< Exodus 30 >

1 “You shall make an altar to burn incense on. You shall make it of acacia wood.
“Onookola ekyoto mu miti gya akasiya, okwoterezangako obubaane.
2 Its length shall be a cubit, and its width a cubit. It shall be square, and its height shall be two cubits. Its horns shall be of one piece with it.
Kya kwenkanankana, sentimita amakumi ana mu ttaano buli ludda mu buwanvu ne mu bugazi; era kinaabeera n’obugulumivu bwa sentimita kyenda. Kubeeko amayembe amakole mu muti ogw’ekyoto nga si mayungeko buyunzi.
3 You shall overlay it with pure gold, its top, its sides around it, and its horns; and you shall make a gold molding around it.
Ekyoto okiteekeko zaabu kyonna, waggulu ne mu mbiriizi, ne ku mayembe. Era kikolereko omuge ogwa zaabu okukyetooloola.
4 You shall make two golden rings for it under its molding; on its two ribs, on its two sides you shall make them; and they shall be for places for poles with which to bear it.
Wansi w’omuge, mu mbiriizi z’ekyoto zombi, kolerawo empeta bbiri eza zaabu, okuyisaamu emisituliro gyakyo nga waliwo gye kitwalibwa.
5 You shall make the poles of acacia wood, and overlay them with gold.
Emisituliro ogikole mu muti gwa akasiya, era ogiteekeko zaabu.
6 You shall put it before the veil that is by the ark of the covenant, before the mercy seat that is over the covenant, where I will meet with you.
Ekyoto kitereeze mu maaso g’eggigi awali essanduuko ey’endagaano, awali ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira, ekiri ku Ndagaano; awo we nnaakusisinkana.
7 Aaron shall burn incense of sweet spices on it every morning. When he tends the lamps, he shall burn it.
“Alooni anaayotezanga obubaane buli nkya, bw’anajjanga okulongoosa ettaala.
8 When Aaron lights the lamps at evening, he shall burn it, a perpetual incense before the LORD throughout your generations.
Era Alooni bw’anajjanga okukoleeza ettaala akawungeezi, anyookezenga obubaane mu maaso ga Mukama mu mirembe gyammwe gyonna.
9 You shall offer no strange incense on it, nor burnt offering, nor meal offering; and you shall pour no drink offering on it.
Ku kyoto kino tojja kwoterezaako bubaane bulala, wadde ekiweebwayo ekyokebwa, newaakubadde eky’eŋŋaano era tojja kufukako ekiweebwayo eky’ekyokunywa.
10 Aaron shall make atonement on its horns once in the year; with the blood of the sin offering of atonement once in the year he shall make atonement for it throughout your generations. It is most holy to the LORD.”
Alooni anaakolanga omukolo ogw’okulangiririra ku mayembe gaakyo omulundi gumu mu buli mwaka. Okulongoosa kuno okwa buli mwaka kunaakolebwanga n’omusaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi mu mirembe gyammwe gyonna egigenda okujja. Ekyoto kya Mukama kino kitukuvu nnyo.”
11 The LORD spoke to Moses, saying,
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
12 “When you take a census of the children of Israel, according to those who are counted among them, then each man shall give a ransom for his soul to the LORD when you count them, that there be no plague among them when you count them.
“Bw’onoobalanga abaana ba Isirayiri, buli gw’onoobalanga anaasasulanga omuwendo eri Mukama olw’okununula obulamu bwe mu kiseera mw’abaliddwa, kawumpuli aleme okubagwamu.
13 They shall give this, everyone who passes over to those who are counted, half a shekel according to the shekel of the sanctuary (the shekel is twenty gerahs); half a shekel for an offering to the LORD.
Buli abalibwa ne yeegatta ku bamaze okubalibwa, anaawaangayo gulaamu mukaaga eri Mukama, ng’okubala okw’Awatukuvu okutongole bwe kuli. Sekeri emu yenkanankana ne gera amakumi abiri. Gulaamu omukaaga zinaaweebwangayo ng’ekiweebwayo eri Mukama.
14 Everyone who passes over to those who are counted, from twenty years old and upward, shall give the offering to the LORD.
Bonna abeegatta ku bamaze okubalibwa, okuva ku b’emyaka amakumi abiri egy’obukulu, n’okweyongerayo, anaawaayo ekiweebwayo ekyo eri Mukama.
15 The rich shall not give more, and the poor shall not give less, than the half shekel, when they give the offering of the LORD, to make atonement for your souls.
Abagagga tebaawengayo kusussa kitundu kya sekeri, n’omwavu taawengayo kitatuuka kitundu kya sekeri bwe munaawangayo ekiweebwayo eri Mukama olw’okwetangirira obulamu bwammwe.
16 You shall take the atonement money from the children of Israel, and shall appoint it for the service of the Tent of Meeting; that it may be a memorial for the children of Israel before the LORD, to make atonement for your souls.”
Ensimbi abaana ba Isirayiri ze banaakuwa onoozikozesanga ku mirimu gy’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. Kinaabanga ekijjukizo mu maaso ga Mukama, olw’okwetangirira obulamu bwammwe.”
17 The LORD spoke to Moses, saying,
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
18 “You shall also make a basin of bronze, and its base of bronze, in which to wash. You shall put it between the Tent of Meeting and the altar, and you shall put water in it.
“Onookola ebbensani enaabirwamu nga ya kikomo ne ky’etuulako nga kya kikomo. Giteeke wakati w’ekyoto n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu; osseemu amazzi.
