< Psalms 109 >

1 For the Leader. A Psalm of David. O God of my praise, keep not silence;
Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Ayi Katonda wange gwe ntendereza, tonsiriikirira.
2 For the mouth of the wicked and the mouth of deceit have they opened against me; they have spoken unto me with a lying tongue.
Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba, banjogeddeko eby’obulimba.
3 They compassed me about also with words of hatred, and fought against me without a cause.
Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi, ne bannumbagana awatali nsonga.
4 In return for my love they are my adversaries; but I am all prayer.
Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi; kyokka nze mbasabira.
5 And they have laid upon me evil for good, and hatred for my love:
Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi; bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.
6 'Set Thou a wicked man over him; and let an adversary stand at his right hand.
Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere; wabeewo amuwawaabira.
7 When he is judged, let him go forth condemned; and let his prayer be turned into sin.
Bwe banaawoza, omusango gumusinge; n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
8 Let his days be few; let another take his charge.
Aleme kuwangaala; omuntu omulala amusikire.
9 Let his children be fatherless, and his wife a widow.
Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe, ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10 Let his children be vagabonds, and beg; and let them seek their bread out of their desolate places.
Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza; bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11 Let the creditor distrain all that he hath; and let strangers make spoil of his labour.
Amubanja ajje awambe ebibye byonna; n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12 Let there be none to extend kindness unto him; neither let there be any to be gracious unto his fatherless children.
Waleme kubaawo amusaasira, wadde akolera abaana be ebyekisa.
13 Let his posterity be cut off; in the generation following let their name be blotted out.
Ezzadde lye lizikirizibwe, n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 Let the iniquity of his fathers be brought to remembrance unto the LORD; and let not the sin of his mother be blotted out.
Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be; n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 Let them be before the LORD continually, that He may cut off the memory of them from the earth.
Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo, n’ensi ebeerabirire ddala.
16 Because that he remembered not to do kindness, but persecuted the poor and needy man, and the broken in heart he was ready to slay.
Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa; naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga, n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17 Yea, he loved cursing, and it came unto him; and he delighted not in blessing, and it is far from him.
Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18 He clothed himself also with cursing as with his raiment, and it is come into his inward parts like water, and like oil into his bones.
Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo, ne kumutobya ng’amazzi, ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19 Let it be unto him as the garment which he putteth on, and for the girdle wherewith he is girded continually.'
Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde, era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20 This would mine adversaries effect from the LORD, and they that speak evil against my soul.
Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa, era abanjogerako eby’akabi ebyereere.
21 But Thou, O GOD the Lord, deal with me for Thy name's sake; because Thy mercy is good, deliver Thou me.
Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange, nnwanirira olw’erinnya lyo; era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22 For I am poor and needy, and my heart is wounded within me.
Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga, n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23 I am gone like the shadow when it lengtheneth; I am shaken off as the locust.
Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi; mmansuddwa eri ng’enzige.
24 My knees totter through fasting; and my flesh is lean, and hath no fatness.
Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba; omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25 I am become also a taunt unto them; when they see me, they shake their head.
Abandoopaloopa bansekerera; bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.
26 Help me, O LORD my God; O save me according to Thy mercy;
Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange! Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27 That they may know that this is Thy hand; that Thou, LORD, hast done it.
Baleke bategeere nti ggwe okikoze, n’omukono gwo Ayi Mukama.
28 Let them curse, but bless Thou; when they arise, they shall be put to shame, but Thy servant shall rejoice.
Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa! Leka abannumbagana baswale, naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29 Mine adversaries shall be clothed with confusion, and shall put on their own shame as a robe.
Abandoopa baswazibwe, n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.
30 I will give great thanks unto the LORD with my mouth; yea, I will praise Him among the multitude;
Nneebazanga Mukama n’akamwa kange; nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.
31 Because He standeth at the right hand of the needy, to save him from them that judge his soul.
Kubanga alwanirira omunaku ali mu kwetaaga, n’amuwonya abo abaagala afe.

< Psalms 109 >