< ՄԱՏԹԷՈՍ 10 >

1 Եւ նա իր մօտ կանչելով իր տասներկու աշակերտներին՝ նրանց իշխանութիւն տուեց պիղծ դեւերի վրայ՝ հանելու դրանք եւ բժշկելու ամէն ցաւ եւ ամէն հիւանդութիւն:
Awo Yesu n’ayita abayigirizwa be ekkumi n’ababiri, ne bajja gy’ali n’abawa obuyinza okugobanga baddayimooni, n’okuwonyanga buli ndwadde n’okukozimba ebya buli ngeri.
2 Եւ տասներկու առաքեալների անունները սրանք էին. առաջին՝ Սիմոն Պետրոս կոչուածը, եւ նրա եղբայրը Անդրէաս,
Amannya g’abayigirizwa ekkumi n’ababiri ge gano: Simooni, ayitibwa Peetero; ne Andereya, muganda wa Peetero; ne Yakobo, omwana wa Zebbedaayo; ne Yokaana, muganda wa Yakobo;
3 Զեբեդէոսի որդի Յակոբոս եւ նրա եղբայրը Յովհաննէս, Փիլիպպոս եւ Բարթողոմէոս, Թովմաս եւ Մատթէոս մաքսաւոր, Ալփէոսի որդի Յակոբոս եւ Ղեբէոս, որ Թադէոս կոչուեց,
Firipo; ne Battolomaayo; ne Tomasi; ne Matayo, omusolooza w’omusolo; ne Yakobo, omwana wa Alufaayo; ne Saddayo;
4 Սիմոն Կանանացի եւ Յուդա Իսկարիովտացի, որ եւ մատնեց նրան:
ne Simooni, Omukananaayo; ne Yuda Isukalyoti, eyalya mu Yesu olukwe.
5 Նրանց Տասներկուսին Յիսուս ուղարկեց, պատուիրեց նրանց ու ասաց. «Հեթանոսների շրջաններով չգնաք եւ սամարացիների որեւէ քաղաքը չմտնէք,
Abo ekkumi n’ababiri Yesu n’abatuma ng’abalagira nti: “Temugenda eri bannamawanga wadde mu kibuga ky’Abasamaliya.
6 այլ աւելի շուտ գնացէ՛ք Իսրայէլի տան կորած ոչխարների մօտ:
Naye mugende eri abaana ba Isirayiri, endiga za Katonda ezaabula.
7 Եւ երբ գնաք, քարոզեցէ՛ք եւ ասացէ՛ք. «Երկնքի արքայութիւնը մօտեցել է»:
Mugende mubabuulire nti, ‘Obwakabaka obw’omu ggulu busembedde.’
8 Հիւանդներին բժշկեցէ՛ք, բորոտներին մաքրեցէ՛ք, դեւերին հանեցէ՛ք, ձրի առաք, ձրի էլ տուէ՛ք:
Muwonye abalwadde, muzuukize abafu, mulongoose abagenge, era mugobe ne baddayimooni. Muweereddwa buwa nammwe muwenga buwa.
9 Մի՛ ունեցէք ո՛չ ոսկի, ո՛չ արծաթ եւ ո՛չ էլ պղինձ դրամ՝ ձեր գօտիների մէջ.
“Temubanga na zaabu oba ffeeza wadde ekikomo mu nkoba zammwe,
10 ո՛չ պարկ՝ ճանապարհի համար. ո՛չ երկու զգեստ, ո՛չ կօշիկներ եւ ո՛չ էլ ցուպ. որովհետեւ մշակն արժանի է իր կերակրին:
wadde ensawo ey’oku mugongo, wadde essaati ebbiri, wadde omugogo gw’engatto omulala, wadde omuggo. Kubanga omukozi asaanira okuweebwa eby’okumuyamba.
11 Որ քաղաքը կամ գիւղը մտնէք, հարցրէ՛ք, թէ ո՛վ է այնտեղ արժանաւորը, եւ այնտեղ մնացէ՛ք, մինչեւ որ այդտեղից դուրս ելնէք:
Buli kibuga oba kyalo mwe mutuukanga, munoonyengamu amaka g’omuntu asaanidde, musulenga omwo okutuusa lwe mulivaayo.
12 Եւ երբ այն տունը մտնէք, ողջո՛յն տուէք նրան ու ասացէ՛ք. «Ողջո՜յն այս տանը»:
Bwe muyingiranga mu nnyumba mubeeyanjulire, amaka ago mugalagenga okwagala kwammwe.
13 Եթէ տունն արժանի է, ձեր ողջոյնը նրա վրայ թող իջնի. իսկ եթէ արժանի չէ, ձեր ողջոյնը ձեզ թող վերադառնայ:
Amaka ago bwe gabanga ag’abantu abasaanidde, emirembe gyammwe ginaabeeranga ku bo, naye bwe gatabanga bwe gatyo emirembe gyammwe ginaabaddiranga.
