< Galatians 1 >

1 Paul, an apostle (not from humans, nor through humans, but through Yeshua Meshikha, and God the Father, who raised him from the dead),
Nze Pawulo omutume, ataatumibwa bantu wadde omuntu, wabula eyatumibwa Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu,
2 and all the brothers who are with me, to the congregations of Galatia:
awamu n’abooluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ez’e Ggalatiya,
3 Grace to you and peace from God our Father, and the Lord Yeshua Meshikha,
nga tugamba nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe;
4 who gave himself for our sins, that he might deliver us out of this present evil age, according to the will of our God and Father? (aiōn g165)
Kristo oyo eyeewaayo ku lw’ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi ng’okwagala kwa Katonda, era Kitaffe bwe kuli, (aiōn g165)
5 to whom be the glory forever and ever. Amen. (aiōn g165)
aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina. (aiōn g165)
6 I am astonished that you are so quickly deserting him who called you by the grace of Meshikha to a different "good news";
Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olw’ekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala.
7 and there is not another "good news." Only there are some who trouble you, and want to pervert the Good News of Meshikha.
Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola n’okukyusa Enjiri ya Kristo.
8 But even though we, or an angel from heaven, should preach to you a "good news" other than that which we preached to you, let him be cursed.
Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bw’abuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga.
9 As we have said before, so I now say again: if anyone preaches to you a "good news" other than that which you received, let him be cursed.
Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bw’ababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.
10 For am I now seeking the favor of people, or of God? Or am I striving to please people? For if I were still pleasing people, I would not be a servant of Meshikha.
Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo.
11 But I make known to you, brothers, concerning the Good News which was preached by me, that it is not of human origin.
Kubanga abooluganda, mbategeeza nti, Enjiri gye nababuulira teyeesigamizibwa ku muntu,
12 For neither did I receive it from a human, nor was I taught it, but it came to me through revelation of Yeshua Meshikha.
era nange saagiweebwa muntu wadde okusomesebwa omuntu wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira.
13 For you have heard of my former way of life in Judaism, how I severely persecuted the church of God, and tried to destroy it.
Mumanyi nga bwe nnali nfaanana nga nkyagoberera eddiini y’Ekiyudaaya, nga bwe nayigganyanga ennyo Ekkanisa ya Katonda okugizikiza,
14 I advanced in Judaism beyond many of my own age among my countrymen, being more exceedingly zealous for the traditions of my fathers.
era nga nnali omu ku bannaddiini abaakulaakulana mu ggwanga lyange, ne nsukkuluma ku Bayudaaya bannange be nakula nabo, era nagezaako nnyo nga bwe nasobola okugoberera empisa zonna ez’edda ez’amateeka g’eddiini yange.
15 But when God, who had set me apart from my mother's womb and called me through his grace, was pleased
Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n’ampita olw’ekisa kye,
16 to reveal his Son to me, that I might preach him among those who are not Jewish, I did not immediately confer with flesh and blood,
n’ambikkulira Omwana we ndyoke ŋŋende eri Abaamawanga mbabuulire Enjiri era sseebuuza ku muntu n’omu,
17 nor did I go up to Urishlim to those who were apostles before me, but I went away into Arabia. Then I returned to Damascus.
newaakubadde okwambuka e Yerusaalemi okwebuuza ku batume, naye nagenda mu Buwalabu era oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko.
18 Then after three years I went up to Urishlim to see Kipha and get information from him, and stayed with him fifteen days.
Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne ŋŋenda e Yerusaalemi okulaba Keefa ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano.
19 But of the other apostles I saw no one, except Yaquv, the Lord's brother.
Naye ssaalaba mutume mulala wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe.
20 Now about the things which I write to you, look, before God, I'm not lying.
Noolwekyo bye mbawandiikira, si bya bulimba mu maaso ga Katonda.
21 Then I came to the regions of Syria and Cilicia.
Bwe navaayo ne ndaga mu bitundu eby’e Siriya n’eby’e Kirukiya.
22 I was still unknown by face to the congregations of Yehuda which were in Meshikha,
Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinnategeera bwe nfaanana.
23 but they only heard: "He who once persecuted us now preaches the faith that he once tried to destroy."
Naye nga bamanyi nti, “Eyatuyigganyanga, kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza.”
24 And they glorified God because of me.
Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.

< Galatians 1 >