< Luke 23 >

1 And having risen, the whole company of them led him to Pilate.
Awo Olukiiko lwonna ne lusituka, ne batwala Yesu ewa Piraato.
2 And they began to accuse him, saying, We found this man perverting the nation, and forbidding to give tribute to Caesar, saying himself to be Christ, a king.
Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ng’atuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.”
3 And Pilate questioned him, saying, Are thou the king of the Jews? And having answered him, he said, Thou say.
Piraato kwe kubuuza Yesu nti, “Ggwe kabaka w’Abayudaaya?” Yesu n’amuddamu nti, “Ggwe okyogedde.”
4 And Pilate said to the chief priests and the multitudes, I find nothing guilty in this man.
Awo Piraato n’akyukira bakabona abakulu n’ekibiina ky’abantu n’abagamba nti, “Siraba musango muntu ono gw’azizza.”
5 But they were emphatic, saying, He stirs up the people, teaching throughout all Judea, having begun from Galilee as far as here.
Naye ne beeyongera okulumiriza nga bagamba nti, “Asasamazza abantu n’okuyigiriza kwe mu Buyudaaya mwonna. Yatandikira Ggaliraaya okutuukira ddala ne wano!”
6 And when Pilate heard Galilee, he questioned if the man is a Galilean.
Piraato bwe yawulira ebyo kwe kubuuza nti, “Omuntu ono Mugaliraaya?”
7 And when he perceived that he is from Herod's jurisdiction, he sent him to Herod, who was himself also in Jerusalem in these days.
Bwe yategeera nga Yesu Mugaliraaya, n’amuweereza eri Kerode, kubanga Ggaliraaya kyali kifugibwa Kerode, ate nga Kerode mu kiseera ekyo yali ali mu Yerusaalemi.
8 Now when Herod saw Jesus, he was exceedingly glad, for he was wanting of a considerable time to see him, because of hearing many things about him, and he hoped to see some sign happening by him.
Awo Kerode bwe yalaba Yesu, n’asanyuka nnyo, kubanga yali atutte ekiseera kiwanvu ng’ayagala okulaba Yesu. Era okuva ku ebyo bye yali amuwuliddeko yasuubira ng’ajja kumulaba ng’akolayo ekyamagero.
9 And he interrogated him in considerable words, but he answered him nothing.
N’amubuuza ebibuuzo bingi, naye Yesu n’atamuddamu.
10 And the chief priests and the scholars had stood, vehemently accusing him.
Mu kiseera ekyo, bakabona abakulu, n’abannyonnyozi b’amateeka baali awo mu busungu obungi ne baleekaanira waggulu nga bamulumiriza.
11 But Herod having disdained him with his soldiers, and having mocked him, having arraying him in a bright robe, he sent him back to Pilate.
Kerode n’abaserikale be ne batandika okuduulira Yesu, n’okumuvuma. Ne bamwambaza ekyambalo ekinekaaneka, ne bamuzzaayo ewa Piraato.
12 And both Pilate and Herod became friends with each other on the same day, for they were formerly being at enmity toward themselves.
Ku lunaku olwo lwennyini, Kerode ne Piraato, abaali bakyawaganye, ne bafuuka ba mukwano.
13 And Pilate having called together the chief priests, and the rulers, and the people,
Awo Piraato n’akuŋŋaanya bakabona abakulu, n’abakulembeze b’Abayudaaya, n’abantu,
14 said to them, Ye brought this man to me as turning away the people. And behold, I, having examined him before you, found nothing guilty in this man of what ye accuse against him.
n’abagamba nti, “Mwandeetedde omuntu ono nga mumuwawaabira nti asasamaza abantu bajeeme. Mubuuzizza nnyo era ne neetegereza bulungi ensonga eyo nga nammwe we muli, naye ne nsanga nga talina musango ku ebyo bye mumuwawaabidde.
15 But not even Herod, for I sent you back to him, and lo, nothing having been done by him is worthy of death.
Ne Kerode naye tamulabyeko musango era kyavudde amukomyawo gye tuli. Omuntu ono talina ky’akoze kimusaanyiza kibonerezo kya kufa.
16 Therefore, having scourged I will release him.
Noolwekyo ŋŋenda mukangavvulamu, ndyoke mmusumulule.”
17 Now he had need to release one man to them at every feast.
Ku buli mbaga ya Kuyitako, Piraato ng’ateekwa okubateera omusibe omu.
18 But they cried out all together, saying, Take away this man, and release to us Barabbas
Ekibiina kyonna ne kireekaana nnyo nti, “Oyo mutte! Otuteere Balaba.”
19 (a man who was cast into prison because of a certain insurrection that occurred in the city, and for murder).
Balaba ono yali asibiddwa lwa kukulembera kasasamalo mu kibuga, era n’olw’obutemu.
20 Again therefore Pilate called out wanting to release Jesus,
Piraato olw’okwagala okusumulula Yesu, n’ayongera okwogera nabo.
