< 1 Thessalonians 4 >

1 A few more things: Brothers and sisters, we plead with you and urge you in the Lord Jesus to behave in ways that please God, just as we instructed you. Of course you're already doing this, just do it more and more!
Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo.
2 You remember the instructions we gave you on behalf of the Lord Jesus.
Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.
3 What God wants is for you to live holy lives. So stay away from sexual immorality
Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi,
4 in order that each of you may control yourselves in a way that is holy and respectful,
buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa,
5 not indulging passionate lust like the heathen who have no knowledge of God.
so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola.
6 Don't cheat or take advantage of another Christian in these matters, for the Lord is the one who executes justice in all such things, as we've already clearly explained to you, and warned you about.
Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa.
7 For God did not call us to live impure lives, but holy lives.
Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa.
8 So anyone who rejects this position isn't just rejecting what a human being is saying; they are rejecting God, who gives his Holy Spirit to you.
Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.
9 We certainly don't need to write and tell you to love fellow believers, because God teaches you to love one another—
Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.
10 and in fact you are demonstrating this love to all the believers throughout Macedonia. Even so we want to encourage you, brothers and sisters, to love more and more.
Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga.
11 Try to live a quiet life, minding your own business, doing your own work, as we've already explained to you,
Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira,
12 so that your way of life may be respected by non-Christians and you won't have to rely on anyone to provide what you need.
mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.
13 We don't want you to be confused about what happens when people die, brothers and sisters, so that you won't grieve like others who don't have any hope.
Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi.
14 Since we're convinced that Jesus died and rose again, we're also sure that God will bring with Jesus those who have died trusting in him.
Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu.
15 What we're telling you comes from the Lord: those of us who are alive and still here when the Lord comes certainly won't precede those who have died.
Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa.
16 For the Lord himself will come down from heaven with a commanding shout, with the cry of the archangel, and with the sound of God's trumpet, and those who have died in Christ will rise first.
Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira,
17 Then those of us who are alive and still here will be carried up together with them into the clouds, and we shall meet the Lord in the air. Then we will be with the Lord forever!
naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.
18 So encourage one another with these words.
Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.

< 1 Thessalonians 4 >