< Aabenbaringen 4 >

1 Derefter så jeg, og se, der var en Dør åbnet i Himmelen, og den første Røst, hvilken jeg havde hørt som af en Basun, der talte med mig, sagde: Stig herop, og jeg vil vise dig, hvad der skal ske herefter.
Laba, oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira n’eddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ng’eryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.”
2 Straks henryktes jeg i Ånden; og se, en Trone stod i Himmelen, og en sad på Tronen,
Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe ey’obwakabaka ng’etegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko.
3 og den siddende var at se til ligesom Jaspissten og Sarder, og der var en Regnbue omkring Tronen, at se til ligesom Smaragd.
Eyali agituddeko yali ayakaayakana ng’amayinja ag’omuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ng’entebe eyo yeetooloddwa musoke ng’ayakaayakana nga zumaliidi.
4 Og omkring Tronen var der fire og tyve Troner, og på Tronerne sad der fire og tyve Ældste, iførte hvide Klæder og med Guldkranse på deres Hoveder.
Entebe ey’obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe.
5 Og fra Tronen udgår der Lyn og Røster og Tordener, og syv Ildfakler brænde foran Tronen, hvilke ere de syv Guds Ånder.
Mu ntebe eyo ey’obwakabaka ne muvaamu okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka. Mu maaso g’entebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gy’emyoyo omusanvu egya Katonda.
6 Og foran Tronen er der som et Glarhav, ligesom Krystal, og midt for Tronen og rundt om Tronen fire levende Væsener, fulde af Øjne fortil og bagtil.
Ne mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola.
7 Og det første Væsen ligner en Løve; og det andet Væsen ligner en Okse; og det tredje Væsen har Ansigt som et Menneske; og det fjerde Væsen ligner en flyvende Ørn.
Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka.
8 Og de fire Væsener have hvert især seks Vinger, rundt om og indadtil ere de fulde af Øjne; og uden Ophør sige de Dag og Nat: Hellig, hellig, hellig er Herren, Gud, den Almægtige, han, som var, og som er, og som kommer!
Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,
9 Og når Væsenerne give Ære og Pris og Tak til ham, som sidder på Tronen, ham, som lever i Evighedernes Evigheder, (aiōn g165)
Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo n’okwebaza, Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, (aiōn g165)
10 da falde de fire og tyve Ældste ned for ham, som sidder på Tronen, og tilbede ham, som lever i Evighedernes Evigheder, og lægge deres Kranse ned for Tronen og sige: (aiōn g165)
abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, omulamu emirembe n’emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g’entebe eyo, nga bwe bagamba nti, (aiōn g165)
11 Værdig er du, vor Herre og Gud, til at få Prisen og Æren og Magten; thi du har skabt alle Ting, og på Grund af din Villie vare de, og bleve de skabte.
“Mukama waffe era Katonda waffe, osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza, kubanga gwe watonda ebintu byonna era byonna byatondebwa ku lulwo era gwe wasiima okubiteekawo.”

< Aabenbaringen 4 >