< Revelation 22 +

1 And he pointed out to me a river of water of life, bright as crystal, issuing forth out of the throne of God and of the Lamb,
Awo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga,
2 in the midst of the broadway thereof. And, on this side of the river and on that, was a tree of life, bearing twelve crops of fruit, every several month, yielding its fruit; and, the leaves of the tree, were for the healing of the nations,
nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga.
3 And, no curse, shall there be, any more; and, the throne of God and of the Lamb, shall be, therein, —and his servants will render divine service unto him,
Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza,
4 and they shall see his face, and, his name, [shall be] upon their foreheads.
era banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe.
5 And, night, shall be, no more; and they have no need of the light of a lamp or the light of a sun, because, the Lord, God, will give them light, —and they shall reign unto the ages of ages. (aiōn g165)
Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe. (aiōn g165)
6 And he said unto me—These words, are faithful and true; and, the Lord, the God of the spirits of the prophets, hath sent his messenger, to point out, unto his servants, the things which must needs come to pass with speed.
Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”
7 And—Lo! I come speedily! Happy, is he that keepeth the words of the prophecy of this scroll.
“Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.”
8 And, I, John, am he that was hearing and seeing these things; and, when I had heard and seen, I fell down to do homage at the feet of the messenger who had been pointing out unto me these things, —
Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga;
9 and he saith unto me—See [thou do it] not! A fellow-servant, am I, of thee, and of thy brethren the prophets, and of them who keep the words of this scroll: unto God, do homage.
kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”
10 And he saith unto me—Do not seal up the words of the prophecy of this scroll, for, the season, is, near:
Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira.
11 He that is doing unjustly, let him do unjustly, still, and, he that is filthy, let him be made filthy, still; and, he that is righteous, let him do righteousness, still, and, he that is holy, let him be hallowed, still: —
Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.
12 Lo! I come speedily, and my reward is with me, to render unto each one as, his, work is.
“Laba, nzija mangu nsasule buli omu ng’ebikolwa bye bwe biri.
13 I, am the A and the Z, the First and the Last, the Beginning and the End.
Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.
14 Happy, they who are washing their robes, that their right may be unto the tree of life and, by the gates, they may enter into the city.
“Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa obuyinza okuyingira mu miryango gy’ekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogw’obulamu.
15 Outside, are the dogs, and the sorcerers, and the unchaste, and the murderers, and the idolaters, and every one loving and doing falsehood.
Ebweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba.
16 I, Jesus, have sent my messenger, to bear witness unto you of these things, for the assemblies. I, am the Root and the Offspring of David, the bright and the morning Star.
“Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”
17 And, the Spirit and the Bride, say—Come! and, he that heareth, let him say—Come! and, he that is athirst, let him come, —he that will, let him take of the water of life, freely.
Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.
18 I, bear witness, unto every one that heareth the words of the prophecy of this scroll: —If anyone shall lay aught upon them, God, will lay upon him, the plagues which are written in this scroll;
Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
19 And, if anyone shall take away from the words of this prophetic scroll, God, will take away his part, —from the tree of life, and out of the holy city, —[from] the things written in this scroll.
Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.
20 He that beareth witness of these things, saith—Yea! I come, speedily. Amen! come, Lord Jesus!
Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!” Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!
21 The favour of the Lord Jesus [Christ] be with the saints.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.

< Revelation 22 +