21 but they shouted, saying, Crucify, crucify him.
Naye ne beeyongera okuleekaana nti, “Mukomerere ku musaalaba! Mukomerere ku musaalaba!”
22 And he said to them a third time, For what evil did this man do? I have found nothing guilty of death in him. I will therefore, having scourged, release him.
Piraato n’ayogera nabo omulundi ogwokusatu nti, “Lwaki? Azzizza musango ki? Sirabye nsonga yonna emusaanyiza kibonerezo kya kufa. Noolwekyo ka mmukangavvule, ndyoke mmusumulule.”
23 But they were relentless with loud voices demanding him to be crucified. And their voices and those of the chief priests prevailed.
Naye ne beeyongera nnyo okuleekaana, n’okuwowoggana nga baagala Yesu akomererwe ku musaalaba. Era okuleekaana kwabwe ne kuwangula.
24 And Pilate decreed their request to happen.
Awo Piraato n’akola nga bwe baayagala.
25 And he released the man who had been cast into prison because of insurrection and murder, whom they asked for, but he delivered Jesus to their will.
N’asumulula Balaba, gwe baasaba eyali asibiddwa olw’okusasamaza abantu n’olw’obutemu. Naye n’abakwasa Yesu bagende bamukole nga bwe baagala.
26 And when they led him away, having taken hold of a certain Simon, a Cyrenian coming from the countryside, they laid the cross on him to bring behind Jesus.
Awo ne bafulumya Yesu okumutwala okumukomerera. Bwe baali bamutwala ne basanga omusajja Omukuleene erinnya lye Simooni, yali ava mu kyalo nga yaakayingira mu kibuga, ne bamuwaliriza okusitula omusaalaba gwa Yesu ku kibegabega kye; n’agusitula n’agutwala ng’atambulira emabega wa Yesu.
27 And a great multitude of the people followed him, and also of women who bewailed and lamented him.
Ekibiina kinene ne bagoberera Yesu nga mwe muli n’abakazi abaali bamukaabira nga bwe bakuba ebiwoobe.
28 But having turning to them, Jesus said, Daughters of Jerusalem, weep not for me, instead weep for yourselves and for your children.
Naye Yesu n’abakyukira n’abagamba nti, “Abawala ba Yerusaalemi, temukaabira Nze, wabula mwekaabire era mukaabire n’abaana bammwe.
29 Because, behold, the days are coming, during which they will say, Blessed are the barren, and the bellies that gave no birth, and the breasts that did not suckle.
Kubanga ekiseera kijja abakazi abatalina baana lwe baliyitibwa ab’omukisa ddala.
30 Then they will begin to say to the mountains, Fall on us, and to the hills, Cover us.
“‘Baligamba ensozi nti, “Mutugweko,” n’obusozi nti, “Mutuziike.”’
31 Because if they do these things in the green tree, what will happen in the dry?
Kale, obanga bino babikola ku muti omubisi, naye ku mukalu kiriba kitya?”
32 And two other men, malefactors, were also led with him to be executed.
Waaliwo n’abasajja abalala babiri, bombi nga bamenyi ba mateeka, abaatwalibwa ne Yesu okuttibwa.
33 And when they came to the place called Skull, there they crucified him, and the malefactors, one at the right hand and the other at the left.
Awo bwe baatuuka mu kifo ekiyitibwa Ekiwanga, ne bamukomerera awo ku musaalaba, awamu n’abamenyi b’amateeka, omu ku ludda lwa Yesu olwa ddyo n’omulala ku ludda olwa kkono.
34 And Jesus said, Father, forgive them, for they know not what they are doing. And dividing his garments, they cast a lot.
Yesu n’agamba nti, “Kitange, basonyiwe, kubanga kye bakola tebakimanyi.” Awo abaserikale ne bagabana ebyambalo bye nga babikubira akalulu.
35 And the people had stood watching. And also the rulers with them sneered, saying, He saved others. He should save himself, if this is the Christ, the chosen of God.
Ekibiina ne kimutunuulira. Abakulembeze b’Abayudaaya ne bamusekerera nga bagamba nti, “Yalokolanga balala, ka tulabe naye bwe yeerokola, obanga ye Kristo wa Katonda Omulonde we.”
36 And the soldiers also mocked him, approaching, and bringing him vinegar,
N’abaserikale nabo ne bamuduulira ne bamuwa wayini omukaatuufu,
37 and saying, If thou are the king of the Jews, save thyself.
nga bagamba nti, “Obanga ggwe Kabaka w’Abayudaaya, weerokole!”
38 And there was also an inscription over him written in letters, in Greek and Latin and Hebrew: THIS IS THE KING OF THE JEWS.
Waggulu w’omutwe gwa Yesu ku musaalaba kwateekebwako ekiwandiiko mu bigambo bino nti, Ono ye Kabaka w’Abayudaaya.
