< 1 Chronicles 9 >

1 All of the people of Israel were recorded in the genealogies written down in the book of the kings of Israel. The people of Judah were taken away to captivity in Babylon because they had been unfaithful.
Eggwanga lyonna erya Isirayiri lyabalibwa ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali era ne bawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo bya bassekabaka ba Isirayiri. Olw’okukola ebibi mu maaso ga Mukama, abantu ba Yuda nabo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse.
2 The first to return and reclaim their property and live in their towns were some Israelites, priests, Levities, and Temple servants.
Abaasooka okubeera ewaabwe mu bibuga byabwe be baali Abayisirayiri abamu, ne bakabona, n’Abaleevi, n’abalala abaaweerezanga mu yeekaalu.
3 Some from the tribes of Judah, Benjamin, Ephraim, and Manasseh returned to live in Jerusalem. They included:
Abamu ku abo abaabeeranga mu Yerusaalemi nga bava mu Yuda, ne Benyamini, ne Efulayimu ne Manase baali:
4 Uthai son of Ammihud, son of Omri, son of Imri, son of Bani, a descendant of Perez, son of Judah.
Usayi mutabani wa Ammikudi, muzzukulu wa Omuli, muzzukulu wa Imuli, muzzukulu wa Bani, muzzukulu wa Pereezi, mutabani wa Yuda.
5 From the Shilonites: Asaiah (firstborn) and his sons.
Ku Basiiro, Asaya omuggulanda mu nnyumba ye, wamu ne batabani be.
6 From the Zerahites: Jeuel and relatives totaled 690.
Ku bazzukulu ba Zeera, Yeweri n’ab’omu kika kye okuva mu Yuda abantu lukaaga mu kyenda.
7 From the Benjamites: Sallu son of Meshullam, son of Hodaviah, son of Hassenuah;
Ku bazzukulu ba Benyamini, Sallu mutabani wa Mesullamu, muzzukulu wa Kodaviya, muzzukulu wa Kassenuwa,
8 Ibneiah son of Jeroham; Elah son of Uzzi, son of Micri; and Meshullam son of Shephatiah, son of Reuel, son of Ibnijah.
ne Ibuneya mutabani wa Yerokamu, ne Era mutabani wa Uzzi, muzzukulu wa Mikuli, ne Mesullamu mutabani wa Sefatiya, muzzukulu wa Leweri, muzzukulu wa Ibuniya.
9 All of them were family heads as recorded in their genealogies, and they totaled 956.
Abantu b’omu kika kya Benyamini, baali bawera lwenda mu ataano mu mukaaga, ate nga bonna bakulu ba nda zaabwe.
10 From the priests: Jedaiah, Jehoiarib, Jakin,
Ku bakabona abaakomawo kwaliko Yedaya, ne Yekoyalibu, ne Yakini,
11 Azariah son of Hilkiah, son of Meshullam, son of Zadok, son of Meraioth, son of Ahitub. (Azariah was the head official in charge of the house of God.)
ne Azaliya mutabani wa Kirukiya, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Zadooki, muzzukulu wa Merayoosi, muzzukulu wa Akituubu, omukulu eyavunaanyizibwanga ennyumba ya Katonda;
12 Also Adaiah son of Jeroham, son of Pashhur, son of Malkijah, and Maasai son of Adiel, son of Jahzerah, son of Meshullam, son of Meshillemith, son of Immer.
ne Adaaya mutabani wa Yerokamu, muzzukulu wa Pasukuli, muzzukulu wa Malukiya, ne Maasayi mutabani wa Adyeri, muzzukulu wa Yazera, muzzukulu wa Mesullamu, muzzukulu wa Mesiremisi, muzzukulu wa Immeri.
13 The priests, who were family heads, totaled 1,760. They were strong and capable men who served in the house of God.
Bakabona abaali abakulu b’enda zaabwe baali lukumi mu lusanvu mu nkaaga. Baali basajja babuvunaanyizibwa mu buweereza bwabwe mu nnyumba ya Katonda.
