< Leviticus 17 >

1 And Yahweh spake unto Moses saying: —
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
2 Speak unto Aaron, and unto his sons and unto all the sons of Israel, and thou shalt say unto them, —This, is the thing which Yahweh hath commanded, saying:
“Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Kino Mukama ky’alagidde:
3 What man soever, there be of the house of Israel, who slayeth an ox or lamb or goat, in the camp, —or who slayeth it outside the camp;
Omuntu yenna Omuyisirayiri anaawangayo ekiweebwayo eky’ente, oba endiga ento, oba embuzi, munda mu lusiisira oba ebweru w’olusiisira,
4 and, unto the entrance of the tent of meeting, bringeth it not in, to present it as an oblation unto Yahweh, before the habitation of Yahweh, blood, shall be imputed to that man—blood, hath he shed, therefore shall that man be cut off from the midst of his people:
nga tagireese ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, okugiwaayo ng’ekirabo ekiweebwayo eri Mukama Katonda mu kisasi ky’Eweema ya Mukama; omuntu oyo anaabanga azzizza omusango ogw’okuyiwa omusaayi; olwokubanga ayiye omusaayi, anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
5 to the end that the sons of Israel may bring in their sacrifices which they are offering upon the face of the field, that they may bring them in unto Yahweh—unto the entrance of the tent of meeting, unto the priest, —and that so as peace-offerings unto Yahweh, they may offer them.
Ekyo kiri bwe kityo abaana ba Isirayiri balyoke balekeraawo okuweerangayo ebiweebwayo byabwe ebweru mu nnimiro, naye babireetenga awali Mukama Katonda. Kibagwanira okubireetanga eri Mukama babikwasenga kabona ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne biryoka bittibwa nga bye biweebwayo eri Mukama olw’emirembe.
6 Then shall the priest dash the blood against the altar of Yahweh, at the entrance of the tent of meeting, —and shall make a perfume of the fat, as a satisfying odour unto Yahweh;
Kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, amasavu n’agookya ne muvaamu akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda.
7 so shall they no more offer their sacrifices unto demons after whom they are unchastely going away, —a statute age-abiding, shall this be to them unto their generations.
Tebasaana kwongera kuwangayo biweebwayo byabwe eri bakatonda be beekoledde mu kifaananyi ky’embuzi, be bakola nabyo eby’obwamalaaya. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya lubeerera n’okuyita mu mirembe egigenda okuddawo.
8 Wherefore, unto them, shalt thou say: What man soever, there may be of the house of Israel, or of the sojourners that sojourn in their midst, —who causeth to go up an ascending-offering, or a sacrifice;
“Era bagambe nti, Buli muntu yenna Omuyisirayiri, oba omunnaggwanga yenna abeera mu bo, aliwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, oba ekiweebwayo eky’engeri yonna,
9 and unto the entrance of the tent of meeting, doth not bring it in, to offer it unto Yahweh, then shall that man be cut off from among his kinsfolk.
nga takireese ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, okukiwaayo eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.
10 And, what man soever, there may be of the house of Israel, or of the sojourners that sojourn in their midst, that partaketh of any manner of blood, then will I set my face against the person that partaketh of the blood, and will cut him off from the midst of his people.
“Omuntu yenna Omuyisirayiri oba ow’omu bannamawanga ababeera mu Isirayiri bw’anaalyanga omusaayi ogw’engeri yonna, nnaamunyiigiranga oyo anaalyanga omusaayi, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagananga ne banne.
11 For as for the life of the flesh, in the blood, it is, therefore have, I, given it unto you upon the altar, to put a propitiatory-covering over your lives, —for the blood, it is, which, by virtue of the life, maketh propitiation.
Kubanga obulamu bw’ekitonde buli mu musaayi, ate nkibawadde okubatangiririra ku kyoto; omusaayi gwe gutangiririra obulamu bw’omuntu.
12 For this cause, have I said unto the sons of Israel, Not a person from among you shall partake of blood, —Even the sojourner that sojourneth in your midst, shall not partake of blood.
Noolwekyo Abayisirayiri mbagamba nti tewabanga n’omu mu mmwe anaalyanga omusaayi, era ne munnaggwanga abeera mu mmwe naye taalyenga musaayi.
13 And, what man soever, there may be of the sons of Israel, or of the sojourners that sojourn in their midst, who taketh by hunting any wild-beast or bird that may be eaten, then shall he pour out the blood thereof, and cover it with dust;
“Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga abeera mu mmwe, bw’anaayigganga ensolo oba ennyonyi nga ya kulya, anaagikenenulangamu omusaayi n’agubikkako ettaka,
14 for, as for the life of all flesh, the blood thereof, for the life thereof, standeth, therefore have I said unto the sons of Israel—Of the blood of no manner of flesh, shall ye partake, For, the life of all flesh is the blood thereof; whoso partaketh thereof, shall be cut off.
kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo. Abayisirayiri kyenvudde mbagamba nti temulyanga musaayi gwa kitonde eky’engeri yonna, kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo, omuntu yenna anaagulyanga anaagobwanga n’agaanibwa okukolagana ne banne.
15 And, in the case of any person who eateth that which died of itself or was torn in pieces, whether he be home-born, or a sojourner, then shall he wash his clothes, and bathe in water, and be unclean until the evening, and then be clean.
“Omuntu yenna omuzaaliranwa oba omunnaggwanga anaalyanga ekintu kyonna ekinaabanga kisangiddwa nga kifu, oba nga kitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi; oluvannyuma anaabeeranga mulongoofu.
16 But, if he wash them not, and his flesh, he do not bathe, then shall he bear his iniquity.
Naye bw’ataayozenga byambalo bye, n’okunaaba n’atanaaba, ye anaabanga yeeretedde obutali bulongoofu bwe okumusigalako.”

< Leviticus 17 >