< Numbers 23 >

1 Balaam said to Balak, “Build here seven altars for me, and prepare here seven bulls and seven rams for me.”
Balamu n’agamba Balaki nti, “Nkolera wano ebyoto musanvu, era onfunire ne sseddume z’ente musanvu, n’endiga ennume musanvu.”
2 Balak did as Balaam had spoken; and Balak and Balaam offered on every altar a bull and a ram.
Balaki n’akola nga Balamu bwe yamugamba; bombi Balaki ne Balamu ne bawaayo ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
3 Balaam said to Balak, “Stand by your burnt offering, and I will go. Perhaps the LORD will come to meet me. Whatever he shows me I will tell you.” He went to a bare height.
Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ekiweebwayo kyo nze njire nga nzirako wabbali. Oboolyawo nga Mukama anajja n’ansisinkana. Buli kyonna ky’anambikkulira nnaakikutegeeza.” N’alaga waggulu ku lusozi awatali bimera.
4 God met Balaam, and he said to him, “I have prepared the seven altars, and I have offered up a bull and a ram on every altar.”
Katonda n’asisinkana Balamu; Balamu n’amugamba nti, “Nteeseteese ebyoto musanvu, era ku buli kyoto mpeereddeko ente ya sseddume emu n’endiga ennume emu.”
5 The LORD put a word in Balaam’s mouth, and said, “Return to Balak, and thus you shall speak.”
Mukama Katonda n’assa ebigambo mu kamwa ka Balamu n’amugamba nti, “Ddayo eri Balaki omutuuseeko obubaka buno.”
6 He returned to him, and behold, he was standing by his burnt offering, he, and all the princes of Moab.
N’addayo gye yali, n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo kye, n’abakungu bonna aba Mowaabu.
7 He took up his parable, and said, “From Aram has Balak brought me, the king of Moab from the mountains of the East. Come, curse Jacob for me. Come, defy Israel.
Balamu n’alagula nti, “Balaki ye yanzigya mu Alamu, kabaka wa Mowaabu yanzigya mu nsozi z’ebuvanjuba. N’aŋŋamba nti, ‘Jjangu onkolimiririre Yakobo; jjangu oboole Isirayiri.’
8 How shall I curse whom God has not cursed? How shall I defy whom the LORD has not defied?
Nnyinza okukolimira abo Katonda batakolimidde? Nnyinza okuboola abo Mukama Katonda baatabodde?
9 For from the top of the rocks I see him. From the hills I see him. Behold, it is a people that dwells alone, and shall not be listed among the nations.
Mbalaba okuva ku ntikko ez’enjazi mbalengera nga nsinziira ku nsozi. Ndaba abantu abeeyawuddeko abateerowooza kuba ng’erimu ku mawanga.
10 Who can count the dust of Jacob, or count the fourth part of Israel? Let me die the death of the righteous! Let my last end be like his!”
Ani ayinza okubala enfuufu ya Yakobo, oba okubala ekitundu ekyokuna ekya Isirayiri? Leka nfe okufa okw’omutuukirivu, n’enkomerero yange ebeere ng’eyaabwe!”
11 Balak said to Balaam, “What have you done to me? I took you to curse my enemies, and behold, you have blessed them altogether.”
Balaki n’agamba Balamu nti, “Onkoze ki kino? Nakuyita kujja kukolimira balabe bange, naye obw’edda bwonna obadde obasabira mukisa!”
12 He answered and said, “Must I not take heed to speak that which the LORD puts in my mouth?”
N’addamu nti, “Tekiŋŋwanidde kwogera ekyo Mukama Katonda ky’atadde mu kamwa kange?”
13 Balak said to him, “Please come with me to another place, where you may see them. You shall see just part of them, and shall not see them all. Curse them from there for me.”
Balaki n’amugamba nti, “Jjangu tugende mu kifo ekirala w’onoolabira abaana ba Isirayiri; ojja kulabako kitundu butundu so si bonna. Kale nno sinziira awo obankolimiririre.”
14 He took him into the field of Zophim, to the top of Pisgah, and built seven altars, and offered up a bull and a ram on every altar.
N’amutwala mu nnimiro ya Zofimu, ku ntikko ya Pisuga, n’azimbira eyo ebyoto musanvu n’awaayo sseddume w’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.