14 From the Levites: Shemaiah, son of Hasshub, son of Azrikam, son of Hashabiah, a descendant of Merari;
Ku baleevi kwaliko: Semaaya mutabani wa Kassubu, muzzukulu wa Azulikamu, muzzukulu wa Kasabiya, omu ku b’enda ya Merali,
15 Bakbakkar, Heresh, Galal, and Mattaniah, son of Mica, son of Zicri, son of Asaph;
ne Bakubakkali, ne Keresi, ne Galali ne Mattaniya mutabani wa Mikka, muzzukulu wa Zikuli, muzzukulu wa Asafu,
16 Obadiah son of Shemaiah, son of Galal, son of Jeduthun; and Berekiah son of Asa, son of Elkanah, who used to live in the villages of the Netophathites.
ne Obadiya mutabani wa Semaaya, muzzukulu wa Galali, muzzukulu wa Yedusuni; ne Berekiya mutabani wa Asa, muzzukulu wa Erukaana, eyabeeranga mu byalo eby’Abanetofa.
17 The gatekeepers of the Temple: Shallum, Akkub, Talmon, Ahiman and their relatives. Shallum was the chief gatekeeper.
Abaggazi ba wankaaki baali, Sallumu, ne Akabu, ne Talumoni, ne Akimaani ne baganda baabwe abalala, era mukulu waabwe ye yali Sallumu;
18 They had the responsibility up until now of looking after the King's Gate on the east side. They were the gatekeepers of the camps of the Levites.
be baayimiriranga ku ludda olw’ebuvanjuba olwa wankaaki ya Kabaka, era gwe mulimu gwabwe n’okutuusa leero. Abo be baali abaggazi ab’omu kika ky’Abaleevi.
19 Shallum was the son of Kore, son of Ebiasaph, son of Korah. He and his relatives, the Korahites, were responsible for guarding the entrances to the sanctuary in the same way their fathers had been responsible for guarding the entrance to the tented house of the Lord.
Sallumu yali mutabani wa Koole, muzzukulu wa Ebiyasaafu, muzzukulu wa Koola, ne ab’omu nnyumba ya kitaawe be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi za yeekaalu nga bajjajjaabwe nabo bwe baavunaanyizibwanga omulyango gw’ekifo Mukama gy’abeera.
20 Previously Phinehas son of Eleazar had been the leader of the gatekeepers. The Lord was with him.
Finekaasi mutabani wa Eriyazaali ye yakuliranga abaggazi mu biro eby’edda, era Mukama n’abeeranga wamu naye.
21 Zechariah son of Meshelemiah was the gatekeeper at the entrance to the tent of meeting.
Zekkaliya mutabani wa Meseremiya ye yali omuggazi ku mulyango gw’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu.
22 In total there were 212 chosen to be gatekeepers at the entrances. They recorded their genealogies in their home towns. David and Samuel the prophet had selected their forefathers for their faithfulness.
Bonna awamu, abaalondebwa okuba abaggazi b’emiryango baali bibiri mu kkumi na babiri, era baali baawandiikibwa mu byalo byabwe ng’okuzaalibwa kwabwe bwe kwali. Dawudi ne nnabbi Samwiri be bayawula emirimu gy’abaggazi nga bwe gyali.
23 They and their descendants were responsible for guarding the entrance to the house of the Lord, also when it was a tent.
Bo ne bazzukulu baabwe, be baavunaanyizibwanga okukuuma enzigi z’ennyumba ya Mukama, ennyumba eyayitibwanga Eweema.
24 The gatekeepers were placed on four sides: east, west, north, and south.
Abaggazi baabeeranga ku njuyi ennya, olw’ebuvanjuba, olw’ebugwanjuba, olw’obukiikakkono, n’olwobukiikaddyo,
25 Their relatives in their towns came every seven days at certain times to help them.
era baganda baabwe okuva mu byalo byabwe, bajjanga mu mpalo ne bakumanga okumala ebbanga kya nnaku musanvu.
26 The four chief gatekeepers, who were Levites, were given the responsibility of looking after the rooms and treasuries in the house of God.
Abaggazi abana, abaali Abaleevi, be baaweebwa obuvunaanyizibwa okulabiriranga ebisenge eby’omunda n’amawanika ag’omu nnyumba ya Katonda.
27 They spent the night around the house of God because they had to guard it and they had the key to unlock it in the morning.
Baasulanga okuliraana ne nnyumba ya Katonda kubanga be baagikuumanga, era nga buli nkya be bavunaanyizibwa okugiggalawo.
28 Some of the gatekeepers were responsible for the articles that were used in worship services. They counted what was brought in and what was taken out.
Abamu ku bo baavunaanyizibwanga okukuuma ebintu ebyakozesebwanga mu kuweereza mu yeekaalu, era nga be babala ennyingiza yaabyo ne nfulumya yaabyo.
