< 2 Samuel 10 >

1 After this, the King of the children of Ammon dyed, and Hanun his sonne reigned in his steade.
Mu kiseera ekyo kabaka w’abaana ba Amoni n’afa, mutabani we Kamuni n’amusikira.
2 Then sayde Dauid, I will shewe kindnesse vnto Hanun the sonne of Nahash, as his father shewed kindnesse vnto me. And Dauid sent his seruantes to comfort him for his father. So Dauids seruants came into the lande of the children of Ammon.
Dawudi n’alowooza nga kyandibadde kirungi, okumukolera ebyekisa nga kitaawe bwe yali akoze. Awo Dawudi n’amutumira ekibinja okugenda okumukubagiza olw’okufa kwa kitaawe. Abasajja ba Dawudi bwe baatuuka mu nsi ey’Abamoni,
3 And the princes of the children of Ammon sayde vnto Hanun their lorde, Thinkest thou that Dauid doth honour thy father, that he hath sent comforters to thee? hath not Dauid rather sent his seruants vnto thee, to search the citie, and to spie it out, and to ouerthrow it?
abakungu ba Amoni ne bagamba Kamuni mukama waabwe nti, “Olowooza nga Dawudi okukuweereza ababaka okukubagiza, aba assaamu kitaawo kitiibwa? Olowooza nga Dawudi tabasindise okujja okulawuna n’okuketta ekibuga n’okukiwamba?”
4 Wherefore Hanun tooke Dauids seruants, and shaued off the halfe of their beard, and cut off their garments in the middle, euen to their buttockes, and sent them away.
Awo Kamuni n’akwata abasajja ba Dawudi n’abamwako ekitundu ky’ebirevu byabwe n’abasalira ebyambalo byabwe wakati okukoma ku manyuma gaabwe, n’abagoba baddeyo ewaabwe.
5 When it was told vnto Dauid, he sent to meete them (for the men were exceedingly ashamed) and the King sayde, Tary at Iericho, vntill your beards be growen, then returne.
Dawudi bwe yategeezebwa ebyo, n’atumira abasajja be ababaka, kubanga baali mu buswavu bungi, n’abagamba nti, “Musigale e Yeriko ebirevu byammwe bimale okukula mulyoke mukomewo.”
6 And when the children of Ammon sawe that they stanke in the sight of Dauid, the children of Ammon sent and hired the Aramites of the house of Rehob, and the Aramites of Zoba, twentie thousande footemen, and of King Maacah a thousand men, and of Ish-tob twelue thousande men.
Awo Abamoni bwe bategeera nga Dawudi bamufuukidde ekyenyinyalwa, ne bapangisa abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo ebiri okuva e Besukekobu n’e Zoba, n’abalala abasajja lukumi okuva ewa kabaka w’e Maaka, n’abalala omutwalo gumu mu enkumi bbiri okuva e Tobu.
7 And when Dauid heard of it, he sent Ioab, and all the hoste of the strong men.
Dawudi olwawulira ebyo, n’asindika Yowaabu n’eggye lyonna ery’abasajja abalwanyi abazira.
8 And the children of Ammon came out, and put their armie in araye at the entring in of the gate: and the Aramites of Zoba, and of Rehob, and of Ish-tob, and of Maacah were by themselues in the fielde.
Abamoni ne bavaayo ne basimba ennyiriri awayingirirwa mu wankaaki w’ekibuga kyabwe, Abasuuli ab’e Zoba n’ab’e Lekobu, n’abasajja ab’e Tobu n’e Maaka bo ne babeera mu ttale.
9 When Ioab saw that the front of the battel was against him before and behinde, he chose of all the choyse of Israel, and put them in aray against the Aramites.
Awo Yowaabu bwe yalaba ng’olutalo lumutaayizza mu maaso n’emabega, n’alondamu abasajja abazira mu Isirayiri, n’abasindika batabaale Abasuuli.
10 And the rest of the people hee deliuered into the hande of Abishai his brother, that hee might put them in aray against the children of Ammon.
Abaasigalawo n’abakwasa Abisaayi muganda we okubaduumira, n’abasindika batabaale Abamoni.
11 And he sayde, If the Aramites be stronger then I, thou shalt helpe me, and if the children of Ammon be too strong for thee, I will come and succour thee.
Yowaabu n’agamba muganda we nti, “Bwe munaalaba Abasuuli nga batuyitiridde amaanyi, munajja ne mutubeera. Abamoni bwe banaabayinga amaanyi, tunajja ne tubabeera.
12 Be strong and let vs be valiant for our people, and for the cities of our God, and let the Lord do that which is good in his eyes.
Tuddemu amaanyi tulwane masajja olw’abantu baffe, n’olw’ebibuga bya Katonda waffe. Mukama akole nga bw’asiima.”
13 Then Ioab, and the people that was with him, ioyned in battel with the Aramites, who fled before him.
Awo Yowaabu n’abasajja abaali naye ne bambuka okutabaala Abasuuli, Abasuuli ne babadduka.
14 And when the children of Ammon sawe that the Aramites fled, they fled also before Abishai, and entred into the citie. so Ioab returned from the children of Ammon, and came to Ierusalem.
Abamoni bwe baalaba nga Abasuuli badduse, nabo ne badduka Abisaayi, ne bayingira mu kibuga. Yowaabu n’alekeraawo okulwana n’Abamoni, n’addayo e Yerusaalemi.
15 And when the Aramites sawe that they were smitten before Israel, they gathered them together.
Awo Abasuuli bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beekuŋŋaanya.
16 And Hadarezer sent, and brought out the Aramites that were beyond the Riuer: and they came to Helam, and Shobach the captaine of the hoste of Hadarezer went before them.
Kadadezeri n’atumya Abasuuli okuva emitala w’Omugga Fulaati, ne bagenda e Keramu nga bakulembeddwamu Sobaki omuduumizi w’eggye lya Kadadezeri.
17 When it was shewed Dauid, then he gathered all Israel together, and passed ouer Iorden and came to Helam: and the Aramites set themselues in aray against Dauid, and fought with him:
Awo Dawudi bwe yakiwulira, n’akuŋŋaanya Isirayiri yenna n’asomoka Yoludaani n’agenda e Keramu. Abasuuli ne basimba ennyiriri okwolekera Dawudi balwane naye.
18 And the Aramites fled before Israel: and Dauid destroyed seuen hundreth charets of the Aramites, and fourtie thousande horsemen, and smote Shobach the captaine of his hoste, who dyed there.
Naye ne badduka mu maaso ga Isirayiri, Dawudi n’atta abasajja lusanvu ku bavuzi b’amagaali g’embalaasi, era n’emitwalo ena ku beebagala embalaasi, n’afumita ne Sobaki omuduumizi w’eggye lyabwe n’afiirawo.
19 And when all the Kings, that were seruants to Hadarezer, saw that they fell before Israel, they made peace with Israel, and serued them. and the Aramites feared to helpe the children of Ammon any more.
Awo bakabaka bonna abaali abaddu ba Kadadezeri bwe baalaba nga bawanguddwa Isirayiri, ne beeweerayo ddala eri Abayisirayiri, era ne babawanga n’obusuulu. Awo Abasuuli ne batya okuddamu okuyamba Abamoni.

< 2 Samuel 10 >