< Zabbuli 99 >

1 Mukama afuga, amawanga gakankane; atuula wakati wa bakerubi, ensi ekankane. 2 Mukama mukulu mu Sayuuni; agulumizibwa mu mawanga gonna. 3 Amawanga gonna gatendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa. Mukama mutukuvu. 4 Ye Kabaka ow’amaanyi, ayagala obwenkanya. Onywezezza obwenkanya; era by’okoledde Yakobo bya bwenkanya era bituufu. 5 Mumugulumize Mukama Katonda waffe; mumusinzize wansi w’entebe y’ebigere bye. Mukama mutukuvu. 6 Musa ne Alooni baali bamu ku bakabona be; ne Samwiri yali mu abo abaakoowoolanga erinnya lye; baasabanga Mukama n’abaanukula. 7 Yayogera nabo mu mpagi ey’ekire; baagondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye yabawa. 8 Ayi Mukama Katonda waffe, wabaanukulanga; n’obeeranga Katonda asonyiwa eri Isirayiri, newaakubadde wababonerezanga olw’ebikolwa byabwe ebibi. 9 Mugulumizenga Mukama Katonda waffe, mumusinzizenga ku lusozi lwe olutukuvu, kubanga Mukama Katonda waffe mutukuvu.

< Zabbuli 99 >