< Song of Solomon 8 >

1 Who shall give thee to me for my brother, sucking the breasts of my mother, that I may find thee without, and kiss thee, and now no man may despise me?
Singa wali muganda wange eyakuzibwa mmange era eyayonka amabeere ga mmange, nandikusanze ebweru nandikunywegedde ne wataba n’omu annyooma.
2 I will take hold of thee, and bring thee Into my mother’s house: there thou shalt teach me, and I will give thee a cup of spiced wine and new wine of my pomegranates.
Nandikukulembedde ne nkuleeta mu nnyumba ya mmange, oyo eyangigiriza. Nandikuwadde wayini okunywa ng’alimu ebyakaloosa, omubisi ogw’amakomamawanga gange.
3 His left hand under my head, and his right hand shall embrace me.
Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambaatira.
4 I adjure you, O daughters of Jerusalem, that you stir not up, nor awake my love till she please.
Mmwe abawala ba Yerusaalemi mbakuutira, temusiikuula newaakubadde okuzuukusa okwagala okutuusa ng’ekiseera ekituufu kituuse.
5 Who is this that cometh up from the desert, flowing with delights, leaning upon her beloved? Under the apple tree I raised thee up: there thy mother was corrupted, there she was defloured that bore thee.
Ani oyo gwe tulengera ng’ava mu ddungu nga yeesigamye muganzi we? Omwagalwa Nakuzuukusa ng’oli wansi w’omuti ogw’omucungwa. Eyo maama wo gye yafunira olubuto era eyo maama wo gye yakuzaalira mu bulumi obungi.
6 Put me as a seal upon thy heart, as a seal upon thy arm, for love is strong as death, jealousy as hard as hell, the lamps thereof are fire and flames. (Sheol h7585)
Nteeka ng’akabonero ku mutima gwo, era ng’akabonero ku mukono gwo, kubanga okwagala kwa maanyi ng’okufa, obuggya bwakwo buli ng’obusungu obw’emagombe. Kwaka ng’ennimi ez’omuliro, omuliro ogwaka n’amaanyi ennyo. (Sheol h7585)
7 Many waters cannot quench charity, neither can the floods drown it: if a man should give all the substance of his house for love, he shall despise it as nothing.
Amazzi amangi tegamalaawo nnyonta ya kwagala n’emigga tegiyinza kukumalawo. Singa omuntu awaayo obugagga bwe bwonna obw’ennyumba ye okufuna okwagala, asekererwa nnyo.
8 Our sister is little, and hath no breasts. What shall we do to our sister in the day when she is to be spoken to?
Tulina muto waffe atannamera mabeere, naye tulikola tutya bw’alituuka okwogerezebwa?
9 If she be a wall: let us build upon it bulwarks of silver: if she be a door, let us join it together with boards or cedar.
Singa abadde bbugwe twandimuzimbyeko eminaala egya ffeeza, singa abadde luggi twandimuggalidde na mivule.
10 I am a wall: and my breasts are as a tower since I am become in his presence as one finding peace.
Ndi bbugwe era n’amabeere gange gali ng’ekitikkiro, noolwekyo mu maaso ge, mmufuukidde aleeta emirembe.
11 The peaceable had a vineyard, in that which hath people: he let out the same to keepers, every man bringeth for the fruit thereof a thousand pieces of silver.
Sulemaani yalina ennimiro y’emizabbibu e Baaluka Kamooni, n’agisigira abalimi. Buli omu ku bo yamusalira ebitundu bya ffeeza lukumi.
12 My vineyard is before me. A thousand are for thee, the peaceable, and two hundred for them that keep the fruit thereof.
Ennimiro yange ey’emizabbibu, yange, ebitundu olukumi bibyo ggwe Sulemaani, ebitundu ebikumi bibiri by’abo abalabirira ennimiro.
13 Thou that dwellest in the gardens, the friends hearken: make me hear thy voice.
Ggwe abeera mu nnimiro ne mikwano gyo nga weebali, ka mpulire eddoboozi lyo.
14 Flee away, O my beloved, and be like to the roe, and to the young hart upon the mountains of aromatical spices.
Yanguwa okuvaayo eyo, odduke mangu ng’empeewo oba ng’ennangaazi ento, oddukire ku nsozi ezijjudde ebyakaloosa.

< Song of Solomon 8 >