< Genesis 16 >

1 Now Sarai Abram's wife bore him no children; and she had a handmaid, an Egyptian, whose name was Hagar.
Salaayi mukyala wa Ibulaamu yali teyamuzaalira mwana;
2 And Sarai said unto Abram: 'Behold now, the LORD hath restrained me from bearing; go in, I pray thee, unto my handmaid; it may be that I shall be builded up through her.' And Abram hearkened to the voice of Sarai.
Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Laba Mukama tampadde mwana; weebake n’omuweereza wange, oboolyawo nnyinza okufuna abaana mu ye.” Awo Ibulaamu n’awulira eddoboozi lya Salaayi.
3 And Sarai Abram's wife took Hagar the Egyptian, her handmaid, after Abram had dwelt ten years in the land of Canaan, and gave her to Abram her husband to be his wife.
Bw’atyo Ibulaamu bwe yali yaakamala emyaka kkumi mu nsi ya Kanani, Salaayi mukazi we n’addira Agali Omumisiri, omuweereza we n’amuwa Ibulaamu abeere mukazi we.
4 And he went in unto Hagar, and she conceived; and when she saw that she had conceived, her mistress was despised in her eyes.
Ibulaamu ne yeegatta ne Agali, Agali n’aba olubuto. Agali bwe yalaba ng’ali lubuto, n’anyooma Salaayi, mugole we.
5 And Sarai said unto Abram: 'My wrong be upon thee: I gave my handmaid into thy bosom; and when she saw that she had conceived, I was despised in her eyes: the LORD judge between me and thee.'
Salaayi n’agamba Ibulaamu nti, “Ekibi ekinkoleddwako kibeere ku ggwe. Nakuwa omuweereza wange mu kifuba kyo naye bw’alabye ng’ali lubuto n’annyooma. Mukama atulamule nze naawe!”
6 But Abram said unto Sarai: 'Behold, thy maid is in thy hand; do to her that which is good in thine eyes.' And Sarai dealt harshly with her, and she fled from her face.
Naye Ibulaamu n’agamba Salaayi nti, “Laba, omuweereza wo ali mu buyinza bwo; mukole nga bw’oyagala.” Awo Salaayi natandika okubonyaabonya Agali; Agali n’adduka okuva w’ali.
7 And the angel of the LORD found her by a fountain of water in the wilderness, by the fountain in the way to Shur.
Malayika wa Mukama n’amusanga ku nsulo y’amazzi mu ddungu, ensulo y’amazzi eri ku kkubo eriraga e Ssuuli.
8 And he said: 'Hagar, Sarai's handmaid, whence camest thou? and whither goest thou?' And she said: 'I flee from the face of my mistress Sarai.'
N’agamba nti, “Agali, omuweereza wa Salaayi, ovudde wa era ogenda wa?” N’amuddamu nti, “Nziruka mugole wange Salaayi.”
9 And the angel of the LORD said unto her: 'Return to thy mistress, and submit thyself under her hands.'
Malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Ddayo eri mugole wo omugondere.”
10 And the angel of the LORD said unto her: 'I will greatly multiply thy seed, that it shall not be numbered for multitude.
Era Malayika n’amugamba nti, “Ezadde lyo ndiryaza waleme kubeerawo asobola kulibala.”
11 And the angel of the LORD said unto her: 'Behold, thou art with child, and shalt bear a son; and thou shalt call his name Ishmael, because the LORD hath heard thy affliction.
Ate malayika wa Mukama n’amugamba nti, “Laba, olina omwana mu nda yo, aliba wabulenzi, olimutuuma Isimayiri, kubanga Mukama ategedde okubonaabona kwo.
12 And he shall be a wild ass of a man: his hand shall be against every man, and every man's hand against him; and he shall dwell in the face of all his brethren.'
Aliba ng’entulege, anaalwananga na buli muntu era na buli muntu anaalwananga naye, era anaabanga mu bulabe ne baganda be.”
13 And she called the name of the LORD that spoke unto her, Thou art a God of seeing; for she said: 'Have I even here seen Him that seeth Me?'
Awo n’akoowoola erinnya lya Mukama eyayogera naye, n’agamba nti, “Oli Katonda alaba”, kubanga yagamba nti, “Ndabidde ddala Katonda ne nsigala nga ndi mulamu nga maze okumulaba.”
14 Wherefore the well was called 'Beer-lahai-roi; behold, it is between Kadesh and Bered.
Oluzzi kye lwava luyitibwa Beerirakayiro, luli wakati wa Kadesi ne Beredi.
15 And Hagar bore Abram a son; and Abram called the name of his son, whom Hagar bore, Ishmael.
Awo Agali n’azaalira Ibulaamu omwana owoobulenzi, Ibulaamu n’atuuma mutabani wa Agali gwe yamuzaalira, erinnya Isimayiri.
16 And Abram was fourscore and six years old, when Hagar bore Ishmael to Abram.
Ibulaamu yali wa myaka kinaana mu mukaaga Agali bwe yamuzaalira Isimayiri.

< Genesis 16 >