39 And one of the malefactors who were hanged railed him, saying, If thou are the Christ, save thyself and us.
Omu ku bamenyi b’amateeka abaakomererwa naye n’avuma Yesu ng’agamba nti, “Si ggwe Masiya? Kale weerokole era naffe otulokole.”
40 But the other man having answered, rebuking him, saying, Thou fear not even God, since thou are in the same condemnation?
Naye munne bwe baakomererwa n’amunenya, n’amugamba nti, “N’okutya totya Katonda, nga naawe oli ku kibonerezo kye kimu kya kufa?
41 And we indeed justly, for we receive worthy of what we did, but this man did nothing amiss.
Ffe tuvunaaniddwa bya nsonga, kubanga ebikolwa byaffe bitusaanyiza kino. Naye ono talina kisobyo kyonna ky’akoze.”
42 And he said to Jesus, Remember me, Lord, when thou come into thy kingdom.
N’alyoka agamba nti, “Yesu, onzijukiranga bw’olijja mu bwakabaka bwo.”
43 And Jesus said to him, Truly I say to thee, today thou will be with me in the paradise.
Yesu n’amuddamu nti, “Ddala ddala nkugamba nti olwa leero ojja kubeera nange mu Lusuku lwa Katonda.”
44 And it was about the sixth hour, and darkness occurred over the whole land until the ninth hour.
Awo obudde bwe bwatuuka essaawa omukaaga ez’omu ttuntu, enzikiza n’ekwata ku nsi yonna, okutuusa ku ssaawa ey’omwenda,
45 And the sun was darkened, and the curtain of the temple was torn in the middle.
kubanga enjuba yalekeraawo okwaka. Amangwago eggigi ly’omu Yeekaalu ne liyulikamu wabiri.
46 And Jesus, having sounded out in a great voice, said, Father, into thy hands I entrust my spirit. And having said these things, he expired.
Awo Yesu n’ayogerera waggulu n’eddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, “Kitange, nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo.” Bwe yamala okwogera ebigambo ebyo, n’afa.
47 And when the centurion saw that which happened, he glorified God, saying, Certainly this man was righteous.
Omuserikale Omuruumi omukulu w’ekitongole eyakulembera abaserikale abaakomerera Yesu, bwe yalaba ebibaddewo, n’atendereza Katonda ng’agamba nti, “Mazima omuntu ono abadde mutuukirivu.”
48 And all the multitudes who came together to this scene, watching that which happened, turned back, beating their breasts.
Abantu bonna abaali bazze okwerolera, bwe baalaba ebibaddewo ne baddayo ewaabwe nga beekuba mu kifuba nga bajjudde ennaku nnyingi.
49 And all his acquaintances, and the women who accompanied him from Galilee, had stood from afar, seeing these things.
Mikwano gya Yesu, awamu n’abakazi abajja naye nga bamugoberera okuviira ddala e Ggaliraaya, baali bayimiridde nga beesuddeko akabanga, nga batunuulira byonna ebibaddewo.
50 And behold a man named Joseph, a council member, being a good and righteous man
Laba waaliwo omusajja erinnya lye Yusufu, ng’atuula mu Lukiiko Olukulu olw’Abayudaaya, yali musajja mulungi era nga mutuukirivu,
51 (this man not having consented to their purpose and deed), was from Arimathaea, a city of the Jews, who also himself awaited the kingdom of God.
teyakkirizaganya na banne mu ebyo bye baasalawo ku Yesu ne bye baakola. Yali wa mu kibuga Alimasaya eky’omu Buyudaaya. Yali ng’alindirira n’essuubi ddene okulaba obwakabaka bwa Katonda.
52 This man having gone to Pilate, requested the body of Jesus.
Omusajja ono n’agenda eri Piraato n’asabayo omulambo gwa Yesu.
53 And having taken it down, he wrapped it in linen, and laid it in a sepulcher cut in rock, of which no man was yet lain.
Bwe yaguggya ku musaalaba, n’aguzinga mu lugoye lwa linena olweru ennyo, n’agugalamiza mu ntaana ey’empuku eyali etemeddwa mu lwazi, era nga teziikibwangamu muntu.
54 And the day was Preparation; sabbath was beginning.
Bino byonna byaliwo ku Lwakutaano, olunaku olw’okweteekerateekerako ng’enkeera ye Ssabbiiti.
55 And having followed closely, the women who were gathered to him out of Galilee, they saw the sepulcher, and how his body was laid.
Omulambo gwa Yesu bwe gwali gutwalibwa mu ntaana, abakazi abaava e Ggaliraaya ne bagoberera nga bavaako emabega, ne balaba entaana n’omulambo gwe nga bwe gwagalamizibwamu.
56 And having returned, they prepared spices and ointments. And they indeed rested on the sabbath according to the commandment.
Ne balyoka baddayo eka ne bategeka ebyakaloosa n’amafuta ag’okusiiga omulambo gwa Yesu. Naye ne bawummula ku Ssabbiiti ng’etteeka bwe liragira.

< Luke 23 >