< Nahum 3 >

1 Woe to thee, O city of blood, all full of lies and violence: rapine shall not depart from thee.
Zikusanze ggwe ekibuga eky’omusaayi! Kyonna ekijjudde eby’obulimba n’obunyazi, ekitaggwaamu banyagiddwa.
2 The noise of the whip, and the noise of the rattling of the wheels, and of the neighing horse, and of the running chariot, and of the horsemen coming up,
Muwulire okuvuga kw’embooko, n’okuvuuma kwa namuziga z’amagaali n’ebigere by’embalaasi nga bwe bivuga n’amagaali nga gakubaganira mu nguudo!
3 And of the shining sword, and of the glittering spear, and of a multitude slain, and of a grievous destruction: and there is no end of carcasses, and they shall fall down on their dead bodies.
Laba eggye ery’embalaasi erirumba, n’ebitala ebitemagana, n’amafumu agamyansa. Abatuukiddwako ebisago nga bayitirivu, ne ntuumu ennene ez’emirambo egitamanyiddwa muwendo; abantu bagirinnyirira.
4 Because of the multitude of the fornications of the harlot that was beautiful and agreeable, and that made use of witchcraft, that sold nations through her fornications, and families through her witchcrafts.
Bino byonna biri bityo kubanga Nineeve yeeweerayo ddala okwetunda eri abalabe ba Katonda obutasalako, nga malaaya omukulu, kye kibuga ekikyaamu ekitali kyesigwa ekyawubisa ebirala, omukulu w’obufumu, ekyafuula amawanga abaddu baakyo olw’obwamalaaya bwakyo, n’olw’obulogo bwakyo.
5 Behold I come against thee, saith the Lord of hosts: and I will discover thy shame to thy face, and will shew thy nakedness to the nations, and thy shame to kingdoms.
“Laba nkwolekedde,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era nditikka engoye zo ne zidda ku mutwe gwo. Ensi zonna ziriraba obwereere bwo n’obwakabaka bwonna bulabe ensonyi zo.
6 And I will cast abominations upon thee, and will disgrace thee, and will make an example of thee.
Ndikukanyugira kazambi, era ndikufuula ekyenyinyalwa ne nkufuula eky’okwelolera.
7 And it shall come to pass that every one that shall see thee, shall flee from thee, and shall say: Ninive is laid waste: who shall bemoan thee? whence shall I seek a comforter for thee?
Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti, ‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’ Abalikikubagiza baliva wa?”
8 Art thou better than the populous Alexandria, that dwelleth among the rivers? waters are round about it: the sea is its riches, the waters are its walls.
Ggwe Nineeve ggw’osinga Tebesi ekyali kizimbiddwa ku mugga Kiyira ng’amazzi gakyetoolodde okukikuuma ku njuyi zonna? Olukomera lwakyo gwali mugga era amazzi ge gaali bbugwe waakyo.
9 Ethiopia and Egypt were the strength thereof, and there is no end: Africa and the Libyans were thy helpers.
Esiyopya ne Misiri ze zaakiwagiranga. Ate nga Abapuuti n’ab’omu Libiya nabo nga bakiyamba.
10 Yet she also was removed and carried into captivity: her young children were dashed in pieces at the top of every street, and they cast lots upon her nobles, and all her great men were bound in fetters.
Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse. Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo. Abakungu baakyo baakubirwa obululu, n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
11 Therefore thou also shalt be made drunk, and shalt be despised: and thou shalt seek help from the enemy.
Nineeve naawe olitamiira, olyekweka ng’onoonya obuddukiro owone omulabe wo.
12 All thy strong holds shall be like fig trees with their green figs: if they be shaken, they shall fall into the mouth of the eater.
Ebigo byo byonna biri ng’emitiini egiriko ebibala ebisooka okwengera; bwe ginyeenyezebwa ne bigwa mu kamwa k’oyo anaabirya.
13 Behold thy people in the midst of thee are women: the gates of thy land shall be set wide open to thy enemies, the fire shall devour thy bars.
Laba abalwanyi bammwe balinafuwa ne batiitiira ng’abakazi. Enzigi z’ensi yo nzigule eri abalabe bo. Era omuliro gwokezza emikiikiro gyazo.
14 Draw thee water for the siege, build up thy bulwarks: go into the clay, and tread, work it and make brick.
Weenyweze bajja kukulumba! Weeterekere ku mazzi g’onoonywako. Nyweza ebisenge byo. Noonya ettaka olisambe oddaabirize ekisenge eky’amatoffaali.
15 There shall the fire devour thee: thou shalt perish by the sword, it shall devour thee like the bruchus: assemble together like the bruchus, make thyself many like the locust.
Omuliro gulikulya, ekitala kirikuzikiriza. Wenna oliriibwa ng’enzige bwe zirya ebirime. Mweyongere obungi ng’enseenene, mwale ng’enzige.
16 Thou hast multiplied thy merchandises above the stars of heaven: the bruchus hath spread himself and flown away.
Mwongedde ku bungi bwa basuubuzi bammwe okusinga emmunyeenye ez’oku ggulu. Naye ensi baligikaza okufaanana ng’enzige bwe zimalawo ensi ne ziryoka zibuuka.
17 Thy guards are like the locusts: and thy little ones like the locusts of locusts which swarm on the hedges in the day of cold: the sun arose, and they flew away, and their place was not known where they were.
Abakuumi bammwe bali ng’enzige, n’abakungu bammwe ng’ebibinja by’enzige ezibeera ku bisenge ku lunaku olw’obutiti. Enjuba bw’evaayo zibuuka ne ziraga etamanyiddwa.
18 Thy shepherds have slumbered, O king of Assyria, thy princes shall be buried: thy people are hid in the mountains, and there is none to gather them together.
Abasumba bo nga babongoota, ggwe kabaka wa Bwasuli, n’abakungu abeekitiibwa bagalamidde nga bawumuddeko. Abantu bo basaasaanira ku nsozi nga tewali n’omu abakuŋŋaanya.
19 Thy destruction is not hidden, thy wound is grievous: all that have heard the fame of thee, have clapped their hands over thee: for upon whom hath not thy wickedness passed continually?
Tewali kisobola kuwonya kiwundu kyo ekinene bwe kityo. Bonna abawulira ebikuguddeko bakuba bukubi mu ngalo olw’okugwa kwo. Ani ataakosebwa olw’ettima lyo eringi? Kubanga muntu ki ataatuusibwako bukambwe bwo obwa buli kakedde?

< Nahum 3 >