< Jeremiah 12 >

1 Right wouldest Thou be, O LORD, were I to contend with Thee, yet will I reason with Thee: Wherefore doth the way of the wicked prosper? Wherefore are all they secure that deal very treacherously?
Bulijjo oba mutuukirivu, Ayi Mukama Katonda, bwe nkuleetera ensonga yange. Noolwekyo nnaaleeta ensonga yange gy’oli. Lwaki abakozi b’ebibi baba mu kwesiima? Lwaki abalimbalimba bonna baba mu bulamu obw’emirembe?
2 Thou hast planted them, yea, they have taken root; they grow, yea, they bring forth fruit; Thou art near in their mouth, and far from their reins.
Wabasimba, emirandira ne ginywera, bakula ne baleeta ebibala. Tova ku mimwa gyabwe bulijjo wadde ng’oliwala n’emitima gyabwe.
3 But Thou, O LORD, knowest me, Thou seest me, and triest my heart toward Thee; pull them out like sheep for the slaughter, and prepare them for the day of slaughter.
Ate ng’ommanyi Ayi Mukama Katonda, ondaba era otegeera bye nkulowoozaako. Sika otwale abasajja bano ababi ng’endiga ezigenda okuttibwa. Bategekere olunaku lwe balisanjagirwako.
4 How long shall the land mourn, and the herbs of the whole field wither? For the wickedness of them that dwell therein, the beasts are consumed, and the birds; because they said: 'He seeth not our end.'
Ensi erikoma ddi okwonooneka, n’omuddo mu buli nnimiro okukala? Kubanga abo abali mu nsi bakozi ba bibi, ensolo n’ebinyonyi bizikiridde, kubanga abantu bagamba nti, “Katonda taalabe binaatutuukako.”
5 'If thou hast run with the footmen, and they have wearied thee, then how canst thou contend with horses? And though in a land of peace thou art secure, yet how wilt thou do in the thickets of the Jordan?
“Bw’oba owakana n’abaddusi b’embiro n’oggwaamu amaanyi oyinza otya okudduka n’embalaasi? Obanga mu nsi entereevu weesitadde n’ogwa bugwi, onoosobolayo otya mu nsiko y’oku Yoludaani?
6 For even thy brethren, and the house of thy father, even they have dealt treacherously with thee, even they have cried aloud after thee; believe them not, though they speak fair words unto thee.'
Ne baganda bo n’ab’omu nnyumba ya kitaawo nabo bennyini bakwefuukidde, beegasse ku abo abawowoggana nga bakulangiriza. Tobeesiga wadde nga bakwogerako bulungi.”
7 I have forsaken My house, I have cast off My heritage; I have given the dearly beloved of My soul into the hand of her enemies.
“Njabulidde ennyumba yange, ne ndeka omugabo gwange; mpaddeyo abo emmeeme yange b’eyagala, mu mikono gy’abalabe baabwe.
8 My heritage is become unto Me as a lion in the forest; she hath uttered her voice against Me; therefore have I hated her.
Abantu bange be nalonda banfuukidde ng’empologoma eri mu kibira; empulugumira, noolwekyo mbakyaye.
9 Is My heritage unto Me as a speckled bird of prey? Are the birds of prey against her round about? Come ye, assemble all the beasts of the field, bring them to devour.
Abantu bange be nalonda tebanfuukidde ng’ennyonyi erya ginnaazo ey’amabala, ebinyonyi ebirala ebirya binaabyo gye bizingiza ne bigirumba? Mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez’omu nsiko muzireete zirye.
10 Many shepherds have destroyed My vineyard, they have trodden My portion under foot, they have made My pleasant portion a desolate wilderness.
Abasumba bangi boonoonye ennimiro yange ey’emizabbibu, balinnyiridde ennimiro yange, ensi yange ennungi bagirese njereere.
11 They have made it a desolation, it mourneth unto Me, being desolate; the whole land is made desolate, because no man layeth it to heart.
Eyonooneddwa efuuse ddungu esigadde awo ng’enkaabirira. Ensi yonna efuuse matongo kubanga tewali muntu n’omu agifaako.
12 Upon all the high hills in the wilderness spoilers are come; for the sword of the LORD devoureth from the one end of the land even to the other end of the land, no flesh hath peace.
Abanyazi bazze batuuse ku nsozi zonna ez’omu ddungu, kubanga ekitala kya Mukama kijja kulya okuva ku nsonda emu ey’ensi okutuuka ku ndala, awataliiwo n’omu kuwona.
13 They have sown wheat, and have reaped thorns; they have put themselves to pain, they profit not; be ye then ashamed of your increase, because of the fierce anger of the LORD.
Basize eŋŋaano, ne bakungula amaggwa. Bakooyedde bwereere ne bataba na kebaggyamu. Bakwatiddwa ensonyi olw’ebibala bye bakunguddeyo, kubanga ebyo Mukama y’abikoze olw’obusungu bwe obungi.”
14 Thus saith the LORD: As for all Mine evil neighbours, that touch the inheritance which I have caused My people Israel to inherit, behold, I will pluck them up from off their land, and will pluck up the house of Judah from among them.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ebikwata ku baliraanwa bange ababi nga bifa ku mugabo gwe nawa abantu bange Isirayiri okuba ogwabwe, laba ndibasiguukulula okuva mu nsi yaabwe, era ndiggya ennyumba ya Yuda mu bo.
15 And it shall come to pass, after that I have plucked them up, I will again have compassion on them; and I will bring them back, every man to his heritage, and every man to his land.
Naye nga mmaze okubasiguukululamu, ndibakwatirwa ekisa ne mbakomyawo buli omu eri omugabo gwe mu nsi ye.
16 And it shall come to pass, if they will diligently learn the ways of My people to swear by My name: 'As the LORD liveth,' even as they taught My people to swear by Baal; then shall they be built up in the midst of My people.
Era nga bwe bayigiriza abantu bange okulayirira mu linnya lya Baali bwe batyo balikwatira ddala empisa z’abantu bange, okulayirira mu linnya lyange nga boogera nti, ‘Nga Mukama bw’ali omulamu,’ olwo balizimbibwa wakati mu bantu bange.
17 But if they will not hearken, then will I pluck up that nation, plucking up and destroying it, saith the LORD.
Naye eggwanga bwe litalissaayo mwoyo, ndirisiguukulula ne ndisaanyizaawo ddala,” bw’ayogera Mukama.

< Jeremiah 12 >