< Job 19 >

1 Then Job answered,
Awo Yobu n’addamu nti:
2 "How long will you torment me, and crush me with words?
“Mulikomya ddi okunnyigiriza ne mummenya n’ebigambo?
3 You have reproached me ten times. You aren't ashamed that you attack me.
Emirundi kkumi nga munvuma; temukwatiddwa nsonyi kunnumba.
4 If it is true that I have erred, my error remains with myself.
Bwe kiba nga kituufu nti nawaba, obukyamu bwange, bwange nzekka.
5 If indeed you will magnify yourselves against me, and plead my disgrace against me;
Bwe muba munneegulumiririzaako ne mukozesa obulumi bwange okunfeebya,
6 know now that God has subverted me, and has surrounded me with his net.
mumanye nga Katonda ankoze bubi era anzingizza mu kitimba kye.
7 "Look, I cry out 'Injustice.' but there is no justice.
“Wadde nga nkaaba nti, ‘Mpisiddwa bubi,’ siddibwamu; ne bwe nkuba enduulu, tewali antaasa.
8 He has walled up my way so that I can't pass, and has set darkness in my paths.
Azibye ekkubo lyange sisobola kuyita; amakubo gange agalese mu kizikiza.
9 He has stripped me of my glory, and taken the crown from my head.
Anziggyeeko ekitiibwa kyange n’anziggyako n’engule ku mutwe gwange.
10 He has broken me down on every side, and I am gone. My hope he has plucked up like a tree.
Anjuzaayuza ku buli ludda okutuusa lwe watasigalawo kantu, asigula essuubi lyange ng’omuti.
11 He has also kindled his wrath against me. He counts me among his adversaries.
Obusungu bwe bumbubuukirako; ambala ng’omu ku balabe be.
12 His troops come on together, build a siege ramp against me, and camp around my tent.
Amaggye ge galumba n’amaanyi; ganzimbako enkomera ne gagumba okwetooloola weema yange.
13 "He has put my brothers far from me. My acquaintances are wholly estranged from me.
“Anziggyeeko baganda bange; abo bwe twali tumanyiganye banviiriddeko ddala.
14 My relatives have gone away. My familiar friends have forgotten me.
Ab’ekika kyange banviiriddeko ddala, mikwano gyange ginneerabidde.
15 Those who dwell in my house, and my maids, count me for a stranger. I am a foreigner in their sight.
Abagenyi bange n’abaweereza bange abawala, bampisa nga gwe batamanyi, ne bandaba nga munnagwanga.
16 I call to my servant, and he gives me no answer. I beg him with my mouth.
Mpita omuddu wange naye tawulira, wadde nga mwegayirira n’akamwa kange.
17 My breath is offensive to my wife. I am loathsome to the children of my own mother.
Omukka gwange gwe nzisa, guwunyira bubi mukyala wange; nakyayibwa baganda bange bennyini.
18 Even young children despise me. If I arise, they speak against me.
N’obulenzi obuto bunsekerera; buli lwe bundaba bunvuma.
19 All my familiar friends abhor me. They whom I loved have turned against me.
Mikwano gyange gyonna enfirabulago gya nkyawa; abo be nnayagalanga banneefuukira.
20 My bones stick to my skin and to my flesh. I have escaped by the skin of my teeth.
Siriiko bwe ndi wabula ndi ddiba na magumba: nsigazzaawo bibuno byokka.
21 "Have pity on me, have pity on me, you my friends; for the hand of God has touched me.
“Munkwatirwe ekisa mikwano gyange, munkwatirwe ekisa, kubanga omukono gwa Katonda gunkubye.
22 Why do you persecute me as God, and are not satisfied with my flesh?
Lwaki munjigga nga Katonda bw’anjigga? Omubiri gwe mufunye tegumala?
23 "Oh that my words were now written. Oh that they were inscribed in a scroll.
“Singa nno ebigambo byange byawandiikibwa, Singa byawandiikibwa ku muzingo, bandiguwadde ani?
24 That with an iron pen and lead they were engraved in the rock forever.
Singa byawandiikibwa n’ekyuma ku lubaati, oba okuwandiikibwa ku lwazi ne bibeerawo emirembe n’emirembe!
25 But as for me, I know that my Redeemer lives. In the end, he will stand upon the earth.
Mmanyi nga Omununuzi wange mulamu, era nga ku nkomerero aliyimirira ku nsi.
26 After my skin is destroyed, then in my flesh shall I see God,
Era ng’olususu lwange bwe luweddewo, kyokka mu mubiri gwange ndiraba Katonda;
27 Whom I, even I, shall see on my side. My eyes shall see, and not as a stranger. My heart is consumed within me.
nze mwene ndimulaba, n’amaaso gange, Nze, so si mulala. Emmeeme yange ng’eyaayaana munda mu nze!
28 If you say, 'How we will persecute him, because the root of the matter is found in him.'
“Bwe mugamba nti, ‘Tujja kumuyigganya, kubanga ensibuko y’emitawaana eri mu ye;’
29 Be afraid of the sword, for wrath brings the punishments of the sword, that you may know there is a judgment."
nammwe bennyini musaana mutye ekitala. Kubanga obusungu buleeta okubonereza okw’ekitala, olwo mulyoke mumanye ng’eriyo okusalirwa omusango.”

< Job 19 >