< Micah 7 >

1 Woe, woe is me, for I have become like a field after harvest, like a vineyard after gathering; not a cluster of grapes to eat, not a fig that anyone desires.
Ddala zinsanze nze. Ndi ng’omuntu akungula ebibala okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu; tewali kirimba kya mizabbibu kulyako, wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
2 The honest have perished from the land, of the upright among people there is none. All of them lie in wait to shed blood. They hunt one another with the net.
Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi; tewali n’omu mulongoofu asigaddewo. Bonna banoonya okuyiwa omusaayi, buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
3 Their hands know well how to do evil, the officer and judge demands a bribe, the high official decides as he pleases and they conspire to pervert justice.
Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi; omufuzi asaba ebirabo, n’omulamuzi alya enguzi, n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala nga basala enkwe.
4 The best of them are like a thorn thicket, their most upright like a prickly hedge. The day of their punishment has come, now will be their confusion!
Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo; asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi. Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse, era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
5 Do not trust your neighbour, do not rely on a friend. From the wife who lies in your arms guard your tongue.
Tewesiga muntu n’omu, wadde mukwano gwo, newaakubadde mukazi wo, Weegendereze by’oyogera.
6 For son insults father, daughter rises up against mother, daughter-in-law against mother-in-law, a man’s enemies are the people of his own household.
Kubanga omulenzi agaya kitaawe, n’omwana alwanyisa nnyina, muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we. Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.
7 But I will look to the Lord, I will wait for the God of my salvation. My God will hear me!
Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi, nnindirira Katonda Omulokozi wange; Katonda wange anampulira.
8 Do not rejoice over me, my enemy. If I have fallen, I will rise. If I sit in darkness, the Lord is my light.
Tonjeeyereza ggwe omulabe wange, kubanga wadde ngudde, nnaayimuka. Ne bwe naatuula mu kizikiza, Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
9 The anger of the Lord I will bear, for against him have I sinned – until he champions my cause and gives judgment for me. He will bring me into to the light, I will see his justice.
Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza, kubanga nnyonoonye mu maaso ge, okutuusa lw’alimpolereza, n’anziza buggya. Alindeeta mu kitangaala, era ndiraba obutuukirivu bwe.
10 So my enemy will see, and shame will cover them, they who said, ‘Where is the Lord your God?’ I will look upon them, they will be trampled on like mud in the street!
Olwo omulabe wange alikiraba, n’aswala, oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti, “Ali ludda wa Mukama Katonda wo?” Ndisanyuka ng’agudde, era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
11 It is a day for rebuilding your walls, this day will your boundary will be extended.
Olunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka, olunaku olw’okugaziya ensalo yo.
12 This day they will come to you, from Assyria and the cities of Egypt, and from Egypt even to the Euphrates River, from sea to sea, and from mountain to mountain.
Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri, n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati, n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala, n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
13 Though the land has become a desolation because of its inhabitants, because of their deeds.
Ensi erifuuka matongo, olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.
14 Shepherd your flock with your staff, the flock that belong to you, who live alone in the forest, in the midst of meadows; so that they may pasture in Bashon and Gilead as in the days of old,
Lunda abantu bo n’omuggo gwo, ekisibo kye weeroboza, ababeera bokka mu kibira mu malundiro amagimu. Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.
15 as in the days when you came from Egypt, gave us wonders to see.
Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri, nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.
16 Nations will see and be ashamed of all their might; they will put their hands to their mouth, their ears will become deaf,
Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi, ne gamalibwamu amaanyi. Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe n’amatu gaabwe ne gaziba.
17 they will lick the dust like snakes, like creatures that crawl on the earth; they will come trembling and in terror from their hiding places, in dread and fear.
Balirya enfuufu ng’omusota, ng’ebisolo ebyewalula. Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
18 Who is a God like you, forgiving iniquity and passing by the rebellion of the remnant of your people? He does not retain his anger forever, but is one who delights in mercy.
Katonda ki omulala ali nga ggwe, asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo abaasigalawo ku bantu be? Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna, naye asanyukira okusaasira.
19 He will tread under foot our iniquity; you will cast into the depths of the sea all our iniquities.
Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe, n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
20 You will show faithfulness to Jacob, and loving kindness to Abraham, as you have sworn to our ancestors from the days of old.
Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo, n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu, nga bwe weeyama eri bajjajjaffe okuva mu nnaku ez’edda.

< Micah 7 >