< Amos 8 >

1 These things the Lord shewed to me: and behold a hook to draw down the fruit.
Bino Mukama Katonda bye yandaga. Ne ndaba ekisero ekirimu ebibala ebyengedde.
2 And he said: What seest thou, Amos? And I said: A hook to draw down fruit. And the Lord said to me: The end is come upon my people Israel: I will not again pass by them any more.
Mukama n’ambuuza nti, “Amosi, kiki ky’olaba?” Ne muddamu nti, “Ndaba ekisero ky’ebibala ebyengedde.” Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Ekiseera eky’okubonereza abaana ba Isirayiri kituuse. Siribasonyiwa nate.
3 And the hinges of the temple shall screak in that day, saith the Lord God: many shall die: silence shall be cast in every place.
“Ku lunaku olwo,” bw’ayogera Mukama Katonda, “okuyimba kw’omu yeekaalu kulifuuka kukungubaga. Walibeerawo okufa okuyitirivu, emirambo nga gibunye wonna. Walibaawo akasiriikiriro.”
4 Hear this, you that crush the poor, and make the needy of the land to fail,
Muwulire bino mmwe abalinnyirira abateesobola, era abasaanyaawo abanaku b’omu nsi,
5 Saying: When will the month be over, and we shall sell our wares: and the sabbath, and we shall open the corn: that we may lessen the measure, and increase the sicle, and may convey in deceitful balances,
nga mwogera nti, “Ennaku enkulu ez’Omwezi ogwa kaboneka ziggwaako ddi, tulyoke tutunde emmere yaffe ey’empeke, era ne Ssabbiiti eggwaako ddi, tutunde eŋŋaano yaffe?” Mukozesa minzaani enkyamu ne mwongera emiwendo ne mukozesa n’ebipimo ebitatuuse,
6 That we may possess the needy for money, and the poor for a pair of shoes, and may sell the refuse of the corn?
mmwe abagula abaavu n’effeeza n’abanaku ne mubagula n’omugogo gw’engatto, ne mutundira ebisaaniiko mu ŋŋaano.
7 The Lord hath sworn against the pride of Jacob: surely I will never forget all their works.
Mukama yeeweredde amalala ga Yakobo ng’agamba nti, “Sigenda kwerabira bintu bye bakoze.
8 Shall not the land tremble for this, and every one mourn that dwelleth therein: and rise up altogether as a river, and be cast out, and run down as the river of Egypt?
“Ensi terikankana olw’ekyo, na buli abeeramu n’akungubaga? Ensi yonna eritumbiira ng’omugga Kiyira n’ekka ng’amazzi ag’omugga gw’e Misiri bwe gakola.”
9 And it shall come to pass in that day, saith the Lord God, that the sun shall go down at midday, and I will make the earth dark in the day of light:
Mukama Katonda agamba nti, “Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
10 And I will turn your feasts into mourning, and all your songs into lamentation: and I will bring up sackcloth upon every back of yours, and baldness upon every head: and I will make it as the mourning of an only son, and the latter end thereof as a bitter day.
Embaga zammwe ez’eddini ndizifuula mikolo gya kukungubaga era okuyimba kwammwe kwonna kulifuuka kukaaba. Mwenna nzija kubatuusa ku kwambala ebibukutu n’emitwe gyammwe mugimwe. Olunaku olwo ndilufuula ng’olw’okukungubagira omwana owoobulenzi omu yekka, era n’enkomerero yaabyo ekaayire ddala.
11 Behold the days come, saith the Lord, and I will send forth a famine into the land: not a famine of bread, nor a thirst of water, but of hearing the word of the Lord.
“Ekiseera kijja,” bw’ayogera Mukama Katonda, “lwe ndisindika enjala mu nsi yonna, teriba njala ya mmere oba nnyonta y’amazzi, naye eriba enjala y’ekigambo kya Katonda.
12 And they shall move from sea to sea, and from the north to the east: they shall go about seeking the word of the Lord, and shall not find it.
Abantu balibundabunda okuva ku nnyanja emu okudda ku ndala, bave mu bukiikakkono badde mu bukiikaddyo nga banoonya ekigambo kya Mukama, naye tebalikifuna.
13 In that day the fair virgins, and the young men shall faint for thirst.
“Mu biro ebyo, “abawala ababalagavu n’abalenzi ab’amaanyi balizirika olw’ennyonta.
14 They that swear by the sin of Samaria, and say: Thy God, O Dan, liveth: and the way of Bersabee liveth: and they shall fall, and shall rise no more.
Abo abaalayira eby’ensonyi eby’e Samaliya oba abaayogera nti, ‘Nga katonda wo bw’ali omulamu ggwe Ddaani,’ oba nti, ‘Nga katonda w’e Beeruseba bw’ali omulamu,’ baligwa obutayimuka nate.”

< Amos 8 >