< Hosea 12 >

1 Ephraim striveth after wind, and followeth after the east wind; all the day he multiplieth lies and desolation; and they make a covenant with Assyria, and oil is carried into Egypt.
Efulayimu alya mpewo; agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna, era bongera ku bulimba ne ku ttemu. Bakola endagaano n’Obwasuli, n’aweereza n’amafuta e Misiri.
2 The LORD hath also a controversy with Judah, and will punish Jacob according to his ways, according to his doings will He recompense him.
Mukama alina ensonga ne Yuda, era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri. Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
3 In the womb he took his brother by the heel, and by his strength he strove with a godlike being;
Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro, ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
4 So he strove with an angel, and prevailed; he wept, and made supplication unto him; at Beth-el he would find him, and there he would speak with us;
Yameggana ne malayika n’amuwangula, n’akaaba n’amwegayirira. Yamusisinkana e Beseri, n’ayogera naye.
5 But the LORD, the God of hosts, the LORD is His name.
Mukama Katonda ow’Eggye, Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
6 Therefore turn thou to thy God; keep mercy and justice, and wait for thy God continually.
Naye oteekwa okudda eri Katonda wo; kuuma okwagala n’obwenkanya, olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.
7 As for the trafficker, the balances of deceit are in his hand. He loveth to oppress.
Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba, era anyumirwa okukumpanya.
8 And Ephraim said: 'Surely I am become rich, I have found me wealth; in all my labours they shall find in me no iniquity that were sin.'
Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti, “Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi. Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi wadde okwonoona kwonna.”
9 But I am the LORD thy God from the land of Egypt; I will yet again make thee to dwell in tents, as in the days of the appointed season.
Nze Mukama Katonda wo, eyakuggya mu Misiri; ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate, nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
10 I have also spoken unto the prophets, and I have multiplied visions; and by the ministry of the prophets have I used similitudes.
Nayogera eri bannabbi, ne mbawa okwolesebwa kungi, ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
11 If Gilead be given to iniquity becoming altogether vanity, in Gilgal they sacrifice unto bullocks; yea, their altars shall be as heaps in the furrows of the field.
Gireyaadi butali butuukirivu era n’abantu baamu butaliimu. Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka, era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
12 And Jacob fled into the field of Aram, and Israel served for a wife, and for a wife he kept sheep.
Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu; Isirayiri yaweereza okufuna omukazi, era okumufuna yalundanga ndiga.
13 And by a prophet the LORD brought Israel up out of Egypt, and by a prophet was he kept.
Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri, era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
14 Ephraim hath provoked most bitterly; therefore shall his blood be cast upon him, and his reproach shall his Lord return unto him.
Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza, Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa, n’amusasula olw’obunyoomi bwe.

< Hosea 12 >