29 Others were given the job of looking after the furniture and equipment used in the sanctuary, as well as the special flour, wine, olive oil, incense, and spices.
Abalala baavunaanyizibwanga okulabirira ebikozesebwa mu mirimu n’ebintu byonna eby’omu watukuvu, era nga be bavunaanyizibwa okulabirira obutta obulungi, n’omwenge, n’amafuta, n’omugavu, n’ebyakaloosa.
30 (However, some of the priests were in charge of mixing the spices.)
Wabula abamu ku bakabona baategekanga byakaloosa.
31 Mattithiah, a Levite, who was the firstborn son of Shallum the Korahite, was given the responsibility of baking the bread used in offerings.
Mattisiya mutabani wa Sallumu Omukoola, ate nga y’omu ku Baleevi, ye yavunaanyizibwanga okufumba emigaati gy’ebiweebwayo,
32 Other Kohathites were in charge of preparing the bread set out on the table every Sabbath.
era abamu ku baganda b’Abakokasi baavunaanyizibwanga okussanga emigaati egya buli ssabbiiti ku mmeeza.
33 The musicians, heads of Levite families, lived in the rooms in the Temple and were not required to carry out other duties because they were on duty day and night.
Abayimbi, abakulu b’ekika ky’Abaleevi baasulanga mu bisenge eby’omunda wa Yeekaalu, era nga tebakola mulimu mulala gwonna emisana n’ekiro okuggyako ogwo ogwabwe omutongole.
34 These were all heads of Levite families, leaders as recorded in their genealogies, and they lived in Jerusalem.
Abo bonna baali bakulu b’enda ez’Abaleevi, nga bwe baawandiikibwa mu kuzaalibwa kwabwe, era baabeeranga mu Yerusaalemi.
35 Jeiel was the father of Gibeon and he lived in Gibeon. His wife's name was Maacah.
Yeyeri kitaawe wa Gibyoni era yatulanga mu Gibyoni, n’erinnya lya mukyala we nga ye Maaka,
36 His firstborn son was Abdon, then Zur, Kish, Baal, Ner, Nadab,
ne mutabani waabwe omuggulanda yali Abudoni, Zuuli n’amuddirira, Kiisi n’addako, Baali n’addako, Neeri n’addako, Nadabu n’addako,
37 Gedor, Ahio, Zechariah, and Mikloth.
ne Gedoli n’addako, Akiyo n’addako, Zekkaliya n’addako, Mikuloosi n’asembayo.
38 Mikloth was the father of Shimeam. They also lived near their relatives in Jerusalem.
Mikuloosi yazaala Simyamu, era nabo baabeeranga kumpi ne baganda baabwe mu Yerusaalemi.
39 Ner was the father of Kish, Kish was the father of Saul, and Saul was the father of Jonathan, Malki-Shua, Abinadab, and Esh-Baal.
Neeri n’azaala Kiisi, Kiisi n’azaala Sawulo. Sawulo n’azaala Yonasaani, ne Malukisuwa, ne Abinadaabu ne Esubaali.
40 The son of Jonathan: Merib-Baal, who was the father of Micah.
Mutabani wa Yonasaani ye yali Meribubaali, ne Meribubaali n’azaala Mikka.
41 The sons of Micah: Pithon, Melech, Tahrea, and Ahaz.
Batabani ba Mikka baali Pisoni, ne Mereki, ne Taleya ne Akazi.
42 Ahaz was the father of Jadah, Jadah was the father of Alemeth, Azmaveth, and Zimri, and Zimri was the father of Moza.
Akazi n’azaala Yala, Yala n’azaala Alemesi, ne Azumavesi ne Zimuli, ate Zimuli n’azaala Moza.
43 Moza was the father of Binea; Rephaiah was his son, Eleasah his son, and Azel his son.
Moza n’azaala Bineya, Bineya n’azaala Lefaya, Lefaya n’azaala Ereyaasa, Ereyaasa n’azaala Azeri.
44 Azel had six sons. Their names were: Azrikam, Bokeru, Ishmael, Sheariah, Obadiah, and Hanan. These were the sons of Azel.
Azeri yalina batabani be mukaaga, era gano ge gaali amannya gaabwe: Azulikamu, ne Bokeru, ne Isimayiri, ne Seyaliya, ne Obadiya, ne Kanani.

< 1 Chronicles 9 >