14 Եւ եթէ մի քաղաք չընդունի ձեզ եւ չլսի ձեր խօսքերը, այդ քաղաքից դուրս գնալիս՝ ձեր ոտքերից փոշին թօթափեցէ՛ք:
Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufuey’oku bigere byammwe.
15 Ճշմարիտ եմ ասում ձեզ, սոդոմացիների եւ գոմորացիների երկրի համար աւելի հեշտ պիտի լինի դատաստանի օրը, քան այդ քաղաքի համար»:
Ddala ddala mbagamba nti ensi ya Sodomu ne Ggomola ziriweebwa ekibonerezo ku lunaku olw’okusalirako omusango ekirigumiikirizika okukira ekibuga ekyo oba amaka ago.
16 «Ահա ես ձեզ ուղարկում եմ որպէս ոչխարներ՝ գայլերի մէջ: Այսուհետեւ խորագէ՛տ եղէք օձերի պէս եւ միամիտ՝ աղաւնիների նման:
“Laba mbatuma ng’endiga mu misege. Noolwekyo mubeere bagezigezi ng’emisota, era abataliiko kya kunenyezebwa ng’amayiba.
17 Զգուշացէ՛ք մարդկանցից, որովհետեւ պիտի մատնեն ձեզ ատեանների եւ պիտի տանջեն ձեզ իրենց ժողովարաններում.
Mwekuume abantu! Kubanga balibawaayo eri enkiiko z’Abakadde, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe, ne babakuba emigo.
18 ձեզ պիտի տանեն կուսակալների ու թագաւորների առաջ իմ պատճառով, որ իմ մասին վկայութիւն տաք նրանց եւ հեթանոսներին:
Mulitwalibwa mu maaso ga bagavana ne bakabaka ku lwange, okuba abajulirwa eri bo n’abannaggwanga.
19 Բայց երբ ձեզ մատնեն, հոգ մի՛ արէք, թէ ինչպէս կամ ինչ պիտի խօսէք, որովհետեւ այդ ժամին ձեզ կը տրուի այն, ինչ պիտի խօսէք.
Bwe muweebwangayo, temweraliikiriranga kye munaawoza, kubanga kinaabaweebwanga mu kiseera ekyo.
20 քանի որ ոչ թէ դուք էք, որ պիտի խօսէք, այլ ձեր Հօր Հոգին, որ պիտի խօսի ձեր միջոցով:
Kubanga si mmwe mugenda okwogera wabula Omwoyo wa Kitammwe y’alyogerera mu mmwe!
21 Եղբայրն իր եղբօրը մահուան պիտի մատնի, եւ հայրը՝ որդուն: Եւ որդիները հայրերի դէմ պիտի ելնեն ու նրանց պիտի սպանեն:
“Owooluganda aliwaayo muganda we okuttibwa era n’abazadde baliwaayo abaana baabwe okuttibwa. Abaana nabo balyefuukira bazadde baabwe ne babatta.
22 Եւ իմ անուան համար բոլորից պիտի ատուէք. իսկ ով մինչեւ վերջ համբերի, նա պիտի փրկուի:
Mulikyayibwa abantu bonna olw’erinnya lyange. Naye oyo aligumiikiriza okutuuka ku nkomerero alirokolebwa.
23 Եւ երբ ձեզ հալածեն այս քաղաքում, կը փախչէք դէպի մէկ ուրիշը. եւ եթէ ձեզ դրանից էլ հալածեն, կը փախչէք դէպի այն միւսը: Ճշմարիտ եմ ասում ձեզ, Իսրայէլի քաղաքները դեռ վերջացրած պիտի չլինէք, նախքան մարդու Որդու գալը:
Bwe babayigganyanga mu kibuga ekimu muddukirenga mu kirala! Ddala ddala mbagamba nti muliba temunnabuna bibuga bya Isirayiri, Omwana w’Omuntu n’ajja.
24 Աշակերտը աւելին չէ, քան վարդապետը, եւ ոչ էլ ծառան՝ քան իր տէրը:
“Omuyigirizwa tasinga amusomesa, so n’omuddu tasinga mukama we.
25 Աշակերտին հերիք է, եթէ լինի իր վարդապետի նման, եւ ծառային՝ իր տիրոջ նման. եթէ տանտիրոջը Բէեղզեբուղ կոչեցին, որչա՜փ եւս առաւել՝ նրա ընտանիքը:
Kirungi omuyigirizwa okuba ng’omusomesa we, n’omuddu okuba nga mukama we. Obanga nnannyinimu ayitibwa Beeruzebuli, tekisingawo nnyo ku b’omu nju ye.
26 Այսուհետեւ նրանցից չվախենաք, որովհետեւ չկայ ծածուկ բան, որ չյայտնուի, եւ գաղտնի բան, որ չիմացուի:
“Noolwekyo temubatyanga. Teri kyakisibwa ekitalimanyibwa, era tewali kyakwekebwa ekitalizuulibwa.
