ky’abaserikale ekikumi, n’abaserikale abaali bakuuma Yesu, bwe baalaba okukankana kw’ensi ng’okwa musisi, n’ebirala ebyabaawo, ne batya nnyo. Ne bagamba nti, “Ddala ddala ono abadde Mwana wa Katonda.”
55 Many women were there, watching from a distance. They were women who had accompanied Jesus from Galilee [district] in order to provide the things he needed.
Waaliwo n’abakazi bangi abaayitanga ne Yesu abaava naye e Ggaliraaya nga bamuweereza, baali beesuddeko akabanga, nga balaba ebigenda mu maaso.
56 Among these women were Mary from Magdala [town], [another] Mary who was the mother of James and Joseph, and the mother of James and John.
Mu bo mmwe mwali Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu nnyina wa Yakobo ne Yusufu, ne nnyina w’abaana ba Zebbedaayo.
57 When it was [almost] evening, a rich man named Joseph came [there]. He was from Arimathea [town]. He also was a disciple of Jesus.
Obudde bwe bwawungeera, ne wajja omusajja omugagga ng’ava Alimasaya, erinnya lye Yusufu eyali omu ku bagoberezi ba Yesu.
58 He then went to Pilate and asked Pilate to [allow him to take] the body of Jesus [and bury it]. Pilate ordered that [he] be allowed to {[his soldiers] let [Joseph]} take [the body].
N’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu. Piraato n’alagira bagumuwe.
59 So Joseph [and others] took the body and wrapped it in a clean white cloth.
Yusufu n’atwala omulambo n’aguzinga mu lugoye olulungi olwa linena,
60 Then they placed it in Joseph’s own new tomb that had been dug out of the rock [cliff]. They rolled a huge [circular flat] stone in front of the entrance to the tomb. Then they left.
n’agugalamiza mu ntaana ye empya gye yatema mu lwazi, n’addira ejjinja eddene n’aliyiringisiza mu mulyango gw’entaana n’aggalawo, ne yeetambulira.
61 Mary from Magdala and the other Mary were sitting there opposite the tomb, [watching].
Maliyamu Magudaleene ne Maliyamu munne, bombi baali batudde awo kumpi n’entaana.
62 The next day was Saturday, the Jewish day of rest. The chief priests and [some of] the Pharisees went to Pilate.
Enkeera, ng’olunaku olusooka mu nnaku z’Embaga y’Okuyitako luweddeko, bakabona abakulu n’Abafalisaayo ne bagenda eri Piraato,
63 They said, “Sir, we remember that while that deceiver was still alive, he said, ‘Three days after I [die I] will become alive again.’
ne bamugamba nti, “Oweekitiibwa, omulimba oli tujjukira ng’akyali mulamu yagamba nti, ‘Nga wayiseewo ennaku ssatu ndizuukira.’
64 So we ask you to order that the tomb be guarded {that [soldiers] guard the tomb} for three days. If you do not do that, his disciples may come and steal the body. Then they will tell people that he has risen from the dead. If they deceive [people by saying that], it will be worse than the way he deceived people before [by saying that he was the Messiah].”
Noolwekyo tukusaba olagire entaana ye ekuumibwe, okutuusa ku lunaku olwokusatu, abayigirizwa be baleme kumubbamu, ne balyoka bategeeza abantu nti azuukidde! Singa ekyo kiba bwe kityo, ekyo kye kijja okuba ekibi ennyo okusinga n’ekyasooka.”
65 Pilate replied, “You [can] take some soldiers. Go to the tomb and make it as secure as you know how.”
Piraato n’abaddamu nti, “Mukozese abaserikale bammwe be mulina mugende mugikuume.”
66 So they went and made the tomb secure by [fastening a cord from] the stone [that was in front of the entrance to the rock cliff on each side] and sealing it. They also [left some soldiers there to] guard [the tomb].
Bwe batyo ne bateeka akabonero ak’envumbo ku jjinja eryaggala omulyango gw’entaana, ne bateekawo n’abakuumi.

< Matthew 27 >