< 2 Timothy 2 >

1 So then, my son, grow strong in the grace of Christ Jesus.
Noolwekyo mwana wange nywereranga mu kisa ekiri mu Kristo Yesu.
2 Take what you heard me say in front of many witnesses and share it with those who are trustworthy, who then can teach others as well.
Ebyo bye wawulira nga njogera mu maaso g’abajulirwa abangi biyigirizenga abantu abeesigwa, abalisobola okubiyigiriza abalala.
3 Suffer together with me like a good soldier of Christ Jesus.
Naawe bonaabonanga ng’omuserikale omulungi owa Kristo Yesu.
4 A soldier on active duty doesn't get caught up in the business of everyday life. He wants to please the one who enlisted him.
Tewali muserikale ng’ali ku lutalo eyeeyingiza mu mitawaana gy’abantu abaabulijjo, alyoke asiimibwe oyo eyamuwandiika.
5 Similarly athletes who compete in the games don't win a prize if they don't keep to the rules.
Omuntu yenna eyeetaba mu mizannyo gy’empaka, taweebwa buwanguzi bw’atagoberera biragiro bya mizannyo egyo.
6 The farmer that does all the hard work should be the first to benefit from the crop.
Omulimi ategana ennyo y’asaanira okufuna ku bibala ebibereberye.
7 Think about what I'm telling you. The Lord will help you to understand all this.
Kale lowooza ku bye ŋŋamba; Mukama ajja kukuwa okutegeera byonna.
8 Focus your mind on Jesus Christ, a descendant of David, who was raised from the dead. This is my good news,
Jjukira nga Yesu Kristo ow’omu zzadde lya Dawudi yazuukira mu bafu ng’Enjiri gye ntegeeza bw’egamba.
9 and I'm suffering imprisonment because of it as if I were a criminal—but the word of God is not imprisoned.
Olw’Enjiri eyo, kyenva mbonaabona n’ensibibwa ng’omukozi w’ebibi. Naye ekigambo kya Katonda kyo tekisibiddwa.
10 Despite all this I'm willing to keep on going for the sake of God's people so that they may gain the salvation of Christ Jesus that is eternal glory. (aiōnios g166)
Kyenva ngumira ebintu byonna olw’abalonde nabo balyoke balokolebwe era bafune, n’ekitiibwa ekitaggwaawo ekiri mu Kristo Yesu. (aiōnios g166)
11 This is a trustworthy saying: “If we died with him, we will also live with him;
Ekigambo kino kyesigwa ekigamba nti: “Obanga twafiira wamu naye, era tulibeera balamu wamu naye.
12 if we keep going, we will also reign with him; if we deny him, he will also deny us.
Obanga tugumiikiriza awamu naye, era tulifugira wamu naye. Obanga tumwegaana era naye alitwegaana.
13 If we are not trustworthy, he is still trustworthy, for he cannot be untrue to himself.”
Ffe bwe tutaba beesigwa, ye aba mwesigwa, kubanga teyeewakanya.”
14 This is what you should remind people about, telling them before God that they shouldn't have meaningless arguments over words. To do this only harms those who listen.
Ebyo bijjukizenga abantu ng’obakuutirira mu maaso ga Katonda, beewalenga okuwakana okutalina mugaso, nga bakyamya abo abawuliriza.
15 Make sure you work hard so you can present yourself to God and gain his approval. Be a worker that doesn't need to be embarrassed, using the word of truth correctly.
Fubanga okweraga ng’osiimibwa Katonda, ng’oli mukozi akola ebitakuswaza, era nga weekuumira mu kkubo ery’obubaka obw’amazima.
16 Avoid pointless chatter because people who do this are heading away from God.
Weewalenga ebigambo ebinyooma era ebitaliimu nsa, kubanga abantu bibongera bwongezi mu butatya Katonda.
17 Their teachings are as destructive as gangrene that destroys healthy flesh. Hymenaeus and Philetus are like this.
Era ebigambo byabwe birisaasaana nga kookolo; mu abo mwe muli Kumenayo ne Fireeto,
18 They have deviated from the truth by saying that the resurrection has already happened, which has ruined some people's trust in God.
abaakyama ne bava ku mazima, nga bagamba nti okuzuukira kwabaawo dda, era waliwo abamu be bakyamizza.
19 But God's solid, trustworthy foundation stone stands firm, with this inscription, “The Lord knows those who belong to him,” and “Everyone who calls on the name of the Lord should stay away from all that is evil.”
Kyokka omusingi Katonda gwe yateekawo mugumu, era gulina akabonero kano: “Mukama amanyi ababe.” Era nti: “Buli ayatula erinnya lya Mukama ave mu butali butuukirivu.”
20 A stately home doesn't just have cups and bowls made of gold and silver. It also has ones made from wood and clay. Some are made for special use; others for more commonplace functions.
Mu nnyumba ennene temubaamu bintu bya zaabu na ffeeza byokka, naye mubaamu n’eby’emiti, era n’eby’ebbumba. Ebimu bikozesebwa emirimu egy’ekitiibwa, n’ebirala egitali gya kitiibwa.
21 So if you get rid of what is evil, you will become a cup or bowl that is holy and special, useful to the Lord, ready to do all that's good.
Noolwekyo buli eyeewala ebintu ebyo ebitali bya kitiibwa anaabanga ow’ekitiibwa, atukuziddwa, asaanira okukozesebwa mukama we, olw’omulimu omulungi.
22 Run away from anything that fires up the desires of youth. Run after what is right and trustworthy, run after love and peace along with those who are true and pure Christians.
Naye ddukanga okwegomba okubi okw’ekivubuka, ogobererenga obutuukirivu, n’okukkiriza, n’okwagalana era n’emirembe awamu n’abo abasaba Mukama n’omutima omulongoofu.
23 Avoid foolish and childish debates, for you know they only lead to fights.
Weewalenga empaka ez’obusirusiru, ezitaliimu magezi, kubanga omanyi nti zivaamu okulwana.
24 For the Lord's minister must not fight, but be kind to everyone, able to teach, patient,
Omuddu wa Mukama tasaana kulwana, wabula okuba omukkakkamu eri bonna, n’okuba omuyigiriza omulungi agumiikiriza,
25 gently correcting opponents. Perhaps God may help them to come to repent and to understand the truth.
era aluŋŋamya n’obwetoowaze abo abamuwakanya, oboolyawo Katonda alibawa okwenenya, ne bamanya amazima,
26 In this way they may come to their senses and escape the devil's trap. For he has captured them and made them do whatever he wants.
ne bava mu mutego gwa Setaani gwe baguddemu abakozese by’ayagala, ne badda engulu mu kutegeera kwabwe.

< 2 Timothy 2 >