27 Ինչ ձեզ ասում եմ խաւարի մէջ, դուք ասացէք լոյսի՛ մէջ. եւ ինչ լսում էք ականջի մէջ փսփսուքով, հրապարակեցէ՛ք տանիքների վրայից:
Buli kye mbabuulira mu kizikiza mukyogereranga mu musana, na buli kye mbagamba mu kaama, nakyo mukyasanguzanga waggulu ku nnyumba.
28 Եւ մի՛ վախեցէք նրանցից, որ մարմինն են սպանում, բայց հոգին սպանել չեն կարող. այլ դուք առաւել վախեցէ՛ք նրանից, ով կարող է գեհենի մէջ կորստեան մատնել հոգին եւ մարմինը: (Geenna g1067)
Era temubatyanga abo abatta omubiri kubanga tebasobola kutta mwoyo! Naye mutyenga oyo yekka, ayinza okuzikiriza byombi omwoyo n’omubiri mu ggeyeena. (Geenna g1067)
29 Չէ՞ որ երկու ճնճղուկ մէկ դահեկանի է վաճառւում, բայց նրանցից մէկն անգամ առանց ձեր Հօր գետին չի ընկնում.
Enkazaluggya ebbiri tezigula sente emu? Naye tewali n’emu ku zo eyinza okuttibwa nga Kitammwe tamanyi.
30 եւ ձեր գլխի մազերը բոլորն իսկ հաշուուած են:
Era buli luviiri oluli ku mitwe gyammwe lwabalibwa.
31 Արդ, մի՛ վախեցէք, քանի որ բազում ճնճղուկներից լաւ էք դուք:
Kale temweraliikiriranga kubanga mmwe muli ba muwendo munene eri Kitammwe okusinga enkazaluggya ennyingi.
32 Ով որ ինձ կը խոստովանի մարդկանց առաջ, ես էլ կը խոստովանեմ նրան իմ Հօր առաջ, որ երկնքում է:
“Buli muntu alinjatulira mu maaso g’abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
33 Եւ ով ինձ կ՚ուրանայ մարդկանց առաջ, ես էլ նրան կ՚ուրանամ իմ Հօր առաջ, որ երկնքում է»:
Na buli muntu alinneegaanira mu maaso g’abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
34 «Մի՛ կարծէք, թէ եկայ խաղաղութիւն հաստատելու երկրի վրայ. չեկայ հաստատելու խաղաղութիւն, այլ՝ սուր.
“Temulowooza nti najja okuleeta emirembe ku nsi! Sajja kuleeta mirembe wabula ekitala.
35 քանի որ եկայ, որ բաժանեմ որդուն իր հօրից, եւ դստերը՝ իր մօրից, եւ հարսին՝ իր կեսուրից:
Kubanga najja okwawukanya “‘omwana owoobulenzi ne kitaawe, n’omwana owoobuwala ne nnyina n’okwawukanya muka mwana ne nnyazaala we.
36 Մարդու թշնամիները իր տնեցիները կը լինեն:
Abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nju ye.’
37 Ով իր հօրը եւ կամ մօրը ինձնից աւելի է սիրում, ինձ արժանի չէ. ով իր որդուն կամ դստերը ինձնից աւելի է սիրում, ինձ արժանի չէ:
“Oyo ayagala kitaawe oba nnyina okusinga Nze tansaanira, n’oyo ayagala mutabani we oba muwala we okusinga Nze naye tansaanira.
38 Եւ ով իր խաչը չի վերցնում ու իմ յետեւից չի գալիս, ինձ արժանի չէ:
N’oyo ateetikkenga musaalaba gwe n’angoberera tansaanira.
39 Ով որ իր անձը գտնում է, այն կը կորցնի. եւ ով իր անձը կորցրեց ինձ համար, այն կը գտնի:
Omuntu ayagala ennyo obulamu bwe alibufiirwa, naye alifiirwa obulamu bwe ku lwange, alibulokola.
40 Ով ձե՛զ է ընդունում, ի՛նձ է ընդունում, եւ ով ի՛նձ է ընդունում, ընդունում է ինձ ուղարկողի՛ն:
“Buli abasembeza, aba asembezezza Nze, ate asembeza Nze aba asembezezza oyo eyantuma.
41 Ով մարգարէին ընդունում է իբրեւ մարգարէի, մարգարէի վարձ կը ստանայ. ով արդարին ընդունում է իբրեւ արդարի, արդարի վարձ կը ստանայ:
Oyo asembeza nnabbi mu linnya lya nnabbi, alifuna empeera y’emu nga nnabbi. Era buli anaasembezanga omuntu omutuukirivu mu linnya ly’omuntu omutuukirivu, alifuna empeera y’emu ng’ey’omutuukirivu.
42 Եւ ով այս փոքրիկներից մէկին միայն մի բաժակ սառը ջուր կը տայ խմելու իբրեւ աշակերտ, ճշմարիտ եմ ասում ձեզ, իր վարձը չպիտի կորցնի»:
Ddala ddala mbagamba nti buli aliwa omu ku baana bano abato egiraasi y’amazzi agannyogoga olw’erinnya ly’omuyigiriza talirema kuweebwa mpeera ye.”

< ՄԱՏԹԷՈՍ 10 >