< 1 Corinthians 16 >

1 Now about “collecting money for fellow-believers.” I'm giving you the same instructions for you to follow as I did to the churches in Galatia.
Kale ebyo ebikwata ku kuyamba abantu ba Katonda, mmwe mukole nga bwe nagamba ab’Ekkanisa z’e Ggalatiya.
2 On the first day of the week everybody should set aside some money you've earned. I don't want there to be any collections to have to be made when I'm with you.
Buli omu ku mmwe ng’asinziira ku kufuna kwe mu wiiki, abengako ky’atereka, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize.
3 When I get there I will write recommendation letters for whoever you choose, and they will take your donation to Jerusalem.
Kale bwe ndituuka ne mutuma abo be munaasiima ne mbawa ebbaluwa ne batwala ebirabo byammwe e Yerusaalemi.
4 If it works out for me to go too, they can come with me.
Naye bwe kirirabika nga nange nsaanye ŋŋende, kale balimperekerako.
5 After I've been to Macedonia, I plan to come and visit you. I pass that way through Macedonia
Ŋŋenda kujja gye muli nga mpitira e Makedoniya, gye ndimala akabanga akatono.
6 and I may stay with you for a while, perhaps spend the winter, and then you can send me on my way to wherever I'm headed.
Osanga ewammwe gye ndimala ebbanga eriwera, oboolyawo ndiba nammwe mu biseera eby’obutiti byonna, mulyoke munnyambe buli gye nnaalaganga.
7 This time I don't want to come and see you for just a short time. I hope I can stay for a while with you, if that's what the Lord permits.
Saagala kubalabako kaseera katono, nsuubira okumala nammwe ekiseera, Mukama waffe bw’alisiima.
8 However, I will stay on at Ephesus until Pentecost,
Kyokka ŋŋenda kubeera mu Efeso okutuusa ku Pentekoote.
9 because a tremendous door of opportunity has opened up for me there, though there are plenty who oppose me.
Kubanga ddala oluggi lw’Enjiri lunziguliddwawo, newaakubadde ng’eriyo bangi abampakanya.
10 Now if Timothy arrives, make sure that he has nothing to fear by being with you, for he's working for the Lord just as I am.
Timoseewo bw’ajjanga, mumuyambe atereere bulungi mu mmwe, kubanga naye akola omulimu gwa Mukama waffe nga nze.
11 Don't let anyone look down on him. Cheerfully send him on his way so he can come and see me—the brothers and sisters and I are waiting for him.
Noolwekyo waleme kubaawo amunyooma. Mumuyambe olugendo lwe lube lwa mirembe, ajje gye ndi. Kubanga nze n’abooluganda tumulindiridde.
12 As for our brother Apollos: I urged him to go and see you together with the other believers, but he wasn't willing to go at the moment. He'll come and visit when he gets the chance.
Naye ebyo ebikwata ku wooluganda Apolo, namwegayirira nnyo ajje gye muli, ng’ali n’abooluganda abalala, kyokka ye n’atayagala kujja kaakano, wabula alijja ng’afunye ebbanga.
13 Stay alert. Stand firm in your trust in God. Take courage. Be strong.
Mutunulenga, munywerere mu kukkiriza, mubeere bazira era ab’amaanyi.
14 Whatever you do, do it in love.
Buli kye mukola mukikolerenga mu kwagala.
15 You know that Stephanas and his family were among the first converts in Achaia, and they dedicated themselves to helping God's people. I'm pleading with you, my brothers and sisters,
Abooluganda, mumanyi nti mu Akaya ab’omu nnyumba ya Suteefana be baasooka okukkiriza Mukama waffe, era beewaayo okuyamba n’okuweereza abantu ba Katonda. Kale, abooluganda, mbasaba
16 to respect their leadership, and everyone who helps the work with such dedication.
muwulirenga abantu ng’abo, era na buli omu afube okukoleranga awamu nabo.
17 I'm delighted that Stephanas, Fortunatas, and Achaicus have arrived here, for they did what you weren't able to.
Suteefana ne Folutunaato ne Akayiko bwe bajja gye ndi nasanyuka, kubanga baaliwo mu kifo kyammwe.
18 They have been a great source of encouragement to me, and to you. People like that deserve your recognition.
Era bansanyusa, era nga nammwe bwe baabasanyusa. Abantu ng’abo musaana mubalage nga bwe musiimye okuweereza kwabwe.
19 The churches of Asia send their greetings. Aquila and Priscilla, along with the church that meets in their home, send their best wishes.
Ekkanisa ey’omu Asiya ebalamusizza. Akula ne Pulisikira awamu n’Ekkanisa ya Kristo eri mu maka gaabwe babalamusizza nnyo mu Mukama waffe.
20 All the brothers and sisters here send their greetings. Greet one another affectionately.
Era abooluganda bonna babalamusizza. Mulamusagane mu n’okunywegera okutukuvu.
21 I Paul write this greeting with my own hand.
Nze, Pawulo, mbaweereza okulamusa kwange kuno, kwe mpandiika nze nzennyini n’omukono gwange.
22 Anyone who doesn't love the Lord should be excluded from the church. Come Lord!
Obanga waliwo atayagala Mukama, akolimirwe. Mukama waffe Yesu, jjangu!
23 May the grace of our Lord Jesus Christ be with you.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.
24 My love to all of you in Christ Jesus. Amen.
Mwenna mbalamusizza n’okwagala mu Kristo Yesu. Amiina.

< 1 Corinthians 16 >