19 Aaron and his sons shall wash their hands and their feet in it.
Alooni ne batabani be ge banaakozesanga okunaaba engalo zaabwe n’ebigere byabwe.
20 When they go into the Tent of Meeting, they shall wash with water, that they not die; or when they come near to the altar to minister, to burn an offering made by fire to the LORD.
Bwe banaabanga bagenda okuyingira mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, banaanaabanga amazzi, baleme okufa. Era ne bwe banajjanga ku kyoto okuweereza nga bawaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokye n’omuliro,
21 So they shall wash their hands and their feet, that they not die. This shall be a statute forever to them, even to him and to his descendants throughout their generations.”
banaanaabanga engalo zaabwe n’ebigere byabwe, baleme okufa. Kino kinaabanga kiragiro eky’olubeerera eri Alooni n’ezzadde lye emirembe gyonna.”
22 Moreover the LORD spoke to Moses, saying,
Awo Mukama n’agamba Musa nti,
23 “Also take fine spices: of liquid myrrh, five hundred shekels; and of fragrant cinnamon half as much, even two hundred and fifty; and of fragrant cane, two hundred and fifty;
“Ddira ebyakawoowo bino eby’omuwendo: Kiro mukaaga ez’omugavu omuyenge omuka, ne kiro ssatu eza kinamoni, ne kiro ssatu eza kalamu omuwoomerevu;
24 and of cassia five hundred, according to the shekel of the sanctuary; and a hin of olive oil.
ne kiro mukaaga eza kasiya, ne lita nnya ez’amafuta g’omuzeeyituuni; ng’ebipimo by’obuzito bw’omu Watukuvu bwe biri.
25 You shall make it into a holy anointing oil, a perfume compounded after the art of the perfumer: it shall be a holy anointing oil.
Bino byonna obikolemu amafuta amatukuvu ag’okusiiga, nga bigattikibbwa bulungi ng’ebikoleddwa omutabuzi w’eby’akawoowo, ne galyoka gabeera amafuta amatukuvu ag’okufukibwangako.
26 You shall use it to anoint the Tent of Meeting, the ark of the covenant,
Olyoke osiige n’amafuta ago Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’Essanduuko ey’Endagaano,
27 the table and all its articles, the lamp stand and its accessories, the altar of incense,
n’emmeeza n’ebibeerako byonna, n’ekikondo ky’ettaala n’ebyakyo byonna, n’ekyoto eky’obubaane,
28 the altar of burnt offering with all its utensils, and the basin with its base.
n’ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ebikozesebwako, n’ebbensani ne kw’etuula.
29 You shall sanctify them, that they may be most holy. Whatever touches them shall be holy.
Obyawule bifuuke bitukuvu nnyo, era buli ekinaabikomangako nga nakyo kifuuka kitukuvu.
30 You shall anoint Aaron and his sons, and sanctify them, that they may minister to me in the priest’s office.
“Alooni ne batabani be onoobafukako amafuta, obaawule, balyoke bampeerezenga nga bakabona.
31 You shall speak to the children of Israel, saying, ‘This shall be a holy anointing oil to me throughout your generations.
Era abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Gano ge ganaabanga amafuta gange amatukuvu ag’okufukibwangako, mu mirembe gyammwe gyonna.
32 It shall not be poured on man’s flesh, and do not make any like it, according to its composition. It is holy. It shall be holy to you.
Tegajjanga kufukibwa ku bantu ba bulijjo; era tewabangawo amafuta amalala agatabulwa mu ngeri eno. Gano matukuvu, era mujjukirenga nti matukuvu.
33 Whoever compounds any like it, or whoever puts any of it on a stranger, he shall be cut off from his people.’”
Omuntu yenna anaakolanga amafuta ga kalifuuwa okufaanana ne gano, oba anaafukanga gano ku muntu yenna atali kabona, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.’”
34 The LORD said to Moses, “Take to yourself sweet spices, gum resin, onycha, and galbanum: sweet spices with pure frankincense. There shall be an equal weight of each.
Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Ddira ebyakaloosa bino eby’omuwendo ennyo: sitakite, n’onuka, ne galabano, n’obubaane obuka, nga byenkanankana obuzito,
35 You shall make incense of it, a perfume after the art of the perfumer, seasoned with salt, pure and holy.
Okolemu ebyakaloosa eby’omuwendo, bibe ng’ebikoleddwa omukugu w’ebyakaloosa. Obiteekemu omunnyo bibeere birongoofu era nga bitukuvu.
36 You shall beat some of it very small, and put some of it before the covenant in the Tent of Meeting, where I will meet with you. It shall be to you most holy.
Onoggyako ekitundu n’okisa ne kifuuka lufufugge, n’okiteeka okwolekera Essanduuko ey’Endagaano mu Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, awo we nnaakusisinkananga. Ekyo kinaabeeranga kitukuvu nnyo, gy’oli.
37 You shall not make this incense, according to its composition, for yourselves: it shall be to you holy for the LORD.
Temwekoleranga ebyakaloosa ebyammwe ku bwammwe mu ntabula eno; bino binaabanga bitukuvu era nga bya Mukama.
38 Whoever shall make any like that, to smell of it, he shall be cut off from his people.”
Omuntu yenna alikola ebibifaanana yeesanyuse olw’akaloosa kaabyo, anaawaŋŋangusibwanga, n’ava mu bantu b’ewaabwe.”

< Exodus 30 >