< Jeremiah 43 >

1 And it came to pass, that when Jeremias had made an end of speaking to the people all the words of the Lord their God, for which the Lord their God had sent him to them, all these words:
Yeremiya bwe yamala okutegeeza abantu ebigambo byonna Mukama Katonda waabwe bye yamutuma okubagamba,
2 Azarias the son of Osaias, and Johanan the son of Caree, and all the proud men, made answer, saying to Jeremias: Thou tellest a lie: the Lord our God hath not sent thee, saying: Go not into Egypt, to dwell there.
Azaliya mutabani wa Kosaaya ne Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abasajja bonna ab’amalala ne bagamba Yeremiya nti, “Olimba! Mukama Katonda wo takutumye kugamba nti, ‘Temugenda Misiri kusenga eyo.’
3 But Baruch the son of Nerias setteth thee on against us, to deliver us into the hands of the Chaldeans, to kill us, and to cause us to be carried away captives to Babylon.
Naye Baluki mutabani wa Neriya y’akusendasenda otugabule mu mukono gw’Abakaludaaya, batutte oba batutwale mu buwaŋŋanguse e Babulooni.”
4 So Johanan the son of Caree, and all the captains of the soldiers, and all the people, obeyed not the voice of the Lord, to remain in the land of Juda.
Awo Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye bonna n’abantu bonna ne bajeemera ekiragiro kya Mukama eky’okusigala mu nsi ya Yuda.
5 But Johanan the son of Caree, and all the captains of the soldiers took all the remnant of Juda, that were returned out of all nations, to which they had before been scattered, to dwell in the land of Juda:
Yokanaani mutabani wa Kaleya n’abaduumizi ba magye ga Yuda bonna ne bakulembera abantu ba Yuda abaali basigaddewo nga bakomyewo okuva mu mawanga gonna gye baali baddukidde okubeera mu nsi ya Yuda.
6 Men, and women, and children, and the king’s daughters, and every soul, which Nabuzardan the general had left with Godolias the son of Ahicam the son of Saphan, and Jeremias the prophet, and Baruch the son of Nerias.
Ne batwala n’abasajja bonna, n’abakazi n’abaana n’abawala ba kabaka, Nebuzaladaani omuduumizi w’eggye lya kabaka w’e Babulooni be yali alekedde Gedaliya mutabani wa Akikamu, mutabani wa Safani, ne nnabbi Yeremiya ne Baluki mutabani wa Neriya.
7 And they went Into the land of Egypt, for they obeyed not the voice of the Lord: and they came as far as Taphnis.
Awo ne bayingira e Misiri nga bajeemedde Mukama, ne bagenda okutuukira ddala e Tapaneese.
8 And the word of the Lord came to Jeremias in Taphnis, saying:
Bwe baba bali e Tapaneese, ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti,
9 Take great stones in thy hand, and thou shalt hide them in the vault that is under the brick wall at the gate of Pharao’s house in Taphnis: in the sight of the men of Juda.
“Twala amayinja amanene ogaziike mu bbumba mu lubalaza olw’amatoffaali ku mulyango gw’olubiri lwa Falaawo e Tapaneese, ng’Abayudaaya bonna balaba.
10 And thou shalt say to them: Thus saith the Lord of hosts the God of Israel: Behold I will send, and take Nabuchodonosor the king of Babylon my servant: and I will set his throne over these stones which I have hid, and he shall set his throne over them.
Obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti, Nditumya omuddu wange Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, era nditeeka entebe ye ey’obwakabaka ku mayinja gano ge nziise wano. Ku go kwalikuba eweema ye ey’obwakabaka.
11 And he shall come and strike the land of Egypt: such as are for death, to death: and such as are for captivity, to captivity: and such as are for the sword, to the sword.
Alijja n’alumba Misiri, atte abo ab’okufa, awambe n’abo ab’okuwambibwa, n’ab’okuttibwa n’ekitala battibwe n’ekitala.
12 And he shall kindle a fire in the temples of the gods of Egypt, and he shall burn them, and he shall carry them away captives: and he shall array himself with the land of Egypt, as a shepherd putteth on his garment: and he shall go forth from thence in peace.
Alikoleeza omuliro ku masabo ga bakatonda b’e Misiri, n’abatwala mu busibe nga alese amasabo gaabwe agookezza. Ng’omulunzi w’endiga bwe yeezingirira ekyambalo kye, bw’atyo bw’alyezingirira ensi y’e Misiri n’avaayo nga tewali kabi konna kamutuuseeko.
13 And he shall break the statues of the house of the sun, that are in the land of Egypt; and the temples of the gods of Egypt he shall burn with fire.
Alimenyamenya empagi ezaawongebwa mu ssabo ly’enjuba mu Misiri, n’ayokya n’amasabo ga bakatonda b’e Misiri.’”

< Jeremiah 43 >