15 He said to Balak, “Stand here by your burnt offering, while I meet God over there.”
Balamu n’agamba Balaki nti, “Beera wano awali ebiweebwayo byo, nze ŋŋende musisinkane wali.”
16 The LORD met Balaam, and put a word in his mouth, and said, “Return to Balak, and say this.”
Mukama Katonda n’asisinkana Balamu, n’ateeka obubaka mu kamwa ke, ng’agamba nti, “Ddayo eri Balaki omuwe obubaka obwo.”
17 He came to him, and behold, he was standing by his burnt offering, and the princes of Moab with him. Balak said to him, “What has the LORD spoken?”
N’addayo gy’ali n’amusanga ng’ayimiridde awali ekiweebwayo, ng’ali n’abakungu ba Mowaabu. Balaki n’amubuuza nti, “Mukama Katonda agambye ki?”
18 He took up his parable, and said, “Rise up, Balak, and hear! Listen to me, you son of Zippor.
Bw’atyo n’alagula nti, “Golokoka, Balaki, owulirize; mpulira, mutabani wa Zipoli.
19 God is not a man, that he should lie, nor a son of man, that he should repent. Has he said, and he will not do it? Or has he spoken, and he will not make it good?
Katonda si muntu, nti ayinza okulimba, oba nti mwana wa bantu nti akyusakyusa ebigambo bye. Ayogera n’atakola? Asuubiza n’atatuukiriza?
20 Behold, I have received a command to bless. He has blessed, and I cannot reverse it.
Mpeereddwa ekiragiro okusaba omukisa; agabye omukisa, era siyinza kukikyusa.
21 He has not seen iniquity in Jacob. Neither has he seen perverseness in Israel. The LORD his God is with him. The shout of a king is among them.
“Tewali kibi kirabiddwa mu Yakobo, tewali kubonaabona kulabise mu Isirayiri. Mukama Katonda waabwe ali nabo; eddoboozi lya kabaka ery’omwanguka liri wakati mu bo.
22 God brings them out of Egypt. He has as it were the strength of the wild ox.
Katonda ye yabaggya mu Misiri, balina amaanyi ng’aga sseddume ey’omu nsiko.
23 Surely there is no enchantment with Jacob; neither is there any divination with Israel. Now it shall be said of Jacob and of Israel, ‘What has God done!’
Tewali bulogo ku Yakobo, tewali bulaguzi ku Isirayiri. Kiryogerwako ku Yakobo ne ku Isirayiri nti, ‘Mulabe Katonda ky’akoze!’
24 Behold, a people rises up as a lioness. As a lion he lifts himself up. He shall not lie down until he eats of the prey, and drinks the blood of the slain.”
Abantu basituka ng’empologoma enkazi, beezuukusa ng’empologoma ensajja etaweera okutuusa ng’eridde omuyiggo gwayo n’enywa omusaayi gw’ebyo by’esse.”
25 Balak said to Balaam, “Neither curse them at all, nor bless them at all.”
Balaki n’agamba Balamu nti, “Tobakolimira wadde okubasabira omukisa n’akamu!”
26 But Balaam answered Balak, “Did not I tell you, saying, ‘All that the LORD speaks, that I must do’?”
Balamu n’addamu nti, “Saakutegeezezza nti kinsaanidde okukola ekyo kyonna Mukama Katonda ky’anaagamba?”
27 Balak said to Balaam, “Come now, I will take you to another place; perhaps it will please God that you may curse them for me from there.”
Balaki n’agamba Balamu nti, “Jjangu, nkutwale mu kifo ekirala, oboolyawo Katonda anakkiriza obankoliimiririre ng’osinziira awo.”
28 Balak took Balaam to the top of Peor, that looks down on the desert.
Balaki n’atwala Balamu ku ntikko y’olusozi Peoli, olwolekedde eddungu.
29 Balaam said to Balak, “Build seven altars for me here, and prepare seven bulls and seven rams for me here.”
Balamu n’agamba Balaki nti, “Nzimbira wano ebyoto musanvu, era onfunireyo wano ente za sseddume musanvu n’endiga ennume musanvu.”
30 Balak did as Balaam had said, and offered up a bull and a ram on every altar.
Balaki n’akola nga Balamu bwe yamusaba, n’awaayo sseddume y’ente emu n’endiga ennume emu ku buli kyoto.

< Numbers 23 >