< Isaiah 58 >

1 Cry, cease not, lift up thy voice like a trumpet, and shew my people their wicked doings, and the house of Jacob their sins.
Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka, tokisirikira. Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere, obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.
2 For they seek me from day to day, sad desire to know my ways, as a nation that hath done justice, and hath not forsaken the judgment of their God: they ask of me the judgments of justice: they are willing to approach to God.
Kubanga bannoonya buli lunaku era beegomba okumanya amakubo gange, nga bali ng’abantu abakola eby’obutuukirivu so si abaaleka edda ebiragiro bya Katonda waabwe. Bambuuza ensala ennuŋŋamu, ne basanyukira Katonda okusembera gye bali.
3 Why have we fasted, and thou hast not regarded: have we humbled our souls, and thou hast not taken notice? Behold in the day of your fast your own will is found, and you exact of all your debtors.
Beebuuza nti, “Lwaki twasiiba, naye ggwe n’otokifaako? Lwaki twetoowaza naye ggwe n’otokissaako mwoyo?” Musooke mulabe, ennaku ze musiiba muba munoonya ssanyu lyammwe ku bwammwe, musigala munyigiriza abakozi bammwe.
4 Behold you fast for debates and strife. and strike with the fist wickedly. Do not fast as you have done until this day, to make your cry to be heard on high.
Njagala mulabe. Kalungi ki akali mu kusiiba ng’ate mugenda kudda mu nnyombo, n’okukaayana n’okukuba bannammwe agakonde. Temuyinza kusiiba nga bwe mukola kaakano eddoboozi lyammwe ne liwulirwa mu ggulu.
5 Is this such a fast as I have chosen: for a man to afflict his soul for a day? is this it, to wind his head about like a circle, and to spread sackcloth and ashes? wilt thou call this a fast, and a day acceptable to the Lord?
Okusiiba kwe nalonda bwe kutyo bwe kufaanana? Olunaku omuntu lw’eyetoowalizaako? Kukutamya bukutamya mutwe, kuguweta nga lumuli n’okugalamira mu bibukutu mu vvu? Okwo kwe muyita okusiiba, olunaku olusiimibwa Mukama?
6 Is not this rather the fast that I have chosen? loose the bands of wickedness, undo the bundles that oppress, let them that are broken go free, and break asunder every burden.
Kuno kwe kusiiba kwe nalonda; okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu, n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo, n’okuta abo abanyigirizibwa, n’okumenya buli kikoligo?
7 Deal thy bread to the hungry, and bring the needy and the harbourless into thy house: when thou shalt see one naked, cover him, and despise not thy own flesh.
Si kugabira bayala ku mmere yo, n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo; bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
8 Then shall thy light break forth as the morning, and thy health shall speedily arise, and thy justice shall go before thy face, and the glory of the Lord shall gather thee up.
Awo omusana gwo gulyoke guveeyo gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu; obutuukirivu bwo bukukulembere, era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.
9 Then shalt thou call, and the Lord shall hear: thou shalt cry, and he shall say, Here I am. If thou wilt take away the chain out of the midst of thee, and cease to stretch out the finger, and to speak that which profiteth not.
Olwo olikoowoola, Mukama n’akuddamu; olikaaba naye n’akuddamu nti, Ndi wano. “Bwe muliggyawo ekikoligo ekinyigiriza n’okusonga ennwe, n’okwogera n’ejjoogo;
10 When thou shalt pour out thy soul to the hungry, and shalt satisfy the afflicted soul then shall thy light rise up in darkness, and thy darkness shall be as the noonday.
bw’olyewaayo okuyamba abayala n’odduukirira abali mu buzibu, olwo omusana gwo gulyaka n’ova mu kizikiza, ekibadde ekiro kifuuke ettuntu.
11 And the Lord will give thee rest continually, and will fill thy soul with brightness, and deliver thy bones, and thou shalt be like a watered garden, and like a fountain of water whose waters shall not fail.
Era Mukama anaakuluŋŋamyanga ennaku zonna, n’akuwa ebintu ebirungi obulamu bwo bye bwetaaga, amagumba go aligongeramu amaanyi; era olibeera ng’ennimiro enfukirire obulungi, era ng’oluzzi olw’amazzi agatakalira.
12 And the places that have been desolate for ages shall be built in thee: thou shalt raise up the foundations of generation and generation: and thou shalt be called the repairer of the fences, turning the paths into rest.
N’abantu bo balizimba ebifo eby’edda ebyazika era baddemu okuzimba emisingi egy’edda. Olyoke oyitibwe omuddaabiriza wa bbugwe eyamenyeka, omuddaabiriza wa mayumba ag’okusulamu.
13 If thou turn away thy foot from the sabbath, from doing thy own will in my holy day, and call the sabbath delightful, and the holy of the Lord glorious, and glorify him, while thou dost not thy own ways, and thy own will is not found: to speak a word:
“Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti, obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu, bw’onooluyitanga olw’essanyu era olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa, singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,
14 Then shalt thou be delighted in the Lord, and I will lift thee up above the high places of the earth, and will feed thee with the inheritance of Jacob thy father. For the mouth of the Lord hath spoken it.
awo olifuna essanyu eriva eri Mukama era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo” Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.

< Isaiah 58 >